Old/New Testament
Okukungubagira Ttuulo
27 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 2 “Kaakano, ggwe omwana w’omuntu tandika okukungubagira Ttuulo. 3 (A)Oyogere eri Ttuulo, ekiri awayingirirwa mu nnyanja, omusuubuzi ow’amawanga ag’oku ttale ery’ennyanja, nti bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“ ‘Ggwe Ttuulo oyogera nti,
“Natuukirira mu bulungi.”
4 Amatwale go gakoma mu nnyanja wakati,
era n’abaakuzimba baakola omulimu ogw’ettendo.
5 (B)Baakola embaawo zo zonna
mu miberosi gya Seniri,
ne baddira emivule egy’e Lebanooni
ne bakolamu omulongooti.
6 (C)Ne bakola enkasi zo okuva mu myera egya Basani,
n’emmanga zo, bazikola mu nzo,
ez’oku bizinga ebya Kittimu,
nga bazaaliiridde n’amasanga.
7 (D)Ettanga lyo lyali lya linena aliko omudalizo eryava mu Misiri,
era lyakozesebwanga ebendera;
n’engoye zo zaali za bbululu n’ez’effulungu
ezaaba ku ttale erya Erisa ekyali ku mabbali g’ennyanja.
8 (E)Abasajja b’e Sidoni ne Aluwadi be baakubanga enkasi,
n’abasajja bo abamanyirivu, ggwe Ttuulo, be baali abalunnyanja.
9 (F)Abasajja abazira ab’e Gebali n’abagezigezi baaberanga mu ggwe,
era ng’omulimu gwabwe kunyweza emiguwa gy’ebyombo;
ebyombo byonna eby’oku nnyanja n’abagoba baabyo bajjanga okusuubula naawe;
nga bagula ebyamaguzi byo.
10 (G)“ ‘Abantu ab’e Buperusi, ne Luudi ne Puuti[a],
baali mu ggye lyo,
era be baawanikanga engabo n’enkuufiira ku bisenge byo
ne bakuwa ekitiibwa.
11 Abasajja ba Aluwadi n’eggye lyabwe
be baakuumanga bbugwe wo enjuuyi zonna;
abasajja b’e Gagammada baabanga mu mirongooti gyo
nga bawanise engabo zaabwe okwetooloola bbugwe wo,
era be baakulabisanga obulungi.
12 (H)“ ‘Talusiisi yakolanga naawe obusuubuzi obw’obugagga obw’engeri zonna bwe walina, baawanyisanga effeeza, n’ebyuma, n’amabaati n’amasasi bafune ebyamaguzi byo.
13 (I)“ ‘Buyonaani, Tubali, ne Meseki be baakusuubulangako, nga muwanyisaganya abaddu n’ebintu eby’ebikomo bafune ebintu byammwe.
14 (J)“ ‘Ab’omu Togaluma baawanyisaganya embalaasi ez’emirimu egya bulijjo, n’embalaasi ez’entalo, n’ennyumbu bafune ebyamaguzi byo.
15 (K)“ ‘Abasajja ab’e Dedani baasuubulanga naawe, era n’abatuuze ab’oku lubalama lw’ennyanja baali katale ko, nga bakusasula n’amasanga n’emitoogo.
16 (L)“ ‘Edomu baakolanga naawe eby’obusuubuzi olw’obungi bw’ebintu byo; era baawanyisanga naawe amayinja aga nnawandagala, n’engoye ez’effulungu, n’emirimu egy’eddalizo, ne linena omulungi ne kolali n’amayinja amatwakaavu bafune ebyamaguzi byo.
17 (M)“ ‘Yuda ne Isirayiri baakolanga naawe eby’obusuubuzi nga bawaanyisa naawe eŋŋaano eyavanga e Minnisi n’ebyakaloosa, n’omubisi gw’enjuki, n’amafuta n’envumbo, bafune ebyamaguzi byo.
