Old/New Testament
Abakulembeze ba Isirayiri Basalirwa Omusango
11 (A)Awo Omwoyo n’ansitula n’antwala ku luggi olw’ebuvanjuba olw’ennyumba ya Mukama. Ku mulyango awo waaliwo abasajja amakumi abiri mu bataano wakati mu bo nga mwe muli Yaazaniya mutabani wa Azuli ne Peratiya mutabani wa Benaya, abakulembeze b’abantu. 2 Mukama n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, bano be basajja abeekobaana okukola ebitali bya butuukirivu era abawabya ekibuga kino. 3 (B)Boogera nti, ‘Ekiseera tekituuse tuzimbe amayumba? Ekibuga kino ye ntamu, ffe nnyama.’ 4 (C)Kyonoova obawa obunnabbi; era yogera ggwe omwana w’omuntu.”
5 (D)Awo Omwoyo wa Mukama n’anzikako, n’aŋŋamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Bwe mutyo bwe mwogera, ggwe ennyumba ya Isirayiri, naye mmanyi ebirowoozo byammwe. 6 (E)Musse abantu bangi mu kibuga kino, ne mujjuza enguudo zaakyo abafu.
7 (F)“Mukama Katonda kyava ayogera nti, Emirambo gye musuddemu ye nnyama, n’ekibuga kino ye ntamu, naye ndikibagobamu. 8 (G)Mutya ekitala, era ekitala kye ndibaleetako, bw’ayogera Mukama Katonda. 9 (H)Ndibagoba mu kibuga, ne mbawaayo mu mukono gwa bannamawanga ne bababonereza. 10 (I)Muligwa n’ekitala, era ndibasalira omusango ku nsalo ya Isirayiri, ne mumanya nga nze Mukama. 11 (J)Ekibuga kino tekiriba ntamu yammwe, era nammwe temuliba nnyama yaakyo. Ndibasalira omusango ku nsalo ya Isirayiri. 12 (K)Mulitegeera nga nze Mukama, kubanga temugoberedde biragiro byange newaakubadde amateeka gange, naye mukoze ng’amawanga amalala agabeetoolodde bwe gakola.”
13 (L)Awo bwe nnali nkyayogera ebyobunnabbi, Peratiya mutabani wa Benaya n’afa. Ne ngwa bugazi wansi ne nkaaba n’eddoboozi ddene, nga njogera nti, “Ayi Mukama Katonda, olimalirawo ddala ekitundu kya Isirayiri ekyasigalawo?”
14 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 15 (M)“Omwana w’omuntu, baganda bo, baganda bo ab’enda yo n’ennyumba yonna eya Isirayiri, beebo abantu ab’omu Yerusaalemi be baayogerako nti, ‘Bali wala ne Mukama, era ensi eno yatuweebwa okuba omugabo gwaffe.’ ”
Abayisirayiri Basuubizibwa Okuddayo
16 (N)“Kyonoova oyogera nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Newaakubadde nga nabasindika mu mawanga ne mbasaasaanya mu nsi nnyingi, naye mbalabiriridde mu nsi gye baagenda.’ 17 (O)Era kyonoova oyogera nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: ndibakuŋŋaanya okuva mu mawanga ne mbaggya mu nsi gye mwasaasaanyizibwa, ne mbaddiza ensi ya Isirayiri.’
18 (P)“Bwe balikomawo, baliggyamu ebitali bya butuukirivu byonna n’eby’emizizo ebirimu byonna. 19 (Q)Ndibawa omutima gumu ne mbateekamu omwoyo omuggya; ndibaggyamu omutima ogw’ejjinja, ne mbawa omutima ogw’ennyama. 20 (R)Oluvannyuma baligoberera ebiragiro byange, ne bagenderera okukuuma amateeka gange, era baliba bantu bange, nange ndiba Katonda waabwe. 21 (S)Naye abo abanaagoberera ebitali bya butuukirivu n’eby’emizizo, ndibaleetako ebyo bye baakola ku mitwe gyabwe, bw’ayogera Mukama Katonda.”
