Old/New Testament
Omwoyo Ogwonoona gwe Gulifa
18 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, 2 (A)“Mutegeeza ki bwe mugerera olugero luno ensi ya Isirayiri nti,
“ ‘Bakitaabwe balidde ezabbibu ezikaawa,
n’amannyo g’abaana ganyenyeera’?
3 “Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, temuliddayo kugera lugero olwo mu Isirayiri. 4 (B)Buli kiramu, kyange; obulamu bw’omuzadde n’obw’omwana bwonna nabwo bwange.
5 “Emmeeme eyonoona ye erifa,
omuntu bw’abeera omutuukirivu n’akola ebyalagirwa era ebituufu;
6 (C)nga talya mu masabo agali ku nsozi
newaakubadde okusinza bakatonda abalala ab’ennyumba ya Isirayiri;
n’atayenda ne mukazi wa muliraanwa we,
newaakubadde okwebaka n’omukazi ali mu biseera bye eby’abakyala;
7 (D)omuntu atalyazaamaanya muntu yenna,
naye asasula ebbanja lye lyonna,
atanyaga muntu yenna,
naye emmere ye agigabira abayala,
n’ayambaza n’abali obwereere;
8 (E)atawola lwa magoba
newaakubadde okutwala ensimbi ezisukkamu mu ezo ze yawola.
Yeewala okukola ekibi,
era asala emisango egy’ensonga.
9 (F)Agoberera ebiragiro byange,
n’akuuma amateeka gange n’obwesigwa,
oyo ye muntu omutuukirivu
era aliba mulamu,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
10 (G)“Bw’aba n’omwana omulalu, ayiwa omusaayi, oba akola ebifaanana ng’ebyo, 11 newaakubadde nga kitaawe ebyo tabikola:
“N’alya mu masabo agali ku nsozi,
n’ayenda ku mukazi wa muliraanwa we,
12 (H)n’anyigiriza omwavu n’omunaku,
n’okubba n’abba,
n’atasasula kye yeeyama,
n’asinza bakatonda abalala,
n’akola eby’ekivve,
13 (I)n’awola ng’asuubira amagoba, oba n’okutwala ensimbi ezisukka mu ezo ze yawola;
omuntu ng’oyo aliba mulamu? Taliba mulamu. Kubanga akoze ebintu ebyo byonna eby’ekivve, kyaliva attibwa, n’omusaayi gwe guliba ku mutwe gwe ye.
14 (J)“Naye bw’aba n’omuzzukulu, alaba ebibi byonna kitaawe by’akola, n’atakola bya ngeri eyo;
15 “N’atalya mu masabo agali ku nsozi
newaakubadde okusinza bakatonda abalala ab’ennyumba ya Isirayiri,
n’atayenda na mukazi wa muliraanwa we,
16 (K)atanyigiriza muntu yenna
newaakubadde okusaba amagoba ku bbanja lye yawola,
atabba, naye agabira emmere abayala
n’abali obwereere
n’abambaza.
17 Yeekuuma obutakola kibi,
n’atalya magoba ku bbanja newaakubadde okutwala ensimbi ezisukiridde,
era akuuma amateeka gange n’agoberera n’ebiragiro byange.
Talifa olw’ebibi bya kitaawe, naye aliba mulamu. 18 Naye kitaawe alifa olw’ebibi bye ye kubanga yalyazaamanya, n’anyaga muliraanwa we, n’akola ebitaali birungi mu bantu banne.
19 (L)“Mubuuza nti, ‘Lwaki omwana tabonaabona olw’ebibi bya kitaawe?’ Omwana bw’aba akoze eby’ensonga era ebituufu, ng’agoberedde ebiragiro byange, aliba mulamu. 20 (M)Emmeeme eyonoona ye erifa. Omwana talibonaabona olw’ebibi bya kitaawe, so ne kitaawe talibonaabona olw’ebibi eby’omwana we. Obutuukirivu bw’omuntu omutuukirivu bulibalirwa ye, n’obutali butuukirivu bw’oyo atali mutuukirivu bulibalirwa ye.
21 (N)“Naye omuntu atali mutuukirivu bw’alikyuka n’alekeraawo okukola ebibi byonna, n’akuuma ebiragiro byange byonna n’akola eby’ensonga era ebituufu, aliba mulamu, talifa. 22 (O)Tewaliba kyonoono na kimu ku ebyo bye baakola ebirijjukirwa, naye olw’eby’obutuukirivu bye baliba bakoze, baliba balamu. 23 (P)Mulowooza nga nsanyukira okufa kw’atali mutuukirivu? Bw’ayogera Mukama. Sisinga kusanyuka nnyo bwe ndaba ng’akyuse okuva mu ngeri ze n’aba omulamu?