18 (N)“ ‘Olw’obugagga bwo obungi, n’ebintu byo ebingi, Ddamasiko baasuubulanga naawe wayini ow’e Keruboni, n’ebyoya by’endiga ebyeru eby’e Zakari. 19 Aba Ddaani ne Yovani (Buyonaani) abaavanga e Wuzari baawanyisanga naawe ekyuma ekiyisiddwa mu muliro n’embawo eza kasiya ne kalamo, ne bagula ebyamaguzi byo.
20 “ ‘Dedani yakusuubulangako bulangiti ezakozesebwanga ne mu kwebagala embalaasi.
21 (O)“ ‘Buwalabu n’abalangira bonna ab’e Kedali baakusuubulangako era ne bakugulako abaana b’endiga, n’endiga ennume n’embuzi.
22 (P)“ ‘Abasuubuzi ab’e Seeba ne Laama baakolagananga naawe, nga bakusuubulako ebyakaloosa ebisinga byonna obulungi, n’amayinja gonna ag’omuwendo omungi ne zaabu, bafune ebyamaguzi byammwe.
23 (Q)“ ‘Kalani, ne Kaane ne Adeni n’abasuubuzi ab’e Seeba, Asuli, ne Kirumaadi baasuubulanga naawe. 24 Mu katale ko baasubulirangamu engoye ennungi, engoye eza bbululu, n’engoye ez’eddalizo, n’ebiwempe ebineekaneeka ebiriko emiguwa emiruke egyalukibwa obulungi.
25 “ ‘Ebyombo eby’e Talusiisi
bye byatambuzanga ebyamaguzi byo.
Era wajjula n’oba n’ebintu bingi
wakati mu nnyanja.
26 (R)Abakubi b’enkasi bakutwala
awali amayengo amangi.
Naye omuyaga ogw’Ebuvanjuba gulikumenyeramenyera
wakati mu nnyanja.
27 (S)Obugagga bwo n’ebyamaguzi byo n’ebikozesebwa byo,
n’abalunnyanja bo,
n’abagoba bo,
n’abasuubuzi bo n’abaserikale bo bonna
na buli muntu ali ku kyombo balibbira
wakati mu nnyanja ku lunaku kw’oligwiira ku kabenje.
28 (T)Eddoboozi ly’okukaaba kw’abalunnyanja bo,
kulikankanya ebyalo ebiri ku lubalama lw’ennyanja.
29 Abakubi b’enkasi bonna
balyabulira ebyombo byabwe;
n’abagoba n’abalunnyanja bonna
baliyimirira ku lubalama lw’ennyanja.
30 (U)Baliyimusa amaloboozi gaabwe
ne bakukaabira nnyo;
era baliteeka enfuufu ku mitwe gyabwe
ne beevulunga mu vvu.
31 (V)Balikumwera emitwe gyabwe,
era Balyambala ebibukutu.
Balikukaabira n’emmeeme ezennyamidde
nga bakukungubaga n’emitima egijjudde ennyiike.
32 (W)Balikukungubagira nga bwe bakuba ebiwoobe
nga boogera nti,
Ani eyali asirisibbwa nga Ttuulo
eyeetooloddwa ennyanja?
33 (X)Bwe waweerezanga ebyamaguzi byo ku nnyanja,
amawanga mangi gamalibwanga;
era ne bakabaka b’ensi
baagaggawazibwa eby’obugagga bwo ebingi n’ebyamaguzi byo.
34 (Y)Kaakano ennyanja ekumazeewo,
mu buziba bw’amazzi;
ebyamaguzi byo n’ab’omu kyombo kyo
bonna babbidde naawe.
35 (Z)Abantu bonna ab’oku lubalama lw’ennyanja
bafunye ensisi,
era ne bakabaka baabwe bajjudde entiisa
tebafaananika mu maaso olw’entiisa.
