Zabbuli 69:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Ntubira mu bitosi
nga sirina we nnywereza kigere.
Ntuuse ebuziba
n’amataba gansaanikira.
Yona 2:3-5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Kubanga wansuula ewala mu buziba mu nnyanja,
ne nzika, amayengo gonna,
ensozi n’ensozi z’amazzi ebikunta
ne bimbikka
ne binneetooloola.
4 (B)Ne ndyoka njogera nti, ‘Ngobeddwa
mu maaso go;
Ddala ndiddayo nate
okulaba yeekaalu yo entukuvu?’
5 (C)Nakkira ddala ku ntobo wansi w’amayengo, okufa ne kumbeerera ddala kumpi;
Amazzi nga ganneetoolodde
era ng’omuddo gw’omu nnyanja gunneezingiridde ku mutwe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.