24 (Q)“Naye omuntu omutuukirivu bw’alekeraawo okukola eby’obutuukirivu, n’akola eby’ekivve bye bimu n’eby’omuntu atali mutuukirivu, aliba mulamu? Tewaliba ne kimu ku ebyo eby’obutuukirivu bye yakola, ebirijjukirwa: Olw’obutaba mwesigwa aliba n’omusango, era n’olw’ebibi bye yakola, alifa.
25 (R)“Mugamba nti, ‘Mukama si mwenkanya.’ Kaakano muwulire mwe ennyumba ya Isirayiri, enkola yange y’etali ya bwenkanya oba mmwe mutali benkanya? 26 Omuntu omutuukirivu bw’aleka okukola ebikolwa bye eby’obutuukirivu n’akola ebibi, mw’alifiira, kubanga ebibi by’akoze bye birimuleetera okufa. 27 (S)Naye bw’alikyuka okuva mu butali butuukirivu bwe bw’akoze, n’akola eby’ensonga era ebituufu, alirokola obulamu bwe. 28 Era bw’alirowooza ku bibi byonna by’akoze, n’akyuka n’alekeraawo okubikola, mazima ddala aliba mulamu, talifa. 29 Naye oluvannyuma ennyumba ya Isirayiri ne mwogera nti, ‘Ekkubo lya Mukama si lya bwenkanya.’ Mmwe ennyumba ya Isirayiri, engeri zange ze zitali za bwenkanya? Engeri zammwe si ze zitali za bwenkanya?
30 (T)“Kyendiva mbasalira omusango, mmwe ennyumba ya Isirayiri, buli muntu ng’ebikolwa byammwe bwe biri, bw’ayogera Mukama. Mwenenye, muleke ebikolwa ebitali bya butuukirivu, oba nga ssi weewaawo ebibi byammwe biribaleetera okuzikirira. 31 (U)Mweggyeeko ebikolwa byonna ebitali bya butuukirivu, bye mukoze, mufune omutima omuggya n’omwoyo omuggya. Kiki ekibaleetera okufa, mmwe ennyumba ya Isirayiri? 32 (V)Sisanyukira kufa kwa muntu yenna, bw’ayogera Mukama Katonda. Mwenenye mube balamu.”
Okukungubagira Abalangira ba Isirayiri
19 (W)Kungubagira abalangira ba Isirayiri, 2 oyogere nti,
“ ‘Maama wo nga yali mpologoma nkazi,
mu mpologoma!
Yagalamiranga wakati mu mpologoma ento,
n’erabirira abaana baayo.
3 N’ekuza emu ku baana baayo
n’efuuka empologoma ey’amaanyi,
n’eyiga okuyigga ebisolo,
n’okulya abantu.
4 (X)Amawanga gaawulira ebimufaako,
n’akwatirwa mu kinnya kye yali asimye,
ne bamusibamu amalobo
ne bamuleeta mu nsi y’e Misiri.
5 (Y)“ ‘Awo bwe yalaba essuubi lye nga terituukiridde,
ne bye yali alindirira nga biyise,
n’eddira emu ku baana baayo ab’empologoma endala,
n’egifuula empologoma ey’amaanyi.
6 (Z)N’etambulatambula mu mpologoma,
kubanga yali efuuse empologoma ey’amaanyi,
era n’eyiga okuyigga ensolo,
n’okulya abantu.
7 (AA)N’emenyaamenya ebifo byabwe eby’amaanyi,
n’ezikiriza n’ebibuga byabwe;
ensi n’abo bonna abaagibeerangamu,
ne batya olw’okuwuluguma kwayo.
8 (AB)Awo amawanga gonna ne gagirumba,
okuva mu bitundu ebyali byetooloddewo,
ne bayanjuluza ekitimba kyabwe,
ne bagikwatira mu kinnya kyabwe.
9 (AC)Ne bakozesa amalobo okugisikayo,
ne bagiteeka mu kayumba ak’ebyuma,
ne bagitwala eri kabaka w’e Babulooni;
n’eteekebwa mu kkomera,
n’etaddayo kuwulikika nate ku nsozi za Isirayiri.
10 (AD)“ ‘Maama wo yali ng’omuzabbibu mu nnimiro
ogwasimbibwa okumpi n’amazzi;
ne gubala ebibala ne bijjula amatabi,
kubanga waaliwo amazzi mangi.