36 (AA)Abasuubuzi ab’omu mawanga bakufuuyira empa;
otuuse ku nkomerero embi,
so tolibeerawo nate ennaku zonna.’ ”
Obunnabbi ku Kabaka w’e Ttuulo
28 Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, 2 (AB)“Omwana w’omuntu, gamba omufuzi w’e Ttuulo nti,
“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
Kubanga olina amalala mu mutima gwo kyova oyogera nti,
‘Ndi katonda,
era ntuula ku ntebe ey’obwakabaka eya Katonda wakati mu nnyanja,’
songa oli muntu buntu, so si katonda,
newaakubadde ng’olowooza nga oli mugezi nga katonda.
3 (AC)Oli mugezi okusinga Danyeri?
Tewali kyama kikukwekeddwa?
4 (AD)Mu magezi go ne mu kutegeera kwo
weefunidde eby’obugagga,
n’okuŋŋaanya ezaabu n’effeeza
n’obitereka mu mawanika go.
5 (AE)Olw’obukujjukujju bwo mu by’obusuubuzi
oyongedde okugaggawala,
era n’omutima gwo
gwenyumiririza mu byobugagga bwo.”
6 Mukama Katonda kyava ayogera nti,
“Kubanga olowooza ng’oli mugezi,
ng’oli mugezi nga katonda,
7 (AF)kyendiva nkuleetera bannaggwanga ne bakulumba,
ab’omu mawanga agasinga obukambwe,
ne basowola ebitala byabwe eri obulungi n’amagezi go,
ne boonoona okumasamasa kwo.
8 (AG)Balikusuula mu bunnya
n’ofiira eyo okufa okubi
wakati mu gayanja.
9 Olyogera nate nti, ‘Ndi katonda,’
mu maaso gaabo abakutta?
Oliba muntu buntu so si katonda
mu mikono gy’abo abakutta.
10 (AH)Olifa okufa okw’abatali bakomole, mu mikono gya bannaggwanga,
nze nkyogedde, bw’ayogera Mukama Katonda.”
11 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, 12 (AI)“Omwana w’omuntu kungubagira kabaka w’e Ttuulo, omutegeeze nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“ ‘Ggwe wali ekyokulabirako ekituukiridde ng’ojjudde amagezi
era nga watuukirira mu bulungi.
13 (AJ)Wali mu Adeni,
ennimiro ya Katonda;
buli jjinja ery’omuwendo nga likubikako,
sadio, topazi, alimasi, berulo,
onuku, yasipero, safiro,
ejjinja erya nnawandagala.
Okuteekebwateekebwa kwo n’ebikunyweza byakolebwa mu zaabu.
Era ku lunaku lwe watondebwa, byategekebwa.
14 (AK)Wali kerubi omukuumi eyafukibwako amafuta,
nakwawula lwa nsonga eyo.
Wabeeranga ku lusozi olutukuvu olwa Katonda,
n’otambulira wakati mu mayinja ag’omuliro.
15 Tewaliiko kya kunenyezebwa kyonna
okuva ku lunaku lwe watondebwa,
okutuusa obutali butuukirivu bwe bwalabika mu ggwe.
16 (AL)Mu bikolwa byo ebingi,
wajjula empisa embi,
era n’okola ebibi.
Kyennava nkugoba ku lusozi lwa Katonda,
mu buswavu obungi ne nkugoba ggwe kerubi eyakuumanga
okuva mu mayinja ag’omuliro.
17 (AM)Omutima gwo gwalina amalala
olw’obulungi bwo,
ne weelimbalimba
olw’ekitiibwa kyo.
Kyennava nkukanyuga ku nsi ne nkufuula
eky’okusekererwa mu maaso ga bakabaka.
18 (AN)Olw’ebibi byo ebingi n’olw’obukumpanya bwo
oyonoonye ebifo byo ebitukuvu.
Kyenava nziggya omuliro mu ggwe
ne gukusaanyaawo,
ne nkufuula evvu ku nsi
wakati mu abo bonna abaakulabanga.
