Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yeremiya 40-42

40 Ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya, nga Nebuzaladaani omuduumizi w’abambowa amusumuludde e Laama, bwe yamusanga ng’asibiddwa mu masamba n’abasibe abalala bonna ab’e Yerusaalemi ne Yuda abaali batwalibwa e Babulooni mu busibe. (A)Omuduumizi w’abaserikale yatwala Yeremiya n’amugamba nti, “Mukama Katonda wo, ye yaleeta ekivume kino ku kifo kino. (B)Kaakano Mukama akireese era akikoze nga bwe yasuubiza. Bino byonna byabaawo kubanga abantu bo baasobya eri Mukama ne batamugondera. (C)Naye leero nkusumulula okuva mu njegere ez’oku mikono gyo. Jjangu tugende ffembi e Babulooni obanga oyagala, nnaakulabirira; naye bw’oba nga toyagala, tojja. Laba, ensi yonna eri mu maaso go, genda yonna gy’oyagala.” (D)Wabula Yeremiya nga tannaba kukyuka kugenda, Nebuzaladaani n’ayongerako nti, “Ddayo eri Gedaliya mutabani wa Akikamu mutabani wa Safani, kabaka w’e Babulooni gw’afudde Gavana w’ebibuga bya Yuda, obeere naye mu bantu, oba genda yonna gy’osiima okubeera.” Awo omuduumizi w’abambowa n’amuwa ebyokulya n’ekirabo n’amuleka.

(E)Awo Yeremiya n’agenda ewa Gedaliya mutabani wa Akikamu e Mizupa n’abeera naye n’abantu abaaliyo abaali balekeddwa mu nsi eyo.

Gedaliya Attibwa

(F)Awo abakulu b’eggye lya Yuda bonna n’abasajja baabwe abaali bakyali mu byalo ne bawulira nti, Kabaka w’e Babulooni alonze Gedaliya omwana wa Akikamu okuba Gavana w’ensi era ng’amuwadde obuvunaanyizibwa bw’abantu bonna, abasajja, n’abakazi, n’abaana, n’abaali basembayo obwavu mu nsi abataatwalibwa mu buwaŋŋanguse e Babulooni. (G)Awo Isimayiri mutabani wa Nesaniya, ne Yokanaani ne Yonasaani batabani ba Kaleya, ne Seraya mutabani wa Tanukumesi, ne batabani ba Efayi Omunetofa, ne Yezaniya omwana w’omu Maakasi, ne bagenda n’abasajja baabwe eri Gedaliya e Mizupa. (H)Awo Gedaliya mutabani wa Akikamu mutabani wa Safani n’abalayirira bo n’abasajja baabwe ng’ayogera nti, “Temutya kuweereza Bakaludaaya. Mubeere mu nsi, muweereze kabaka w’e Babulooni munaaba bulungi. 10 (I)Nze kennyini nzija kusigala e Mizupa okubakiikirira eri Abakaludaaya abajja gye tuli, naye mmwe mukungule emizabbibu, n’ebibala eby’omu kyeya, mukuŋŋaanye n’omuzigo mubiteeke mu materekero gammwe, mubeere mu bibuga bye mufuga.”

11 (J)Awo Abayudaaya bonna mu Mowaabu, ne Amoni, ne Edomu n’ensi endala zonna bwe baawulira nti, Kabaka w’e Babulooni yali aleseeyo abantu mu Yuda era nga ataddewo Gedaliya mutabani wa Akikamu, mutabani wa Safani okuba Gavana waabwe, 12 (K)bonna ne bakomawo mu nsi ya Yuda eri Gedaliya e Mizupa, ne bava mu nsi zonna gye baali basaasaanidde. Ne bakungula ebirime mu bungi, emizabbibu n’ebibala eby’omu kyeya.

13 (L)Awo Yokanaani mutabani wa Kaleya n’abakulu bonna ab’ebibinja bya magye abaali mu byalo ne bajja eri Gedaliya e Mizupa. 14 (M)Ne bamugamba nti, “Tomanyi nga Baalisi kabaka w’abaana ba Amoni atumye Isimayiri mutabani wa Nesaniya okukutta?” Naye Gedaliya mutabani wa Akikamu teyakikkiriza.