11 (AE)Amatabi gaagwo gaali magumu,
era nga gasaanira okukolebwamu omuggo gw’obwakabaka.
Omuzabbibu ogwo gwali muwanvu ne guyitamu
okusinga emiti emirala,
ne gumanyibwa olw’obuwanvu bwagwo,
n’olw’amatabi gaagwo amangi.
12 (AF)Naye gwasigulibwa n’ekiruyi
ne gusuulibwa wansi;
embuyaga ez’Ebuvanjuba ne zigukaza,
ebibala byagwo ne biggwaako,
n’amatabi gaakwo amagumu ne gakala,
era ne gwokebwa omuliro.
13 (AG)Kaakano gusimbiddwa mu ddungu,
awakalu awatali mazzi.
14 (AH)Omuliro gwava ku limu ku matabi,
ne gwokya amatabi gaagwo n’ebibala byagwo.
Tewasigadde ttabi ggumu na limu ku gwo
eriyinza okukolwamu omuggo ogw’obwakabaka.’
Kuno kukungubaga, era kukozesebwa ng’okukungubaga.”
Mweweeyo eri Katonda
4 (A)Kiki ekireeta entalo n’okulwanagana mu mmwe? Si lwa kubanga mu mitima gyammwe mujjudde ebintu bingi nnyo ebibi bye mwagala? 2 Mwagala ebintu ne mutabifuna ne muba n’obuggya, ne mulyoka muttiŋŋana so ne mutasobola kubifuna, nga mulwana era nga muyomba kubanga mulemeddwa okubisaba. 3 (B)Era ne bwe mubisaba, temubifuna kubanga ekigendererwa kyammwe kikyamu; mugenderera kubikozesa ku masanyu gokka.
4 (C)Mmwe abenzi temumanyi ng’okuba mikwano gy’ensi bulabe eri Katonda? Noolwekyo omuntu yenna bw’alondawo okuba mukwano gw’ensi afuuka mulabe wa Katonda. 5 Oba mulowooza nti Ekyawandiikibwa tekiba na makulu bwe kigamba nti, “Omwoyo gwe yassa mu ffe, atulabirira n’okwagala okujjudde obuggya”? 6 (D)Kyokka Omwoyo omukulu oyo era agaba ekisa kingi. Kyekiva kigamba nti,
“Katonda alwana n’ab’amalala
naye abawombeefu abawa ekisa.”
7 (E)Kale, mugondere Katonda era mulwanyisenga Setaani, ajja kubaddukanga. 8 (F)Musemberere Katonda, ne Katonda anaabasembereranga. Mulongoose engalo zammwe, mmwe abakozi b’ebibi, mutukuze emitima gyammwe, mmwe abalina emyoyo egitaaganaaga. 9 (G)Mukungubage, mukube ebiwoobe era mukaabe. Okuseka kwammwe kufuuke okukungubaga, n’essanyu lifuuke okunakuwala. 10 Mwetoowazenga mu maaso ga Mukama waffe, naye alibagulumiza.
11 (H)Abooluganda, temugeyaŋŋananga, era buli omu aleme kwogera bubi ku munne newaakubadde okusalira munne omusango. Bwe mukikola muba mulwanyisa etteeka era musalira etteeka omusango. Bw’osalira etteeka omusango, oba totuukiriza tteeka wabula obeera musazi wa musango. 12 (I)Oyo yekka eyateeka amateeka y’asala omusango. Era y’asalawo okulokola oba okuzikiriza. Kale, osinziira ku ki okusalira muliraanwa wo omusango?
Okulabula ku kwekulumbaza
13 (J)Muwulire mmwe abagamba nti, “Leero oba enkya nzija kugenda egindi maleyo omwaka gumu, era ntandikeyo omulimu ogunanfunyisa ensimbi ennyingi.” 14 (K)Mumanyidde ku ki ebigenda okubaawo enkya oba obulamu bwammwe bwe bunaaba? Kubanga ebbanga lye mumala nga muli balamu liri ng’olufu olulabika ate mangwago ne lubula. 15 (L)Kino kye musaanira okwogera nti, “Katonda bw’anaaba ng’asiimye tuliba balamu ne tukola kino oba kiri.” 16 (M)Bwe mutakola mutyo muba mwekuluntaza olw’entegeka zammwe, songa okwekuluntaza okw’engeri eyo tekusanyusa Katonda. 17 (N)Okumanya ekituufu ekiteekwa okukolwa, naye ne mutakikola, kuba kwonoona.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.