Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yeremiya 48-49

Obubaka Obukwata ku Mowaabu

48 (A)Ebikwata ku Mowaabu:

Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti,

“Zikisanze Nebo, kubanga kijja kuzikirizibwa,
    Kiriyasayimu kiswale kiwambibwe,
    ekigo eky’amaanyi kijja kuswala kimenyebwe.
(B)Mowaabu taddeyo kutenderezebwa;
    mu Kesuboni abantu balitegeka okugwa kwe, nga boogera nti,
    ‘Mujje, tumalewo ensi eyo.’
Nammwe, mmwe Madumeni mulisirisibwa,
    n’ekitala kirikugoberera.
(C)Muwulirize emiranga egiva e Kolonayimu,
    okwonoonekerwa n’okuzikirizibwa okunene.
Mowaabu alimenyebwa;
    abawere ne bakaaba.
(D)Bakwata ekkubo erigenda e Lukisi,
    nga bwe bakungubaga
ku luguudo olugenda e Kolonayimu,
    emiranga egy’okuzikirizibwa giwulirwa.
(E)Mudduke! Muwonye obulamu bwammwe;
    mubeere ng’ebisaka mu ddungu.
(F)Kubanga mwesiga ebikolwa byammwe n’obugagga bwammwe,
    nammwe mulitwalibwa ng’abaddu,
ne Kemosi alitwalibwa mu buwaŋŋanguse
    awamu ne bakabona be n’abakungu be.
Omuzikiriza alirumba buli kibuga,
    era tewali kibuga kiriwona.
Ekiwonvu kiryonoonebwa
    n’olusenyu luzikirizibwe
    kubanga Mukama ayogedde.
Muwe Mowaabu ebiwaawaatiro abuuke agende
    kubanga alifuuka matongo,
ebibuga bye birizikirizibwa,
    nga tewali abibeeramu.

10 (G)“Akolimirwe oyo agayaalira omulimu gwa Mukama Katonda.
    Akolimirwe oyo aziyiza ekitala kye okuyiwa omusaayi.

11 (H)“Mowaabu abadde mirembe okuva mu buvubuka bwe,
    nga wayini gwe batasengezze,
gwe bataggye mu kibya ekimu okumuyiwa mu kirala,
    tagenzeko mu buwaŋŋanguse.
Kale awooma ng’edda,
    n’akawoowo ke tekakyukanga.
12 Naye ennaku zijja,”
    bw’ayogera Mukama Katonda,
“lwe ndituma basajja bange abaggya wayini mu bibya,
    era balimuyiwa ebweru;
balittulula ensuwa ze
    baase n’ebibya bye.
13 (I)Awo Mowaabu alikwatibwa ensonyi olwa Kemosi,
    ng’ennyumba ya Isirayiri bwe yaswala
    bwe yeesiga Beseri.

14 (J)“Oyinza otya okugamba nti, ‘Tuli balwanyi,
    abasajja abazira mu ntalo?’
15 (K)Mowaabu alizindibwa n’ebibuga bye ne bizikirizibwa;
    abavubuka be abato bagende battibwe,”
    bw’ayogera Kabaka, erinnya lye ye Mukama Katonda ow’Eggye.
16 (L)“Okugwa kwa Mowaabu kusembedde;
    akabi katuuse.
17 Mumubeesebeese mwenna abamwetoolodde,
    mwenna abamanyi ettutumu lye;
mugambe nti, ‘Ng’Omuggo ogw’amaanyi ogw’obwakabaka gumenyese,
    ng’oluga olw’ekitiibwa lumenyese!’ 