19 (AO)Amawanga gonna agaakumanya
gaatya nnyo;
otuuse ku nkomerero embi,
so tolibeerawo nate ennaku zonna.’ ”
Obunnabbi eri Sidoni
20 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, 21 (AP)“Omwana w’omuntu kyuka otunuulire Sidoni, obawe obunnabbi, 22 (AQ)oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“ ‘Nkulinako ensonga, ggwe Sidoni,
era ndyegulumiza mu ggwe.
Balimanya nga nze Mukama
bwe ndimubonereza,
ne neeraga mu ye okuba omutukuvu.
23 (AR)Ndiweereza kawumpuli ku ye, era ndikulukusa
omusaayi mu nguudo ze.
Abafu baligwa wakati mu ye,
ekitala kimulumbe enjuuyi zonna.
Olwo balimanya nga nze Mukama.
24 (AS)“ ‘Tewalibaawo nate eri ennyumba ya Isirayiri omweramannyo ogufumita newaakubadde eriggwa eribafumita okuva mu baliraanwa abalina ettima. Era balimanya nga nze Katonda Ayinzabyonna.
25 (AT)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Bwe ndikuŋŋaanya abantu ba Isirayiri okubaggya mu mawanga gye baasaasaanyizibwa, nditukuzibwa mu bo mu maaso g’amawanga, era balituula mu nsi eyaabwe gye nawa omuddu wange Yakobo. 26 (AU)Balituula omwo mirembe, era balizimba amayumba ne basimba n’ennimiro ez’emizabbibu. Bwe ndibonereza baliraanwa baabwe bonna abaabayisa obubi, bo baliba batudde mirembe. Olwo balimanya nga nze Mukama Katonda waabwe.’ ”
Obunnabbi eri Misiri
29 (AV)Awo mu mwaka ogw’ekkumi, mu mwezi ogw’ekkumi ku lunaku olw’ekkumi n’ebbiri, ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 2 (AW)“Omwana w’omuntu, tunula eri Falaawo, ye kabaka w’e Misiri olangirire obunnabbi gy’ali n’eri Misiri yonna. 3 (AX)Yogera gy’ali nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“ ‘Nkulinako ensonga, Falaawo, ggwe kabaka w’e Misiri,
ggwe ogusota ogunene ogugalamidde wakati mu migga gyagwo,
ogwogera nti, “Kiyira wange,
era nze nnamwekolera.”
4 (AY)Nditeeka amalobo mu mba zo,
era ndireetera n’ebyennyanja eby’omu migga gyo okukwatira ku magamba go.
Ndikusikayo mu migga gyo
ng’ebyennyanja byonna bikwatidde ku magamba go.
5 (AZ)Ndikutwala mu ddungu,
ggwe n’ebyennyanja byonna eby’omu migga gyo.
Oligwa ku ttale,
so tolikuŋŋaanyizibwa newaakubadde okulondebwalondebwa.
Ndikuwaayo okuba emmere
eri ensolo enkambwe ez’oku nsi n’eri ebinyonyi eby’omu bbanga.
6 (BA)Awo bonna ababeera mu Misiri balimanya nga nze Mukama Katonda.
“ ‘Obadde muggo gwa lumuli eri ennyumba ya Isirayiri. 7 (BB)Bwe bakunyweza n’emikono gyabwe, n’omenyekamenyeka, n’oyuza ebibegabega byabwe; bwe baakwesigamako, n’omenyeka, era n’okutula n’emigongo gyabwe.
8 (BC)“ ‘Mukama Katonda kyava ayogera nti: Ndikujjira n’ekitala, n’enzita abantu bo n’ebisolo byabwe. 9 (BD)Ensi ey’e Misiri erifuuka matongo era ensiko, balyoke bamanye nga nze Mukama Katonda.