22 (T)Awo bakerubi, ne zinnamuziga nga ziri ku mabbali gaabwe ne bayimusa ebiwaawaatiro byabwe, ng’ekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri kibali waggulu. 23 (U)Ekitiibwa kya Mukama ne kiva wakati mu kibuga ne kiyimirira waggulu w’olusozi oluli ku luuyi olw’ebuvanjuba w’ekibuga. 24 (V)Omwoyo n’ansitula mu kwolesebwa okw’Omwoyo wa Katonda n’antwala mu Bukaludaaya eri abaawaŋŋangusibwa. 25 (W)Awo okwolesebwa kwe nafuna ne nkuvaako, ne ntegeeza abaawaŋŋangusibwa byonna Mukama bye yali andaze.
12 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira ng’agamba nti, 2 (X)“Omwana w’omuntu obeera mu bantu abajeemu. Balina amaaso okulaba, naye tebalaba, balina n’amatu okuwulira naye tebawulira, kubanga bantu bajeemu.
3 (Y)“Noolwekyo omwana w’omuntu, sibako ebibyo ogende mu buwaŋŋanguse, ate kikole misana, nga balaba ogende mu kifo ekirala. Oboolyawo balitegeera, newaakubadde nga nnyumba njeemu. 4 (Z)Fulumya ebibyo by’otwala mu buwaŋŋanguse emisana, nga balaba. Ate akawungeezi, ofulume nga balaba, ogende ng’abo abagenda mu buwaŋŋanguse. 5 Botola ekituli mu bbugwe oyiseemu ebibyo, nga balaba. 6 (AA)Biteeke ku kibegabega kyo nga balaba, obifulumye obudde nga buwungeera. Bikka ku maaso oleme okulaba ensi, kubanga nkufudde akabonero eri ennyumba ya Isirayiri.”
7 (AB)Ne nkola nga bwe ndagiddwa. Emisana, ne nfulumya ebintu byange nga neetegese okugenda mu buwaŋŋanguse. Akawungeezi ne nkuba ekituli mu bbugwe n’engalo zange, ne nfulumya ebyange nga mbitadde ku kibegabega kyange nga balaba, obudde nga buwungedde, enjuba ng’ebuliddeyo.
8 Ku makya, ekigambo kya Mukama ne kinzijira ng’agamba nti, 9 (AC)“Omwana w’omuntu, ennyumba ya Isirayiri enjeemu teyakubuuza nti, ‘Okola ki ekyo?’
10 “Bagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, obubaka buno bukwata ku mufuzi ali mu Yerusaalemi, n’abantu ba Isirayiri bonna abaliyo.’ 11 (AD)Bagambe nti, ‘Ndi kabonero gye muli.’
“Nga bwe nkoze, nabo bwe balikibakola. Baliwaŋŋangusibwa ne batwalibwa nga bawambe.
12 (AE)“Omufuzi ali mu bo aliteeka ebintu bye ku kibegabega kye agende ng’obudde buwungedde, enjuba ng’ebuliddeyo, balibotola ekituli mu bbugwe ayitemu agende. Alibikka amaaso ge, aleme kulaba nsi. 13 (AF)Ndimwanjuliriza ekitimba kyange, akwatibwe mu mutego gwange. Ndimutwala e Babulooni, mu nsi ey’Abakaludaaya, naye taligiraba, era eyo gy’alifiira. 14 (AG)Ndisaasaanyiza eri empewo zonna, bonna abamwetoolodde, abakozi be n’eggye lye lyonna era ndibawondera n’ekitala ekisowoddwa.
15 “Balimanya nga nze Mukama bwe ndibasaasaanya mu mawanga, ne mbabunya mu nsi. 16 (AH)Kyokka ndirekawo batono ku bo abaliwona ekitala, n’abaliwona enjala n’abaliwona kawumpuli, balyoke bejjuse olw’ebikolwa byabwe eby’emizizo, nga bali eyo mu mawanga. Olwo balitegeera nga nze Mukama.”