18 (M)“Mukke muve mu kitiibwa kyammwe
    mutuule ku ttaka,
    mmwe abatuuze b’Omuwala w’e Diboni,
kubanga oyo azikiriza Mowaabu
    alibajjira azikirize ebibuga byammwe ebya bbugwe.
19 (N)Muyimirire ku luguudo mulabe,
    mmwe ababeera mu Aloweri.
Mubuuze omusajja adduka, n’omukazi atoloka,
    mubabuuze nti, ‘Kiki ekiguddewo?’
20 (O)Mowaabu aswadde kubanga amenyesemenyese.
    Mukaabe muleekaane!
Mulangiririre mu Alunoni
    nti Mowaabu kizikiridde.
21 (P)Okusala omusango kutuuse mu nsi ey’ensenyi
    ku Koloni ne ku Yaza ne ku Mefaasi,
22     (Q)ne ku Diboni, ne ku Nebo ne ku Besudibulasayimu,
23     (R)ne ku Kiriyasayimu ne ku Besugamuli ne ku Besumyoni;
24     (S)ne ku Keriyoosi ne ku Bozula
    ne ku bibuga byonna eby’omu nsi ya Mowaabu ebiri ewala n’ebiri okumpi.
25 (T)Ejjembe lya Mowaabu lisaliddwako,
    n’omukono gwe gumenyese,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.

26 (U)“Mumutamiize;
    kubanga ajeemedde Mukama.
Ka Mowaabu yekulukuunyize mu bisesemye bye,
    era asekererwe.
27 (V)Isirayiri tewagisekereranga?
    Baali bamukutte mu bubbi,
olyoke onyeenye omutwe gwo ng’omusekerera
    buli lw’omwogerako?
28 (W)Muve mu bibuga byammwe mubeere mu njazi,
    mmwe ababeera mu Mowaabu.
Mubeere ng’ejjiba erikola ekisu kyalyo
    ku mumwa gw’empuku.

29 (X)“Tuwulidde amalala ga Mowaabu
    amalala ge agayitiridde n’okwemanya,
okwewulira kwe era n’okweyisa kwe
    era n’okwegulumiza kwe okw’omutima.
30 Mmanyi obusungu bwe obutaliimu,” bw’ayogera Mukama Katonda,
    “okwenyumiriza kwe okutaliiko kye kugasa.
31 (Y)Noolwekyo nkaabirira Mowaabu,
    olwa Mowaabu yenna nkaaba,
    nkungubagira abasajja ab’e Kirukeresi.
32 (Z)Nkukaabira ggwe amaziga, nga Yazeri bw’akaaba,
    ggwe omuzabbibu gw’e Sibuna.
Amatabi gammwe geegolola okutuuka ku nnyanja;
    gatuuka ku nnyanja y’e Yazeri.
Omuzikiriza agudde ku bibala byo
    ebyengedde era n’emizabbibu.
33 (AA)Essanyu n’okujaguza biggiddwa ku nnimiro
    ne ku bibanja bya Mowaabu.
Nziyizza okukulukuta kwa wayini mu masogolero;
    tewali asogola ng’aleekaana olw’essanyu.
Newaakubadde nga waliyo okuleekaana,
    okuleekaana okwo si kwa ssanyu.

34 (AB)“Amaloboozi g’okukaaba kwabwe galinnye
    okuva e Kesuboni okutuuka ku Ereyale, n’okutuuka ku Yakazi.
Okuva e Zowaali okutuuka e Kolanayimu n’e Egulasuserisiya,
    kubanga n’amazzi g’e Nimulimu gakalidde.
35 (AC)Ndiggyawo
    abo abawaayo ebiweebwayo mu bifo ebigulumivu e Mowaabu,
    ne bootereza n’obubaane eri bakatonda baabwe,” bw’ayogera Mukama Katonda.
36 (AD)“Noolwekyo omutima gwange gukaabira Mowaabu ng’endere;
    gukaaba ng’endere olw’abasajja b’e Kirukesi.
    Obugagga bwe baafuna buweddewo.
37 (AE)Buli mutwe mumwe
    na buli kirevu kisaliddwako;
buli mukono gutemeddwako
    na buli kiwato kisibiddwamu ebibukutu.
38 (AF)Ku buli kasolya ka nnyumba e Mowaabu
    ne mu bifo awakuŋŋaanirwa,
tewaliwo kintu kirala wabula okukungubaga,
    kubanga njasizzayasizza Mowaabu
    ng’ekibya ekitaliiko akyagala,” bw’ayogera Mukama Katonda.
39 “Ng’amenyeddwamenyeddwa! Nga bakaaba!
    Mowaabu ng’akyusa omugongo gwe olw’obuswavu!
Mowaabu afuuse kyakusekererwa,
    ekyekango eri bonna abamwetoolodde.”
40 (AG)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti:
“Laba! Empungu ekka,
    ng’eyanjuluza ebiwaawaatiro byayo ku Mowaabu.
41 (AH)Ebibuga birikwatibwa
    n’ebigo biwambibwe.
Ku lunaku olwo emitima gy’abalwanyi ba Mowaabu
    giribeera ng’omutima gw’omukazi alumwa okuzaala.
42 (AI)Mowaabu alizikirizibwa,
    kubanga yajeemera Mukama.
43 (AJ)Entiisa n’obunnya n’omutego bibalindiridde,
    mmwe abantu ba Mowaabu,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.
44 (AK)“Buli alidduka entiisa
    aligwa mu bunnya,
n’oyo aliba avudde mu bunnya
    alikwatibwa omutego;
kubanga ndireeta ku Mowaabu
    omwaka gw’okubonaabona kwe,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.