15 Awo Yokanaani mutabani wa Kaleya n’ayogera ne Gedaliya e Mizupa kyama ng’agamba nti, “Ka ŋŋende nkwegayiridde nzite Isimayiri mutabani wa Nesaniya, so tewaliba muntu alikimanya. Lwaki akutta, Abayudaaya bonna abakuŋŋaanidde gy’oli basaasaane, ekitundu kya Yuda ekifisseewo nakyo kizikirire?”

16 Naye Gedaliya mutabani wa Akikamu n’agamba Yokanaani mutabani wa Kaleya nti, “Tokola kintu bwe kityo! Ky’oyogera ku Isimayiri si kituufu.”

41 (N)Mu mwezi ogw’omusanvu Isimayiri mutabani wa Nesaniya, mutabani wa Erisaama, omu ku balangira ate nga ye omu ku bakulu b’eggye lya Yuda n’ajja n’abasajja kkumi eri Gedaliya mutabani wa Akikamu e Mizupa. Bwe baali nga balya, (O)Isimayiri mutabani wa Nesaniya n’abasajja ekkumi abaali naye ne bayimuka ne batta Gedaliya, mutabani wa Akikamu, mutabani wa Safani, n’ekitala, gavana, kabaka w’e Babulooni gwe yali ataddewo okufuga mu nsi. Isimayiri n’atta n’Abayudaaya bonna abaali ne Gedaliya e Mizupa, n’abaserikale Abakaludaaya abaaliyo.

Olunaku olwaddirira Gedaliya ng’amaze okuttibwa, nga tewannabaawo akimanyiiko, (P)abasajja kinaana abaali beemwedde ebirevu, nga bayuzizza engoye zaabwe era nga beesazeesaze, bajja okuva e Sekemu, ne Siiro ne Samaliya, nga baleese ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke n’obubaane eby’omu nnyumba ya Mukama. (Q)Isimayiri omwana wa Nesaniya n’ava e Mizupa okubasisinkana ng’agenda bw’akaaba. Bwe yabatuukako, n’abagamba nti, “Mujje eri Gedaliya omwana wa Akikamu.” Bwe baatuuka mu kibuga, Isimayiri mutabani wa Nesaniya n’abasajja be ne batta abamu ku basajja abo, ne babasuula mu kinnya. (R)Naye kkumi ku bo ne bagamba Isimayiri nti, “Totutta! Tulina eŋŋaano ne sayiri, n’omuzigo, n’omubisi gw’enjuki, tubikwese mu nnimiro.” Awo ne babaleka ne batabattira wamu na bali abalala. (S)Ekinnya mwe baasuula emirambo gy’abasajja bonna be battira awamu ne Gedaliya, kye kiri kabaka Asa kye yali asimye ng’alwanyisa Baasa kabaka wa Isirayiri. Isimayiri mutabani wa Nesaniya yakijjuza abafu.

10 (T)Isimayiri n’awamba abantu bonna abalala abaali e Mizupa, abawala ba kabaka n’abalala bonna abaali basigaddeyo, Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye lya kabaka Nebukadduneeza be yali awadde Gedaliya mutabani wa Akikamu. Isimayiri mutabani wa Nesaniya n’abatwala nga bawambe ne yeetegeka okubasomosa okubatwala eri Abamoni.

11 (U)Yokanaani mutabani wa Kaleya n’abaduumizi bonna abaali naye bwe baawulira ebikolobero Isimayiri mutabani wa Nesaniya bye yali akoze, 12 (V)ne batwala abasajja baabwe bonna ne bagenda okulwanyisa Isimayiri mutabani wa Nesaniya. Ne bamutuukako okumpi n’amazzi amangi e Gibyoni. 13 (W)Abantu bonna abaali ne Isimayiri bwe baalaba Yokanaani mutabani wa Kaleya n’abaduumizi ba magye be yali nabo, ne basanyuka. 14 Abantu bonna Isimayiri be yali awambye e Mizupa ne bakyuka ne bagenda eri Yokanaani mutabani wa Kaleya. 15 (X)Naye Isimayiri mutabani wa Nesaniya ne basajja be munaana ne batoloka okuva ku Yokanaani ne bagenda mu ba Amoni.