17 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira ng’agamba nti, 18 (AI)“Omwana w’omuntu, lya emmere yo ng’okankana, era nnywa amazzi go ng’ojugumira.” 19 (AJ)Tegeeza abantu ab’omu nsi nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ku abo ababeera mu Yerusaalemi ne mu nsi ya Isirayiri nti, Balirya emmere yaabwe nga beeraliikirira, banywe n’amazzi gaabwe nga batya, kubanga ensi yaabwe erinyagibwa mu buli kintu ekirimu, olw’obukambwe bw’abo bonna ababeera eyo. 20 (AK)Ebibuga ebituulwamu birizikirizibwa, n’ensi n’efuuka amatongo, mulyoke mumanye nga nze Mukama.”
21 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira ng’agamba nti, 22 (AL)“Omwana w’omuntu, makulu ki agali mu lugero olukwata ku nsi ya Isirayiri, olugamba nti, ‘Ennaku ziggwaayo naye teri kwolesebwa kutuukirira?’ 23 (AM)Bagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, ŋŋenda kukomya olugero luno, era tebaliddayo nate kulwogera, mu Isirayiri.’ Bagambe nti, ‘Ebiro binaatera okutuuka, okwolesebwa kwonna lwe kulituukirira. 24 (AN)Tewaliba nate kwolesebwa kwa bulimba newaakubadde obunnabbi obusavuwaze mu bantu ba Isirayiri. 25 (AO)Naye nze Mukama ndyogera kye ndisiima, era kirituukirira amangu ddala. Mu nnaku zo ggwe ennyumba enjeemu, ndyogera ekigambo era ndikituukiriza, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”
26 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira ng’agamba nti, 27 (AP)“Omwana w’omuntu, laba, ennyumba ya Isirayiri egamba nti, ‘Okwolesebwa kwalaba kw’amyaka mingi okuva ne kaakano, era ayogera obunnabbi obulibaawo mu bbanga ery’ewala.’
28 “Noolwekyo bagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, tewalibaawo nate kigambo kyange na kimu ekirirwisibwa, buli kye njogera kirituukirira, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”
Bannabbi Aboobulimba Basalirwa Omusango
13 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira ng’agamba nti, 2 (AQ)“Omwana w’omuntu, yogera ebyobunnabbi eri bannabbi ba Isirayiri aboogera obunnabbi kaakano. Tegeeza abo aboogera obunnabbi bwe bayiiyizza nti, ‘Muwulire ekigambo kya Mukama. 3 (AR)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, zibasanze bannabbi abasirusiru abagoberera omwoyo gwabwe ate nga tebalina kye balabye. 4 Isirayiri, bannabbi bo bali ng’ebibe ebitambulatambula mu bifulukwa. 5 (AS)Temwambuse kuddaabiriza bbugwe n’okuziba ebituli ebirimu ku lw’ennyumba ya Isirayiri, esobole okuyimirira nga ngumu mu lutalo ku lunaku lwa Mukama Katonda. 6 (AT)Okwolesebwa kwabwe kukyamu, n’okubikkulirwa kwabwe kwa bulimba. Mukama ne bw’aba tabatumye boogera nti, “bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda,” ne bamusuubira okutuukiriza ebyo bye boogedde. 7 Temulabye kwolesebwa kukyamu ne mwogera n’okubikkulirwa okw’obulimba, bwe mwogedde nti, “Mukama bw’ati bw’ayogera,” newaakubadde nga mba soogedde?
8 “ ‘Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, olw’ebigambo byo ebikyamu n’olw’okwolesebwa kwo okw’obulimba, ndi mulabe wo. 9 (AU)Omukono gwange gulibeera ku bannabbi abalaba okwolesebwa okukyamu era aboogera okubikkulirwa okw’obulimba. Tebalituula mu kibiina eky’abantu bange newaakubadde okuwandiikibwa ku nkalala z’ennyumba ya Isirayiri, wadde okuyingira mu nsi ya Isirayiri. Olwo olimanya nga nze Mukama Katonda.