45 (AL)“Mu kisiikirize kya Kesuboni,
    abadduka mwe bayimirira nga tebalina maanyi,
kubanga omuliro guvudde mu Kesuboni,
    ennimi z’omuliro wakati mu Sikoni,
era gw’okezza ebyenyi bya Mowaabu,
    n’obuwanga bw’abo abaleekaana nga beewaanawaana.
46 (AM)Zikusanze ggwe, Mowaabu.
    Abantu b’e Kemosi bazikiridde,
batabani bo batwaliddwa mu buwaŋŋanguse
    ne bawala bammwe mu busibe.

47 (AN)“Ndikomyawo nate obugagga bwa Mowaabu
    mu nnaku ezijja,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.

Omusango Mowaabu gw’asaliddwa gukoma wano.

Obubaka Obukwata ku Amoni

49 (AO)Ebikwata ku baana ba Amoni bye bino.

Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“Isirayiri terina baana balenzi?
    Terina basika?
Lwaki Malukamu atutte Gaadi?
    Lwaki abantu be batutte ebibuga by’e Gaadi?
(AP)Naye ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama Katonda,
“lwe ndiraya eŋŋoma ezirangirira olutalo
    ku Labba eky’abawala ba Amoni.
Kirifuuka ntuumu ya mafunfugu,
    n’ebyalo ebiriraanyeewo byokebwe omuliro.
Isirayiri eryoke egobere ebweru
    abo abagigoba,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.
(AQ)“Kaaba, ggwe Kesuboni, kubanga Ayi kizikiridde!
    Mukaabe mmwe abatuuze b’omu Labba!
Mwesibe ebibukutu mukungubage.
    Mudduke mudde eno n’eri mu bisenge by’ekibuga,
kubanga Malukamu alitwalibwa mu busibe,
    awamu ne bakabona n’abakungu.
(AR)Lwaki mwenyumiriza olw’ebiwonvu byammwe,
    ne mwenyumiriza olw’ebiwonvu ebigimu?
Ggwe omuwala atali mwesigwa,
    weesiga obugagga bwo n’ogamba nti,
    ‘Ani alinnumba?’
Ndikuleetako entiisa,
    okuva mu abo bonna abakwetoolodde,”
    bw’ayogera Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye.
“Buli omu ku mmwe aligobebwa,
    era tewali n’omu alikuŋŋaanya abadduka.

(AS)“Naye oluvannyuma ndikomyawo nate omukisa gy’abaana ba Amoni,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.

Obubaka obukwata ku Edomu

(AT)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Tewakyali magezi mu Temani?
    Abeegendereza babuliddwa okutegeera?
    Amagezi gaabwe gaweddemu ensa?
(AU)Mukyuke mudduke mwekweke mu mpuku eziri ewala
    mmwe abatuuze b’e Dedani,
kubanga ndireeta ekikangabwa ku Esawu,
    mu kiseera bwe ndimubonerereza.
Abanozi b’emizabbibu singa bazze gy’oli,
    tebandikuleseeko mizabbibu mibale bubazi?
Singa ababbi bazze ekiro,
    tebandibbye byonna bye beetaaga?
10 (AV)Naye ndyambula Esawu mwerule;
    ndizuula ebifo bye mwe yeekweka,
    aleme kwekweka.
Abaana be, n’ab’eŋŋanda ze n’ab’omuliraano baakuzikirira,
    era wa kuggwaawo.
11 (AW)Bamulekwa mu mmwe mubaleke, ndibalabirira.
    Ne bannamwandu mu mmwe banneesige.”

