Add parallel Print Page Options

18 (A)“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“ ‘Ndizzaawo eby’obugagga by’eweema za Yakobo
    era mbeere n’ekisa ku kifo kyammwe kye mwabeerangamu.
Ekibuga kirizimbibwa awaali amatongo gaakyo,
    n’olubiri luzzibwe mu kifo kyalwo ekituufu.

Read full chapter

Amannya g’abo Abaazimba Bbugwe

(A)Awo Eriyasibu kabona asinga obukulu wamu ne baganda be bakabona ne batandika okukola n’okuddaabiriza Omulyango gw’Endiga. Ne baguwonga eri Mukama, ne bazzaamu n’enzigi zaagwo. Ne bakola okutuukira ddala ku Munaala gwe Kikumi, n’okweyongerayo okutuuka ku Munaala gwa Kananeri, ekifo kyonna ne bakiwonga eri Mukama.

Read full chapter

13 (A)Awo Yekoyaasi kabaka wa Isirayiri n’awambira Amaziya kabaka wa Yuda mutabani wa Yekoyaasi muzzukulu wa Akaziya e Besusemesi; Yekoyaasi ne yeeyongerayo e Yerusaalemi, n’amenyaamenya bbugwe wa Yerusaalemi, obuwanvu mita kikumi mu kinaana, okuva ku wankaaki wa Efulayimu okutuuka ku wankaaki ow’oku Nsonda.

Read full chapter

10 (A)Ensi yonna okuva e Geba okutuuka e Limmoni ku luuyi olw’obukiikaddyo obwa Yerusaalemi; erifuuka nga Alaba naye Yerusaalemi kiriyimusibwa ne kisigala mu kifo kyakyo okuva ku mulongooti gwe Kananeri okutuuka ku masogolero ga kabaka.

Read full chapter