Add parallel Print Page Options

(A)Muzzeemu Yerusaalemi amaanyi mumubuulire nti,
    entalo ze ziweddewo,
n’obutali butuukirivu bwe
    busasuliddwa.
Era Mukama amusasudde emirundi ebiri
    olw’ebibi bye byonna.

Read full chapter

(A)Ndibalongoosa okubaggyako ebibi byonna bye bannyonoona era mbasonyiwe n’ekibi eky’okunjeemera.

Read full chapter

(A)Jjukira, Ayi Mukama, batabani ba Edomu kye baakola,[a]
    ku lunaku Yerusaalemi lwe kyawambibwa;
ne baleekaana nti, “Kisuule,
    kimalirewo ddala n’emisingi gyakyo.”

Read full chapter

Footnotes

  1. 137:7 Nebukadduneeza bwe yazikiriza Yerusaalemi, bazzukulu ba Edomu baasanyuka okulaba ng’abalabe baabwe Abayisirayiri bazikiridde. Kino kyali kibi nnyo kubanga Abayisirayiri ne bazzukulu ba Edomu baaluganda. Bazzukulu ba Edomu bava mu Esawu

(A)Singa Edomu, ekika ekyava mu Esawu kigamba nti, “Wadde tukubiddwa wansi naye tulidda ne tuzimba ebyagwa.”

Mukama ow’Eggye ayogera nti, “Bo balizimba, naye nze ndibimenya; era abantu banaabayitanga, ensi embi, era nti abantu Mukama be yanyiigira ennaku zonna.

Read full chapter