12 (AX)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Obanga abo abatandinywedde ku kikompe bawaliriziddwa okukinywako, lwaki mmwe temubonerezebwa? Temuuleme kubonerezebwa, mulina okukinywa. 13 (AY)Neerayirira,” bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Bozula alifuuka matongo era ekibuga ekijjudde entiisa, ekinyoomebwa era ekikolimire, era ebibuga bye byonna biriba matongo emirembe gyonna.”

14 Mpulidde obubaka okuva eri Mukama Katonda.
    Omubaka yatumibwa eri amawanga okugamba nti,
“Mwekuŋŋaanye mukirumbe!
    Mugolokoke mukole olutalo!”

15 “Kaakano ndibafuula aba wansi ennyo mu mawanga,
    abanyoomebwa mu bantu.
16 (AZ)Entiisa gy’oleeta
    n’amalala g’omutima gwo bikulimbye,
mmwe ababeera mu bunnya bw’amayinja,
    mmwe ababeera waggulu mu nsozi.
Wadde nga muzimba ebisu byammwe okubeera waggulu nga eby’empungu,
    ndibawanulayo ne mbasuula wansi,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.
17 (BA)“Edomu kirifuuka kyerolerwa,
    abo bonna abayitawo balyewuunya batye
    olw’ebiwundu bye byonna.
18 (BB)Nga Sodomu ne Ggomola bwe byayonoonebwa,
    wamu n’ebibuga ebirala ebiriraanyeewo,” bw’ayogera Mukama Katonda,
“tewaliba n’omu abibeeramu;
    tewali musajja alikituulamu.

19 (BC)“Ng’empologoma eva mu bisaka by’omu Yoludaani
    okugenda mu muddo omugimu,
ndigoba Edomu mu nsi ye amangu n’embiro.
    Ani oyo omulonde gwe nnaateekawo akole kino?
Ani ali nga nze era ani ayinza okunsomooza?
    Era musumba wa ndiga ki ayinza okunjolekera?”
20 (BD)Noolwekyo, muwulire Mukama Katonda kyategese okuleeta ku Edomu,
    kyategekedde abo abatuula mu Temani.
Endiga ento mu bisibo za kuwalulwa,
    alyonoonera ddala ebisibo byazo ku lwabwe.
21 (BE)Bwe baligwa ensi erikankana,
    emiranga gyabwe giriwulirwa mu Nnyanja Emyufu.
22 (BF)Laba, alibuuka mu bire ng’empungu n’atumbiira,
    n’alyoka akka ng’ayanjululiza ebiwaawaatiro bye ku Bozula.
Ku lunaku olwo emitima gy’abalwanyi ba Edomu
    giribeewanika ng’ogw’omukazi alumwa okuzaala.

Obubaka ku Damasiko

23 (BG)Ebikwata ku Damasiko:

“Kamasi ne Alupaadi biweddemu amaanyi,
    kubanga biwulidde amawulire amabi.
Bakeŋŋentereddwa,
    batabuddwa ng’ennyanja esiikuuse, tebasobola kutereera.
24 Ddamasiko ayongobedde,
    akyuse adduke
    era okutya kumukutte;
obubalagaze n’obuyinike bimunyweezezza,
    obulumi nga obw’omukazi alumwa okuzaala.
25 Lwaki ekibuga ekimanyiddwa tebakidduse,
    ekibuga mwe nsanyukira?
26 (BH)Ddala abavubuka baakyo baligwa mu nguudo,
    n’abalwanyi baakyo bonna ku olwo baakusirisibwa,”
    bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
27 (BI)“Ndiyokya bbugwe wa Ddamasiko omuliro;
    gwakumalawo n’embiri za Benukadaadi.”