“ ‘Kubanga wayogera nti, “Kiyira wange, nze namukola,” 10 (BE)kyennaava mbeera n’ensonga eri ggwe n’eri emigga gyo, era ndifuula ensi ey’e Misiri okuba ensiko enjereere ejjudde amatongo okuva ku mulongooti ogw’e Sevene okutuuka ku nsalo ey’e Buwesiyopya. 11 (BF)Tewaliba kigere kya muntu newaakubadde ky’ensolo ekiri giyitamu, so teribeerwamu okumala emyaka amakumi ana. 12 (BG)Ndifuula ensi ey’e Misiri okuba amatongo wakati mu nsi ezaazika, era n’ebibuga byakyo biriba byereere okumala emyaka amakumi ana. Ndibunya Abamisiri mu mawanga ne mbataataanyiza mu nsi nnyingi.
13 “ ‘Naye Mukama Katonda agamba nti; Oluvannyuma lw’emyaka amakumi ana ndikuŋŋaanya Abamisiri okuva mu mawanga gye baasaasaanira, 14 (BH)era ndibakomyawo okuva mu busibe ne mbazza mu nsi ey’e Pasulo, ensi eya bajjajjaabwe, era eyo baliba bwakabaka obwajeezebwa. 15 (BI)Bulisinga obwakaba bwonna okujeezebwa, so tebulyegulumiza nate okusinga amawanga amalala. Ndiginafuyiza ddala, era tebalifuga nate amawanga. 16 (BJ)Misiri talyesigibwa nate abantu ba Isirayiri, naye eriba kijjukizo eky’ekibi kubanga baabakyukira nga banoonya okuyambibwa. Olwo balimanya nga nze Mukama Katonda.’ ”
17 (BK)Awo mu mwaka ogw’amakumi abiri mu omusanvu, mu mwezi ogw’olubereberye ku lunaku olusooka mu mwezi, ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 18 (BL)“Omwana w’omuntu, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni yaweereza eggye lye ne lirumba Ttuulo, buli mutwe ne gufuna ekiwalaata ne buli kibegabega ne kimenyebwa, naye ye n’eggye lye ne bataweebwa mpeera olw’okulumba Ttuulo. 19 (BM)Mukama Katonda kyava ayogera nti, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni ndimuwa Misiri ne yeetikka obugagga bwe, n’abanyagira ddala era y’eriba empeera ey’eggye lye. 20 (BN)Mmuwadde ensi ey’e Misiri okuba empeera ye gye yafubirira kubanga ye n’eggye lye bankolera omulimu, bw’ayogera Mukama Katonda.
21 (BO)“Ku lunaku olwo ndiyimusa ejjembe[b] ery’amaanyi mu nnyumba ya Isirayiri, era ndiyasamya akamwa ko mu bo. Olwo balimanya nga nze Mukama.”
Abakyala ne ba bbaabwe
3 (A)Abakazi abafumbo, mu ngeri y’emu muwulirenga babbammwe, bwe waba nga waliwo abatagondera kigambo kya Katonda, balyoke baleetebwe mu kukkiriza olw’empisa zammwe ennungi ne bwe muba nga temuliiko kye mubagambye. 2 Kubanga bajja kulaba empisa zammwe ennungi nga mubassaamu ekitiibwa. 3 (B)Okweyonja kwammwe kulemenga kuba kwa kungulu: nga mu misono gy’enviiri n’egy’amajjolobera ag’ebyo ebyambalwa mu bulago ne ku matu, n’egy’ebyambalo. 4 (C)Naye kube kwa mu mutima munda; okweyonja okutayonooneka okw’omwoyo omuwombeefu era omuteefu, era okwo kwe kw’omuwendo ennyo mu maaso ga Katonda. 5 (D)Kubanga n’abakazi ab’edda abatukuvu abaasuubiriranga mu Katonda, bwe batyo bwe beeyonjanga era nga bawulize eri ba bbaabwe. 6 (E)Saala bw’atyo bwe yali; yawuliranga nnyo Ibulayimu, ng’amussaamu ekitiibwa ng’amuyita mukama we. Kale obanga mwagala okuba bawala ba Saala, mubenga ba mpisa nnungi, olwo tewaabengawo kibatiisa kyonna.
