Add parallel Print Page Options

(A)Ennaku zijja, lwe ndikomyawo abantu bange Isirayiri ne Yuda okuva mu busibe, mbazzeeyo mu nsi gye nawa bajjajjaabwe babeere omwo,’ bw’ayogera Mukama.”

Read full chapter

23 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Bwe ndibakomyawo okubaggya mu busibe, abantu b’omu nsi ye Yuda ne mu bibuga byamu bajja kuddamu okukozesa ebigambo bino nti, ‘Mukama akuwe omukisa, ggwe ekifo ekitukuvu, ggwe olusozi olutukuvu.’

Read full chapter

13 (A)Olisituka n’osaasira Sayuuni,
    kino kye kiseera okulaga Sayuuni omukwano;
    ekiseera kye wateekateeka kituuse.

Read full chapter

(A)Ndikuzimba nate, era olizimbibwa,
    ggwe Omuwala Isirayiri.
Era oliddamu okuyonjebwa okwate ebitaasa byo
    ofulume ozine n’abo abasanyuka.

Read full chapter

24 (A)Abantu balibeera wamu mu Yuda ne mu bibuga byakyo byonna, abalimi n’abo abatambula n’amagana gaabwe.

Read full chapter

38 (A)“Ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama, “ekibuga lwe kinaazimbibwa okuva ku Munaala gwe Kananeri okutuuka ku Mulyango gw’oku Nsonda.

Read full chapter