Menu
Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo
account
Study Bibles + commentaries + Scripture = deeper understanding. Explore Bible Gateway Plus.
Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo
Read Scripture without ads. Try Bible Gateway Plus.
  • Read
    • Reading Plans
    • Advanced Search
    • Available Versions
    • Audio Bibles
  • Study
    • Scripture Engagement
    • More Resources
  • News
  • Explore
    • Newsletters
    • Devotionals
    • Bible Gateway App
    • Bible Audio App
    • Take a Tour
  • Store
    • Bibles
    • Deals
    • More
  • Bible Gateway Plus
LCB
Version
Bible Books Bible Books
LCB
Version
Read
Study
News
Explore
Store
Bible Gateway Plus
Light Mode Dark Mode
Font Size
Log In show menu
Previous Next
Print PrintSettingsSettingsShare ShareParallelParallelExpandExpandCollapse

Nekkemiya 3  Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Amannya g’abo Abaazimba Bbugwe

3 (A)Awo Eriyasibu kabona asinga obukulu wamu ne baganda be bakabona ne batandika okukola n’okuddaabiriza Omulyango gw’Endiga. Ne baguwonga eri Mukama, ne bazzaamu n’enzigi zaagwo. Ne bakola okutuukira ddala ku Munaala gwe Kikumi, n’okweyongerayo okutuuka ku Munaala gwa Kananeri, ekifo kyonna ne bakiwonga eri Mukama. 2 (B)Abasajja ab’e Yeriko ne bazimba ekitundu ekyaddirira, ne Zakkuli mutabani wa Imuli n’addaabiriza ekitundu ekyali kiddiridde.

3 (C)Batabani ba Kassena ne bazimba Omulyango ogw’Ebyennyanja, ne bazzaawo emyango n’enzigi zaagwo, n’eminyolo n’ebyuma byagwo mu kifo kyabyo. 4 Meremoosi mutabani wa Uliya, muzzukulu wa Kakkozi n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira; Mesullamu mutabani wa Berekiya, muzzukulu wa Mesezaberi n’addaabiriza ekitundu ekyaddako ekya Meremoosi. Zadooki mutabani wa Baana n’addaabiriza ekitundu ekyali kiriraanyeewo. 5 (D)Abasajja Abatekowa ne baddaabiriza ekitundu ekyaddirira, naye abakungu baabwe ne bagaana okukolera wansi waabwe.

6 (E)Ne Yoyada mutabani wa Paseya ne Mesullamu mutabani wa Besodeya ne baddaabiriza Omulyango ogw’Edda, ne bazaamu emyango n’enzigi zaagwo, n’eminyolo n’ebyuma byagwo. 7 (F)Ekifo ekyaddirira kyaddaabirizibwa Meratiya Omugibyoni n’abasajja ab’e Gibyoni ne Yadoni Omumeronoosi n’abasajja ab’e Mizupa. Ebyo by’ebifo ebyafugibwanga ow’essaza eriri emitala w’omugga Fulaati. 8 (G)Wuziyeeri mutabani wa Kalukaya, omuweesi wa zaabu n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira, ne Kananiya omukozi w’obuwoowo, n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira, era abo ne baddaabiririza ddala Yerusaalemi okutuuka ku Bbugwe Omugazi. 9 Lefaya mutabani wa Kuuli eyafuganga ekitundu ky’eggombolola ya Yerusaalemi n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira. 10 Ekitundu ekyaddirira kyali kiriraanye ennyumba ya Yedaya mutabani wa Kalunafu, era ekyo kye yaddaabiriza; n’ekitundu ekyaddako Kattusi mutabani wa Kasabuneya n’akiddaabiriza. 11 (H)Malukiya mutabani wa Kalimu ne Kassubu mutabani wa Pakasumowaabu ne baddaabiriza ekitundu ekirala ekya bbugwe n’Omunaala ogw’Ekikoomi. 12 Eyaddaabiriza ekitundu ekyaddirira yali Sallumu mutabani wa Kallokesi ne bawala be, eyafuganga ekitundu ky’eggombolola ya Yerusaalemi ne bawala be.

