Add parallel Print Page Options

Batabani ba Kuusi be bano:

Seeba, ne Kavira, ne Sabuta, ne Laama ne Sebuteka.

Batabani ba Laama baali:

Seeba ne Dedani.

Read full chapter

28 ne Obali, ne Abimayeeri, ne Seeba,

Read full chapter

Okukyala kwa Kabaka Omukazi ow’e Seeba

10 (A)Awo kabaka omukazi ow’e Seeba bwe yawulira ettutumo lya Sulemaani n’okwagala kwe yalina eri Mukama, n’ajja amugezese n’ebibuuzo ebizibu. Yatuuka mu Yerusaalemi, n’ekibiina ky’abantu ekinene ennyo, n’eŋŋamira ezaali zeetisse ebyakaloosa, ne zaabu ennyingi ennyo, n’amayinja ag’omuwendo. Yanyumya ne Sulemaani ku ebyo byonna ebyali ku mutima gwe.

Read full chapter

(A)Ebisibo by’eŋŋamira birijjula ensi yammwe,
    eŋŋamira ento ez’e Midiyaani ne Efa.[a]
Era ne zonna ez’e Seba zirijja nga zeetisse zaabu n’obubaane
    okulangirira ettendo lya Katonda.

Read full chapter

Footnotes

  1. 60:6 Midiyaani lyali ggwanga lya balunzi ba nsolo abaatambulatambulanga mu bukiikaddyo bw’obugwanjuba bwa Yoludaani. Efa ye yali mutabani wa Midiyaani

11 (A)Awo Isirayiri kitaabwe n’abagamba nti, “Bwe kinaaba bwe kityo, kale mukole bwe muti: mutwale ebimu ku bibala bya muno mu nsawo zammwe, mutwalire omusajja ekirabo: envumbo ntono, n’omubisi, n’omugavu, n’obubaane ne mooli n’ebinyeebwa ne Alumoni.

Read full chapter