Obubaka ku Kedali ne Kazoli

28 (BJ)Bino bye bikwata ku Kedali n’obwakabaka bwa Kazoli, obwalumbibwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni.

Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“Golokoka, olumbe Kedali
    ozikirize abantu be bugwanjuba.
29 (BK)Weema zaabwe n’ebisibo byabwe bya kutwalibwa;
    enju zaabwe ziryetikkibwa
    n’ebintu byabwe byonna n’eŋŋamira zaabwe.
Abasajja balibakanga nga bawowoggana nti,
    ‘Akabi kavudde ku buli ludda!’

30 “Mudduke mwekukume mangu!
    Mubeere mu mpuku empanvu, mmwe abatuuze b’omu Kazoli,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.
“Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni abasalidde olukwe;
    ategese okubalumba.

31 (BL)“Golokoka olumbe eggwanga eriri mu ggandaalo,
    eriri mu kweyagala,”
    bw’ayogera Mukama Katonda,
“eggwanga eritalina miryango gisibwa wadde ebyuma;
    abantu baalyo babeera awo bokka.
32 (BM)Eŋŋamira zaabwe zaakunyagibwa,
    n’amagana gaabwe amanene gatwalibwe.
Ndibasaasaanya eri empewo, abo abali mu bifo eby’ewala,
    mbaleeteko akabi okuva ku buli ludda,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.
33 (BN)“Kazoli alifuuka kifo kya bibe,
    ekifo eky’amatongo eky’emirembe n’emirembe.
Tewali alikibeeramu;
    tewali muntu alikituulamu.”

Obubaka ku Eramu

34 (BO)Kino kye kigambo kya Mukama Katonda ekyajjira nnabbi Yeremiya ekikwata ku Eramu, nga Zeddekiya kabaka wa Yuda kyajje alye obwakabaka.

35 (BP)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Laba, ndimenya omutego gwa Eramu,
    amaanyi gaabwe mwe gasinga okwesigibwa.
36 (BQ)Era ndireeta ku Eramu empewo ennya,
    okuva mu bitundu ebina eby’eggulu;
ndibasaasaanyiza eri empewo ezo ennya,
    era tewaliba nsi n’emu
    abawaŋŋanguse ba Eramu gye bataliddukiramu.
37 (BR)Ndimenyeramenyera Eramu mu maaso g’abalabe be,
    mu maaso gaabo abamunoonya okumutta;
ndibatuusaako ekikangabwa,
    n’obusungu bwange obungi ennyo,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.
“Ndibawondera n’ekitala
    okutuusa lwe ndibamalirawo ddala.
38 Nditeeka entebe yange ey’obwakabaka mu Eramu
    era nzikirize kabaka we n’abakungu be,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.

39 (BS)“Wabula ekiseera kijja,
    lwe ndiddiramu Eramu,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.

Abaebbulaniya 7

Kabona Merukizeddeeki

(A)Merukizeddeeki yali kabaka w’e Ssaalemi, era yali kabona wa Katonda Ali Waggulu Ennyo. Ibulayimu bwe yali ng’ava mu lutalo mwe yattira bakabaka, Merukizeddeeki n’amusisinkana, n’amusabira omukisa. Ne Ibulayimu n’awa Merukizeddeeki ekitundu eky’ekkumi ekya byonna bye yanyaga. Okusooka erinnya Merukizeddeeki litegeeza nti Kabaka ow’Obutuukirivu. Ate era litegeeza kabaka w’e Ssaalemi ekitegeeza nti ye kabaka ow’emirembe. (B)Merukizeddeeki taliiko kitaawe oba nnyina. Ennaku ze teziriiko ntandikwa wadde enkomerero, era n’obulamu bwe tebukoma. Asigala kabona emirembe gyonna, ng’Omwana wa Katonda.

