Add parallel Print Page Options

Ekikopo ky’Obusungu bwa Mukama

15 (A)Bw’ati Mukama, Katonda wa Isirayiri bwe yaŋŋamba nti, “Twala ekikopo kino, okuva mu mukono gwange, ekijjudde wayini ow’obusungu bwange, okinywese amawanga gonna gye nnaakutuma okukibanywesa.

Read full chapter

Ekitala kya Mukama kisaabye omusaayi,
    kiriko amasavu,
omusaayi gw’abaana b’endiga n’embuzi,
    amasavu agava mu nsingo za sseddume.
Mukama alina ekiweebwayo mu Bozula,
    era waliyo n’okuttibwa okw’amaanyi mu Edomu.
(A)Embogo zirifiira wamu nazo,
    n’obute obulume, ne ziseddume zirifiira wamu nazo.
Ensi yaabwe erijjula omusaayi,
    n’enfuufu erinnyikira amasavu.

(B)Mukama alina olunaku olw’okuwalanirako eggwanga,
    omwaka ogw’okwesasuza, olw’ensonga eya Sayuuni.
Emigga gya Edomu girikalira ne gifuuka bulimbo,[a]
    n’enfuufu ye erifuuka ng’obuwunga bwa salufa ayokya.
    Ensi ye erifuuka ng’obulimbo[b] obuggya omuliro.
10 (C)Talizikizibwa emisana n’ekiro,
    n’omukka gwe gulinyooka ennaku zonna.
Edomu alisigala kifulukwa emirembe n’emirembe,
    era tewaliba n’omu ayita mu nsi eyo.

Read full chapter

Footnotes

  1. 34:9 bulimbo kifaanana ng’ennoni
  2. 34:9 bulimbo kifaanana ng’ennoni

11 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Olw’ebyonoono bya Edomu ebisatu,
    weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Kubanga yayigganya muganda we n’ekitala
    awatali kusaasira,
obusungu bwabwe ne bubuubuuka obutakoma
    era ne batabusalako.
12 (B)Ndiweereza omuliro ku Temani
    oguliyokya ebigo bya Bozula.”

Read full chapter

16 (A)Ng’abantu bange bwe baanywa ekikompe eky’ekibonerezo ku lusozi lwange olutukuvu
    n’amawanga ageetooloddewo bwe galikinywa obutakoma;
balikinywa,
    babe ng’abataganywangako.

Read full chapter