16 (Y)Awo Yokanaani mutabani wa Kaleya n’abaduumizi b’eggye bonna abaali naye ne batwala abawambe okuva e Mizupa be baali baggye ku Isimayiri mutabani wa Nesaniya ng’amaze okutta Gedaliya mutabani wa Akikamu: abaserikale, n’abakazi, n’abaana n’abakungu b’omu lubiri be yali aggye e Gibyoni. 17 (Z)Ne beeyongerayo ne bayimirirako e Gerusukimamu okumpi ne Besirekemu, nga boolekedde e Misiri, 18 (AA)badduke Abakaludaaya. Baali batidde Abakaludaaya kubanga Isimayiri mutabani wa Nesaniya yali asse Gedaliya mutabani wa Akikamu, oyo kabaka w’e Babulooni gwe yali ataddewo okufuga ensi nga gavana.

42 (AB)Awo abaduumizi ba magye bonna, ng’ogasseeko Yokanaani mutabani wa Kaleya ne Yezaniya mutabani wa Kosaaya, n’abantu bonna okuva ku asokerwako wansi okutuuka ku akomererayo waggulu baatuukirira (AC)nnabbi Yeremiya ne bamugamba nti, “Tukwegayiridde, wulira okusaba kwaffe osabe Mukama Katonda wo ku lw’abantu bano bonna abafisseewo. Kale naawe nga bw’olaba, abaali abangi kaakano tusigaddewo batono nnyo. (AD)Saba Mukama Katonda wo atubuulire gye tusaanye okulaga ne kye tusaanye okukola.”

(AE)Nnabbi Yeremiya n’abagamba nti, “Mbawulidde, ddala nzija kubasabira eri Mukama Katonda wammwe nga bwe munsabye; nzija kubabuulira byonna Mukama by’anaŋŋamba, sirina kye nnaabakisa.”

(AF)Awo ne bagamba Yeremiya nti, “Mukama abeere omujulirwa ow’amazima era omwesigwa gye tuli, bwe tutalikola kyonna Mukama Katonda wo ky’anaakutuma okutugamba. (AG)Oba kyangu oba kikalubo tujja kugondera Mukama Katonda waffe, gye tukutuma kaakano, tulyoke tufune emirembe, kubanga tujja kugondera Mukama Katonda waffe.”

Bwe waayitawo ennaku kkumi ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya. (AH)N’alyoka ayita Yokanaani omwana wa Kaleya n’abaduumizi b’eggye lya Yuda bonna abaali naye, n’abantu bonna okuva ku asokerwako wansi okutuuka ku akomererayo waggulu. (AI)N’abagamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri, gye mwantuma okubabuuliza nti, 10 (AJ)‘Bwe munaasigala mu nsi eno, nzija kubazimba era siibaleke kugwa. Nzija kubasimba so si kubasimbula, kubanga nnumiddwa olw’ekikangabwa kye mbatuusizzaako. 11 (AK)Temutya kabaka w’e Babulooni, kaakano gwe mutya. Temumutya, bw’ayogera Mukama, kubanga ndi nammwe era nzija kubalokola, mbanunule mu mukono gwa kabaka oyo. 12 (AL)Nzija kubalaga ekisa alyoke abakwatirwe ekisa, abakomyewo mu nsi yammwe.’

13 (AM)“Wabula bwe mugamba nti, ‘Tetuusigale mu nsi eno gye mbakomezzaamu,’ olwo munaaba temugondedde Mukama Katonda wammwe. 14 (AN)Bwe mugamba nti, ‘Nedda, tujja kugenda tubeere e Misiri, gye tutaalabe ntalo wadde okuwulira ekkondeere nga livuga oba okubulwa omugaati ogw’okulya,’ 15 kale nno muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abaasigalawo mu Yuda. Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Bwe munaamalirira okugenda e Misiri era ne mugenda okubeererayo ddala, 16 (AO)olwo ekitala kye mutya kijja kubasanga eyo, n’enjala gye mutya ejja kubagoberera e Misiri era eyo gye mulifiira. 17 (AP)Mumanyire ddala nti, Abo bonna abamaliridde okugenda e Misiri okusenga eyo balifa kitala, n’enjala ne kawumpuli; tewaliba n’omu alisigalawo wadde okuwona ekikangabwa kye ndibaleetako.’ 18 (AQ)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Ng’obusungu bwange n’ekiruyi bwe bifukiddwa ku abo abali mu Yerusaalemi, bwe kityo ekiruyi kyange bwe kinaafukibwa ku mmwe bwe munaagenda e Misiri. Munaabeera kya kukolimirwa, era kya ntiisa, era kya kusalirwa musango era kivume: temuliraba kifo kino nate.’