10 (AV)“ ‘Olw’okuba nga babuzaabuza abantu bange nga boogera nti, “Mirembe,” ate nga tewali mirembe, ate bwe bazimba bbugwe omunafu, ne basiigako langi okubikka bye batazimbye bulungi, 11 (AW)kyonoova ogamba abo ababikkirira ne langi nti bbugwe aligwa. Enkuba eritonnya nnyo, era ndisindika omuzira, n’embuyaga ez’amaanyi zirikunta. 12 Bbugwe bw’aligwa, abantu tebalikubuuza nti, “Langi gye wasiigako eruwa?”
13 (AX)“ ‘Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Mu kiruyi kyange ndisindika kibuyaga ow’amaanyi, ne mu busungu bwange ndisindika omuzira, ne mu bukambwe obungi enkuba ennyingi ennyo eritonnya okukizikiriza. 14 (AY)Ndimenya bbugwe gwe mwasiiga langi musaasaanye ku ttaka, n’omusingi gwe gusigale nga gwasaamiridde. Bw’aligwa, alikugwiira n’ozikirizibwa, olyoke omanye nga nze Mukama Katonda. 15 Ndimalira ekiruyi kyange ku bbugwe ne ku abo abaakisiiga langi, nga ŋŋamba nti, “Bbugwe agenze, era abaamusiiga langi nabo balugenze, 16 (AZ)abo bannabbi ba Isirayiri abaayogera eby’obunnabbi eri Yerusaalemi ne balabikirwa okwolesebwa ow’emirembe gye bali, ate nga tewaaliwo mirembe, bw’ayogera Mukama Katonda.” ’
17 (BA)“Kaakano omwana w’omuntu, amaaso go gateeke ku bawala b’abantu bo aboogera eby’obunnabbi bye bayiiyizza. Bawe obunnabbi, oyogere nti, 18 ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Zibasanze abakazi abatunga ebikomo eby’obulogo ku mikono gyabwe ne batunga ebyokwebikkirira ku mutwe ebiwanvu mu ngeri ez’enjawulo basobole okutega abantu. Olitega obulamu bw’abantu bange, naye ne weesigaliza obubwo? 19 (BB)Onswazizza mu bantu bange olw’embatu entono eza sayiri n’olw’obukunkumuka bw’emigaati, bw’osse abantu abatateekwa kuttibwa, ate n’oleka abatateekwa kuba balamu, ng’obalimba nabo ne bawuliriza eby’obulimba.
20 “ ‘Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ndi mulabe w’obulogo bwo, bw’okozesa okuteega abantu ng’ateega ebinyonyi, era ndibaggya mu mikono gyo. Ndinunula abantu be wateega ng’ebinyonyi n’obasiba. 21 (BC)Ndiyuza ebyambalo byo ebyokwebikkirira, ne mponya abantu bange mu mikono gyo, ne bataddayo kugwa mu mutego gwa buyinza bwo, olyoke omanye nga nze Mukama Katonda. 22 (BD)Kubanga wanakuwaza abatuukirivu n’obulimba bwo, ate nga nnali sibanakuwazza. Olw’okuleetera abakozi b’ebibi okweyongera mu ngeri zaabwe ezitali za butuukirivu, n’owonya obulamu bwabwe, 23 (BE)ky’oliva olemwa okulaba okwolesebwa okukyamu wadde okufuna okubikkulirwa. Ndiwonya abantu bange okuva mu mikono gyo, olyokye omanye nga nze Mukama Katonda.’ ”
Amagezi n’okukkiriza
1 (A)Nze Yakobo, omuddu wa Katonda ne Mukama waffe Yesu Kristo, mpandiikira ebika ekkumi n’ebibiri ebyasaasaana, nga mbalamusa.
2 (B)Baganda bange, mulowoozenga byonna okuba essanyu, bwe mukemebwanga mu ngeri ezitali zimu 3 nga mumanyi ng’okugezesebwa kw’okukkiriza kwammwe kuleeta okugumiikiriza. 4 Omulimu gw’okugumiikiriza bwe gutuukirira, ne mulyoka mufuuka abatuukiridde era abakulidde ddala mu mwoyo, nga temulina kibabulako. 5 (C)Naye obanga omuntu yenna ku mmwe aweebuka mu magezi, asabenga Katonda agabira bonna atakayuka, galimuweebwa. 6 (D)Kyokka amusabenga mu kukkiriza, nga tabuusabuusa, kubanga oyo abuusabuusa ali ng’ejjengo ery’oku nnyanja erisundibwa empewo. 7 Omuntu ng’oyo bw’atasaba na kukkiriza tasuubira Mukama kumuwaayo kintu kyonna. 8 (E)Kubanga omuntu ow’emyoyo ebiri, buli gy’adda tanywererayo.