(C)Kale mulabe Merukizeddeeki oyo nga bwe yali omukulu! Ibulayimu jjajjaffe yamuwa ekimu eky’ekkumi ekya byonna bye yanyaga. (D)N’abo abazzukulu ba Leevi abaaweebwa obwakabona, balagirwa okusoloozanga ekimu eky’ekkumi ng’etteeka bwe ligamba, newaakubadde nga baava mu ntumbwe za Ibulayimu, kwe kugamba nti nabo baganda baabwe. (E)Naye oyo ataabalibwa mu kika kyabwe, yafuna ekimu eky’ekkumi okuva eri Ibulayimu, Merukizeddeeki n’asabira omukisa oyo eyalina ebyasuubizibwa. Tewali kubuusabuusa omukulu y’asabira omuto omukisa. (F)Mu ngeri emu, ekimu eky’ekkumi kiweebwa eri abantu abafa, naye mu ngeri endala, kiweebwa eri oyo akakasibwa nga mulamu. Noolwekyo ka tugambe nti okuyita mu Ibulayimu, ne Leevi aweebwa ekimu eky’ekkumi, naye yawaayo ekimu eky’ekkumi. 10 Yali akyali mu ntumbwe za jjajjaawe, Merukizeddeeki bwe yamusisinkana.

11 (G)Kale singa okutuukirira kwaliwo lwa bwakabona obw’Ekileevi, kubanga abantu baaweebwa amateeka nga gasinzira ku bwo, kiki ekyetaaza kabona omulala okuva mu lubu lwa Merukizeddeeki, mu kifo ky’okuva mu lubu lwa Alooni? 12 Kubanga bwe wabaawo okukyusibwa mu bwakababona, era kiba kyetaagisa n’okukyusa mu mateeka. 13 (H)Oyo ayogerwako ebigambo ebyo wa kika kirala omutaavanga muntu eyali aweerezaako ku Kyoto. 14 (I)Kubanga kimanyiddwa nga Mukama waffe yava mu Yuda ekika Musa ky’ataayogerako bigambo bya bwakabona. 15 Era kitegeerekeka nga wazeewo Kabona omulala mu kifaananyi kya Merukizeddeeki, 16 atassibwawo ng’amateeka ag’ebiragiro eby’omubiri bwe gali, wabula ng’amaanyi bwe gali ag’obulamu obutaggwaawo. 17 (J)Kubanga Kristo ayogerwako nti,

“Oli kabona okutuusa emirembe gyonna
    ng’olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.”

18 (K)Ekiragiro ekyasooka kijjululwa olw’obunafu n’olw’obutagasa bwakyo, 19 (L)kubanga amateeka tegaliiko kye gatuukiriza, wabula essubi erisinga obulungi, mwe tuyita okusemberera Katonda.

20 Era kino tekyakolebwa watali kirayiro. Waliwo abaafuulibwa bakabona awatali kirayiro, 21 (M)naye ye yafuulibwa kabona mu kirayiro, ng’ayita mu oyo amwogerako nti,

“Mukama yalayira
    era tagenda kwejjusa:
‘Oli kabona emirembe gyonna.’ ”

22 (N)Yesu kyeyava afuuka omuyima w’endagaano esinga obulungi.

23 Bangi abaafuulibwa bakabona kubanga baafanga ne basikirwa. 24 (O)Naye olwokubanga Yesu abeerera emirembe gyonna, alina obwakabona obutakyukakyuka. 25 (P)Era kyava ayinza okulokolera ddala abajja eri Katonda ku bubwe, kubanga abeera mulamu ennaku zonna okubawolereza.

26 (Q)Noolwekyo Kabona Asinga Obukulu afaanana bw’atyo ye yatusaanira, omutukuvu, ataliiko musango, wadde ebbala, eyayawulibwa okuva ku abo abalina ebibi, era eyagulumizibwa okusinga eggulu, 27 (R)ataliiko kye yeetaaga ekya buli lunaku, nga bakabona abakulu abalala, okusooka okuwangayo ssaddaaka olw’ebibi bye ye, n’oluvannyuma olw’ebyo eby’abantu abalala. Ekyo yakikola omulundi gumu, bwe yeewaayo yennyini. 28 (S)Amateeka gaalondanga abantu okuba Bakabona Abasinga Obukulu n’obunafu bwabwe, naye ekigambo eky’ekirayiro, ekyaddirira amateeka, kironda Omwana eyatuukirira okutuusa emirembe gyonna.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.