13 (I)Kanuni n’abatuuze b’e Zanowa ne baddaabiriza Omulyango ogw’omu Kiwonvu, ne bazzaamu enzigi zaagwo, n’eminyolo gyagwo n’ebyuma byagwo mu bifo byabyo; ate era ne baddaabiriza n’ekitundu ekirala ekya bbugwe, olugendo lwa mita nga kikumi obuwanvu, okutuuka ku Mulyango ogw’Obusa.

14 (J)Malukiya mutabani wa Lekabu ow’eggombolola y’e Besukakkeremu n’addaabiriza Omulyango ogw’Obusa, n’azzaamu enzigi zaagwo, n’eminyolo gyagwo n’ebyuma byagwo mu bifo byabyo.

15 (K)Salluni mutabani wa Kolukoze ow’eggombolola y’e Mizupa n’addaabiriza Omulyango ogw’Oluzzi, n’azzaamu enzigi zaagwo n’emiryango gyagwo n’ebyuma byagwo. N’addaabiriza n’ekisenge eky’Ekidiba kya Seera[a] ekiriraanye ennimiro ya kabaka, okutuuka ku madaala agaserengeta okuva mu kibuga kya Dawudi. 16 (L)Nekkemiya mutabani wa Azubuki eyafuganga ekitundu ky’eggombolola y’e Besuzuli[b] n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira okutuuka ku kifo ekyolekera ebiggya bya Dawudi, n’okutuuka ku kidiba ekyasimibwa, n’okutuuka ku Nnyumba y’Abalwanyi Abazira.

17 (M)Abaleevi nga bakulemberwamu Lekumu mutabani wa Baani ne baddaabiriza ekitundu ekyaddirira, ne Kasabiya eyafuganga ekitundu ky’eggombolola ly’e Keyira n’addaabiriza ekitundu ekyaddako ku lw’eggombolola ye. 18 Baganda baabwe nga bakulemberwamu Bavvayi mutabani wa Kenadadi eyafuganga ekitundu ekyokubiri eky’egombolola ly’e Keyira ne baddaabiriza ekitundu ekyaddirira. 19 Ezeri mutabani wa Yesuwa, omukulembeze w’e Mizupa n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira, n’atuuka ku nsonda ya bbugwe, kye kitundu ekyolekedde awaakumirwanga ebyokulwanyisa. 20 Baluki mutabani wa Zabbayi n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira n’obunyiikivu bungi, okuva ku nsonda ya bbugwe okutuuka ku mulyango gw’ennyumba ya Eriyasibu kabona asinga obukulu. 21 (N)Meremoosi mutabani wa Uliya, muzzukulu wa Kakkozi n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira okuva ku mulyango gw’ennyumba ya Eriyasibu okutuuka ku nkomerero yaayo.

22 Bakabona ab’omu lusenyi ne baddaabiriza ekitundu ekyaddirira. 23 Ekitundu ekyaddirira ne kibuukibwa, Benyamini ne Kassubu ne baddaabiriza okwolekera ennyumba yaabwe, Azaliya mutabani wa Maaseya muzzukulu wa Ananiya naye n’addaabiriza ekifo ekiriraanye ennyumba ye. 24 (O)Binnuyi mutabani wa Kenadadi n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira okuva ku nnyumba ya Azaliya okutuuka ku nsonda ya bbugwe, 25 (P)Palali mutabani wa Uzayi n’addaabiriza ekitundu kya bbugwe ku nsonda ya bbugwe, ekyolekedde omunaala ogwazimbibwa ku lubiri lwa kabaka olw’ekyengulu okuliraana oluggya lw’abambowa. Pedaya mutabani wa Palosi 26 (Q)n’abakozi ba yeekaalu abaabeeranga ku lusozi Oferi ne baddaabiriza ekitundu ekyaddirira okutuuka ku Mulyango gw’Amazzi ng’agenda ebuvanjuba ne ku munaala ogwazimbibwa. 27 (R)Abasajja b’e Tekowa ne baddaabiriza ekitundu ekyaddirira, okuva ku munaala omunene ogwazimbibwa okutuuka ku bbugwe w’e Oferi.