19 (AR)“Mmwe abafisseewo ku Yuda, Mukama abagambye nti, ‘Temugenda Misiri.’ Mumanye kino nga mbalabula leero 20 (AS)nti, Mwakola ekisobyo kinene bwe mwantuma eri Mukama Katonda wammwe ne mugamba nti, ‘Tusabire eri Mukama Katonda waffe: tubuulire byonna by’agamba tujja kubikola.’ 21 (AT)Mbabuulidde leero, naye era temugondedde Mukama Katonda wammwe mu byonna bye yantuma okubagamba. 22 (AU)Kale nno mutegeerere ddala kino nga mulittibwa na kitala, oba njala oba kawumpuli mu nsi gye mwagala okugenda okusengamu.”

Abaebbulaniya 4

Ssabbiiti kiwummulo ky’Abantu ba Katonda

(A)Noolwekyo ng’ekisuubizo eky’okuyingira mu kiwummulo kye, bwe kikyaliwo, twerinde, omuntu yenna ku mmwe aleme kulabika nga takituuseemu. (B)Kubanga naffe tubuuliddwa Enjiri, nga nabo bwe baagibuulirwa. Kyokka baalema okukkiriza ekigambo kye baawulira, era tebaalina kye baagasibwa. (C)Kubanga ffe abakkiriza, ffe tuyinza okuyingira mu kiwummulo kye, nga bwe yayogera nti,

“Kyennava ndayira nga nsunguwadde nti,
    ‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.’ ”

Omulimu gwe gwaggwa ku kutondebwa kw’ensi. (D)Kubanga waliwo w’ayogerera nti, “Katonda bwe yamala okukola emirimu gye gyonna n’awummulira ku lunaku olw’omusanvu.” (E)Ayongera n’agamba nti, “Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.”

(F)Kyaterekerwa abamu okuyingiramu, ate ng’abo abaasooka okubuulirwa Enjiri, tebaayingira olw’obujeemu. (G)Katonda kyeyava ateekateeka nate olunaku, n’alutuuma leero, bwe yayogerera mu Dawudi, oluvannyuma lw’ekiseera ekiwanvu nti,

“Leero bwe munaawulira eddoboozi lye,
    Temukakanyaza mitima gyammwe.

(H)Kubanga singa Yoswa yabatwala mu kifo eky’okuwummula, Katonda teyandiyogedde ku lunaku olulala olw’okuwummula.” Naye Katonda atusuubizza olunaku olwa Ssabbiiti lwe tuliwummula, newaakubadde nga terunnatuuka. 10 (I)Kubanga oyo ayingira mu kiwummulo kya Katonda, awummula emirimu gye nga Katonda bwe yawummula ng’amaze emirimu gye. 11 (J)Noolwekyo tufubenga okuyingira mu kiwummulo ekyo, omuntu yenna alemenga kugoberera ekyokulabirako ekibi eky’abajeemu.

12 (K)Ekigambo kya Katonda kiramu era kikola. Kisala okusinga ekitala eky’obwogi obubiri, era kiyitamu ne kituukira ddala ku mmeeme n’omwoyo, n’ennyingo n’obusomyo, era kyawula ebirowoozo n’okufumiitiriza kw’omutima. 13 (L)Katonda amanyi ebintu byonna, so tewali kitonde na kimu ekikwekeddwa amaaso ge. Alaba buli kintu, era tulyogera mazima nga tumutegeeza buli kimu.

Yesu Kristo Kabona Asinga Obukulu

14 (M)Noolwekyo nga bwe tulina Kabona Asinga Obukulu, eyagenda mu ggulu, ye Yesu, Omwana wa Katonda, tunyweze okukkiriza kwe twayatula. 15 (N)Tulina Kabona Asinga Obukulu alumirwa awamu naffe mu bunafu bwaffe, eyakemebwa mu byonna nga ffe, kyokka n’atakola kibi kyonna. 16 Kale tusembererenga entebe ya Katonda ey’obwakabaka ey’ekisa n’obuvumu, tufune okusaasirwa n’ekisa tubeerwe mu kwetaaga kwaffe.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.