Add parallel Print Page Options

(A)Mugonderenga ebiragiro byange awamu n’amateeka gange, kubanga buli muntu anaabikwatanga mu byo mwanaatambulizanga obulamu bwe. Nze Mukama Katonda.

Read full chapter

(A)Musa awandiika ku butuukirivu obuva mu mateeka nti, “Omuntu alikola ebintu ebyo aliba mulamu mu byo.”

Read full chapter

(A)“Kubanga nze, Mukama, njagala obwenkanya,
    nkyawa okunyaga era n’obutali butuukirivu.
Mu bwesigwa bwange ndibasasula
    era nkole nabo endagaano ey’emirembe n’emirembe.

Read full chapter

(A)Obusungu obubuubuuka bwe bwankwata
    nakweka amaaso gange okumala ekiseera,
naye ndikukwatirwa ekisa n’okwagala okutaliggwaawo,”
    bw’ayogera Mukama Katonda,
    Omununuzi wo.

Read full chapter

34 (A)Kubanga Katonda yasuubiza okumuzuukiza abeere mulamu nate, era nga takyaddayo kuvunda. Ekyawandiikibwa nga bwe kyogera nti:

“ ‘Ndikuwa emikisa egy’olubeerera era emitukuvu gye nasuubiza Dawudi.’

Read full chapter