Add parallel Print Page Options

(A)Laba weesiga Misiri, ogwo omuggo obuggo, olumuli olubetente, oluyinza okufumita engalo z’omuntu ng’alwesigamyeko: bw’atyo Falaawo, ye kabaka w’e Misiri bw’ayisa bonna abamwesiga.’

Read full chapter

15 (A)Naye kabaka yamujeemera, n’aweereza ababaka e Misiri okufunayo embalaasi n’eggye eddene. Aliraba omukisa? Omuntu akola ebyo ayinza okuba omulamu? Alimenya endagaano n’awona?’

16 (B)“ ‘Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, alifiira mu Babulooni, mu nsi eya kabaka eyamufuula kabaka, gwe yanyooma mu kirayiro kye n’amenya n’endagaano gye baakola. 17 (C)Falaawo n’eggye lye eddene, n’ekibiina kye ekinene, tebalibaako kye bamuyamba mu lutalo, bwe balizimba ebifunvu n’ebisenge okuzikiriza obulamu bw’abangi.

Read full chapter