7 (F)Nammwe abasajja abafumbo, mutegeere nga bakazi bammwe banafu, noolwekyo mubakwatenga n’obwegendereza. Era mubassengamu ekitiibwa nga mumanyi nga nabo Katonda alibaweera wamu nammwe, obulamu obutaggwaawo. Bwe munaakolanga bwe mutyo okusaba kwammwe tekuziyizibwenga.
Okubonyaabonyezebwa olw’Okukola Ebituufu
8 (G)Eky’enkomerero, mwenna mubenga n’emmeeme emu, buli omu alumirirwenga munne, era mwagalanenga ng’abooluganda ddala, mubenga ba kisa era beetoowaze. 9 (H)Temuwooleranga ggwanga. Abavumye, mmwe temumuvumanga. Wabula mumusabirenga mukisa, kubanga ekyo kye mwayitirwa, mulyoke muweebwe omukisa. 10 Kubanga ekyawandiikibwa kigamba nti,
“Ayagala okufuna obulamu n’okubeera mu ddembe,
aziyizenga olulimi lwe okwogera ekibi,
n’emimwa gye
okwogera ebyobukuusa.
11 Era yeewalenga okukola ebibi, akolenga ebirungi.
Anoonyenga emirembe era atambulirenga mu gyo.
12 (I)Kubanga abatuukirivu Mukama abatunuulira n’ekisa,
n’amatu ge gawuliriza bye basaba.
Kyokka aboonoonyi abatunuuliza bukambwe.”
13 (J)Bwe munaafubanga okukola ekituufu, ani anaabakolanga akabi? 14 (K)Naye era ne bwe munaabonyaabonyezebwanga olw’obutuukirivu, mulina omukisa. “Temutya bye batya; temutekemuka.” 15 (L)Mutyenga Mukama waffe Kristo mu mitima gyammwe. Era bulijjo mubenga beetegefu okuddamu buli ababuuza okunnyonnyola essuubi lyammwe, 16 (M)era muddengamu n’obuwombeefu, awamu n’eggonjebwa. Mubenga ba mutima mulungi, abo ababavuma era ababoogerako ekibi olw’empisa zammwe ennungi olw’okuba nga muli ba Kristo, balyoke baswale. 17 (N)Okubonyaabonyezebwanga olw’okukola obulungi, bwe kuba nga kwe kusiima kwa Katonda, kusinga okubonyaabonyezebwa olw’okukola ekibi. 18 (O)Kubanga ddala Kristo yabonyaabonyezebwa olw’ebibi omulundi gumu, Omuntu Omutuukirivu ku lw’abatali batuukirivu, alyoke abaleete eri Katonda bwe yattibwa mu mubiri, kyokka n’abeera mulamu mu mwoyo. 19 (P)Era omwoyo gwe, gwe gwagenda okubuulira Enjiri emyoyo egyali mu kkomera. 20 (Q)Egyo gy’emyoyo egy’abo edda abaagaana okuwulira Katonda ng’akyabagumiikiriza, mu kiseera Nuuwa kye yazimbiramu eryato, abantu abatono, omunaana gwokka, mwe baawonyezebwa amazzi. 21 (R)Amazzi ago gaali kabonero ak’okubatizibwa mulyoke mulokolebwe kaakano. Kubanga okubatizibwa tekitegeeza kunaazibwako kko lya mubiri, wabula kitegeeza kwewaayo eri Katonda nga tumaliridde okukola by’ayagala, ng’atuwadde omutima omulongoofu olw’okuzuukira kwa Yesu Kristo, 22 (S)eyalinnya mu ggulu era atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, ng’afuga bamalayika n’aboobuyinza, n’abaamaanyi ab’omu ggulu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.