Add parallel Print Page Options

(A)Mumpulirize mujje gye ndi.
    Muwulirize mubeere balamu;
nnaabakolera endagaano ey’olubeerera,
    era egyo gy’emikisa gyange n’okwagala bye nasuubiza Dawudi.
(B)Laba namufuula omujulirwa eri abantu,
    omukulembeze era omugabe w’abantu.

Read full chapter

69 (A)Yatuyimusiriza obuyinza obw’obulokozi,
    mu nnyumba y’omuddu we Dawudi.

Read full chapter

30 (A)Naye Dawudi yali nnabbi, n’amanya nga Katonda yamulayirira ekirayiro, nti mu bibala eby’omu ntumbwe ze mwe muliva alituula ku ntebe ey’obwakabaka bwe,

Read full chapter

23 (A)“Mu zzadde lye, Katonda mwe yalonda Omulokozi, ye Yesu, nga bwe yasuubiza Isirayiri.

Read full chapter

23 (A)Ndiziwa omusumba omu, omuweereza wange Dawudi, alizirunda; alizirabirira era aliba musumba waabwe. 24 (B)Nze Mukama ndiba Katonda waabwe, n’omuddu wange Dawudi aliba mulangira mu bo. Nze Mukama njogedde.

Read full chapter

24 (A)“ ‘Omuweereza wange Dawudi alibeera kabaka waabwe, era bonna baliba n’omusumba omu. Baligoberera amateeka gange, babeere beegendereza okukwata ebiragiro byange.

Read full chapter

(A)N’oluvannyuma abaana ba Isirayiri balidda ne banoonya Mukama Katonda waabwe ne Dawudi kabaka waabwe. Balijja eri Mukama nga bakankana nga banoonya emikisa gye mu nnaku ez’oluvannyuma.

Read full chapter