Add parallel Print Page Options

22 (A)Ndifuula ab’enju ya Dawudi omuddu wange n’Abaleevi abaweereza mu maaso gange okwala ng’emmunyeenye ez’oku ggulu ezitabalika era abatabalika ng’omusenyu gw’okulubalama lw’ennyanja ogutapimika.’ ”

Read full chapter

24 (A)Tonategeera nti abantu bano bagamba nti, “Mukama agaanye obwakabaka obubiri bwe yalonda? Kale banyooma abantu bange era tebakyababala ng’eggwanga. 25 (B)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Bwe mba nga sassaawo ndagaano yange n’emisana n’ekiro n’amateeka ag’enkalakkalira ag’eggulu n’ensi, 26 (C)olwo nzija kwegaana ezzadde lya Yakobo ne Dawudi omuddu wange era sirironda n’omu ku batabani be okufuga ezzadde lya Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo. Kubanga ndizzaawo nate emikisa gyabwe, era ne mbakwatirwa ekisa.’ ”

Read full chapter

11 (A)Kale ka mbuuze: Katonda yeegoberako ddala abantu be? Kikafuuwe. Kubanga nange ndi Muyisirayiri, era muzzukulu wa Ibulayimu, ow’omu kika kya Benyamini. (B)Katonda tasuulanga bantu be, be yalonda okuva ku lubereberye. Oba temumanyi ekyawandiikibwa ekyogera ku Eriya bwe yeegayirira Katonda nga yeemulugunya olwa Isirayiri? (C)Yagamba nti, “Mukama, basse bannabbi bo ne bamenyaamenya n’ebyoto byo. Nze nzekka nze nsigaddewo, ate bannoonya okunzita.” (D)Naye Katonda yamuddamu atya? Yamugamba nti: “Neesigalizzaawo abasajja kasanvu abatafukaamirira Baali.” (E)Era bwe kityo ne mu biro bino waliwo ekitundu ekyasigalawo abaalondebwamu olw’ekisa.

Read full chapter