Obwavu n’obugagga
9 Owooluganda atalina bintu bingi mu nsi muno asaana yeenyumirize, kubanga agulumizibbwa. 10 (F)N’omugagga tasaana anyiige ng’ebintu bye bimukendezebbwaako, kubanga naye aliggwaawo ng’ekimuli eky’omuddo bwe kiggweerera. 11 (G)Kubanga enjuba bw’evaayo n’eyaka n’ebbugumu lyayo eringi, omuddo gukala n’ekimuli kyagwo ne kiwotoka ne kigwa, n’obulungi bw’endabika yaakyo ne buggwaawo; n’omugagga bw’atyo bw’aliggwaawo, ng’ali mu mirimu gye.
12 (H)Alina omukisa omuntu agumira okukemebwa, kubanga bw’alimala okusiimibwa aliweebwa engule ey’obulamu Katonda gye yasuubiza abo abamwagala.
13 Omuntu yenna bw’akemebwanga, tagambanga nti, “Katonda ye yankemye,” kubanga Katonda takemebwa, era naye yennyini takema muntu n’omu. 14 Naye buli muntu akemebwa ng’okwegomba kwe okubi, bwe kuli, n’asendebwasendebwa. 15 (I)Okwegomba okwo bwe kumala okuba olubuto, ne kuzaala ekibi, n’ekibi bwe kikula ne kizaala okufa.
16 (J)Noolwekyo, abooluganda abaagalwa, temulimbibwalimbibwanga. 17 (K)Buli kirabo ekirungi ekituukiridde, kiva mu ggulu eri Kitaffe, eyatonda eby’omu bbanga ebyaka, atakyukakyuka newaakubadde okwefuula ekirala. 18 (L)Yalondawo ku bubwe yekka okutuzaala, ng’ayita mu kigambo eky’amazima, tulyoke tubeere ng’abaana be ababereberye mu lulyo lwe oluggya.
Okuwuliriza n’okukola
19 (M)Ekyo mukimanye abooluganda abaagalwa! Buli muntu abeerenga mwangu wa kuwulira, kyokka alemenga kubuguutana kwogera, era alemenga kwanguwa kunyiiga. 20 Kubanga obusungu bw’omuntu tebumuweesa butuukirivu bwa Katonda. 21 (N)Kale mulekenga emize gyonna, n’ekibi ekyasigala mu mmwe, mwanirize n’obuwombeefu ekigambo ekyasigibwa ekiyinza okulokola emyoyo gyammwe.
22 Mubeerenga bakozi ba kigambo, so si abakiwulira ne batakikola, nga mwerimbarimba. 23 Kubanga omuntu awuliriza ekigambo naye n’atakigondera, afaanana ng’omuntu eyeeraba mu ndabirwamu; 24 bw’ava mu ndabirwamu, amangwago ne yeerabira nga bw’afaananye. 25 (O)Naye oyo atunula enkaliriza mu tteeka ettuufu erituukiridde erireetera abantu eddembe, n’alinyikiririramu tajja kukoma ku kulijjukiranga kyokka, naye ajjanga kukola bye ligamba, era anaaweebwanga omukisa mu buli ky’akola.
26 (P)Omuntu yenna bwe yeerowooza nga wa ddiini, naye n’atafuga lulimi lwe, aba yeerimba, n’eddiini ye teriiko ky’egasa. 27 (Q)Eddiini entuufu etaliiko bbala mu maaso ga Katonda Kitaffe, y’eyo ey’omuntu alabirira bamulekwa ne bannamwandu era nga yeekuuma ensi gy’alimu ereme kumuletako bbala.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.