Add parallel Print Page Options

31 (A)Olwo mulijjukira amakubo gammwe amabi n’ebikolwa byammwe ebitali birungi, era mulyetamwa olw’ebibi byammwe n’olw’ebikolwa byammwe eby’emizizo.

Read full chapter

12 (A)Kaaba era wowoggana, omwana w’omuntu,
    kubanga ekyo nkikola bantu bange,
    era nkikola abalangira bonna aba Isirayiri.
Mbawaddeyo eri ekitala wamu n’abantu bange,
    noolwekyo weekube mu kifuba.

Read full chapter

13 (A)“Naye omuwooza n’ayimirira wala n’atasobola na kuyimusa maaso ge kutunula eri eggulu ng’asaba, wabula ne yeekuba mu kifuba ng’asaba nti, ‘Katonda, onsaasire, nze omwonoonyi.’

Read full chapter