28 (S)Bakabona ne baddaabiriza ekyengulu w’Omulyango ogw’Embalaasi buli muntu okwolekera ennyumba ye. 29 Zadooki mutabani wa Immeri n’addaabiriza ekifo ekyolekedde ennyumba ye, ne Semaaya mutabani wa Sekaniya omukuumi w’omulyango gw’ebuvanjuba n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira. 30 Kananiya mutabani wa Seremiya ne Kanuni mutabani wa Zalafu ow’omukaaga n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira. Mesullamu mutabani wa Berekiya n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira okwolekera amaka ge. 31 Malukiya omu ku baweesi ba zaabu n’addaabiriza ekitundu okutuuka ku nnyumba y’abaweereza ba yeekaalu, ne ku nnyumba ya basuubuzi okwolekera Omulyango Awaakeberebwanga Ebyamaguzi, n’okutuuka ku kisenge ekya waggulu ku nsonda. 32 (T)Abaweesi ba zaabu n’abasuubuzi ne baddaabiriza ekitundu ekiri wakati w’ekisenge ekya waggulu ku nsonda n’Omulyango gw’Endiga.

Footnotes

  1. 3:15 Seera kye kimu ne Sirowamu
  2. 3:16 Besuzuli yali nkambi ya magye g’abakuumi ba Dawudi (2Sa 23:8-39).

Cross references

  1. 3:1 : a Ezr 10:24 b Is 58:12 c nny 32; Nek 12:39 d Nek 12:39; Yer 31:38; Zek 14:10
  2. 3:2 : Nek 7:36
  3. 3:3 : 2By 33:14; Nek 12:39
  4. 3:5 : 2Sa 14:2
  5. 3:6 : Nek 12:39
  6. 3:7 : Yos 9:3; Nek 2:7
  7. 3:8 : Nek 12:38
  8. 3:11 : Nek 12:38
  9. 3:13 : a 2By 26:9 b Yos 15:34 c Nek 2:13
  10. 3:14 : Yer 6:1
  11. 3:15 : Is 8:6; Yk 9:7
  12. 3:16 : a Yos 15:58 b Bik 2:29
  13. 3:17 : Yos 15:44
  14. 3:21 : Ezr 8:33
  15. 3:24 : Ezr 8:33
  16. 3:25 : a Yer 32:2; 37:21; 39:14 b Ezr 2:3
  17. 3:26 : a Nek 7:46; 11:21 b 2By 33:14 c Nek 8:1, 3, 16; 12:37
  18. 3:27 : a nny 5 b Zab 48:12
  19. 3:28 : 2Bk 11:16; 2By 23:15; Yer 31:40
  20. 3:32 : nny 1; Yk 5:2
Next
Nekkemiya 2
Nekkemiya 4
Next
dropdown
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.

Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo

Font Size

Font Size

Dark Mode

Light Mode Dark Mode

About

  • About
  • Learn About the Bible
  • Statement of Faith
  • Mobile App
  • Store
  • Blog
  • Newsroom
  • Support Us

Help

  • FAQs
  • Tutorials
  • Use Bible Gateway on Your Site
  • Advertise with us
  • Contact us
  • Privacy policy
  • California Privacy Rights
  • Do Not Sell My Personal Information
  • Site: Terms of use
  • Widget: Terms of use

Our Network

  • FaithGateway
  • StudyGateway
  • ChurchSource
  • HarperCollins Christian Publishing
  • Grupo Nelson
  • Editorial Vida
  • Thomas Nelson
  • WestBow Press
  • Zondervan
  • MasterLectures

Social

  • Facebook
  • Instagram
  • Pinterest
  • TikTok
  • X
  • YouTube

Preferences

  • Versión en español
  • Preferences
  • Classic Bible Gateway
Sign Up for Bible Gateway: News & Knowledge
Get weekly Bible news, info, reflections, and deals in your inbox.

By submitting your email address, you understand that you will receive email communications from Bible Gateway, operated by HarperCollins Christian Publishing, 501 Nelson Pl, Nashville, TN 37214 USA, including commercial communications and messages from partners of Bible Gateway. You may unsubscribe from Bible Gateway’s emails at any time. If you have any questions, please review our Privacy Policy or email us at privacy@biblegateway.com.

Preferences

  • Versión en español
  • Preferences
  • Classic Bible Gateway