Menu
Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo
account
Study Bibles + commentaries + Scripture = deeper understanding. Explore Bible Gateway Plus.
Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo
Finding your way around? Take the tour.
  • Read
    • Reading Plans
    • Advanced Search
    • Available Versions
    • Audio Bibles
  • Study
    • Scripture Engagement
    • More Resources
  • News
  • Explore
    • Newsletters
    • Devotionals
    • Bible Gateway App
    • Bible Audio App
    • Take a Tour
  • Store
    • Bibles
    • Deals
    • More
  • Bible Gateway Plus
LCB
Version
Bible Books Bible Books
LCB
Version
Read
Study
News
Explore
Store
Bible Gateway Plus
Light Mode Dark Mode
Font Size
Log In show menu
Previous Next
Print PrintSettingsSettingsShare ShareParallelParallelExpandExpandCollapse

Ezeekyeri 36  Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Obunnabbi eri Ensozi za Isirayiri

36 “Omwana w’omuntu, yogera obunnabbi eri ensozi za Isirayiri, ogambe nti, Mmwe ensozi za Isirayiri, muwulire ekigambo kya Mukama. 2 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, omulabe yayogera nti, ‘Otyo, ensozi ez’edda kaakano zaffe.’ 3 (B)Kyemwava muwa obunnabbi ne mwogera nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Kubanga baabacocca ne babayigganya enjuuyi zonna amawanga amalala ne gabeetwalira, era ne mufuuka eky’okwogerwako era ne baboogerako eby’obulimba, 4 (C)kyemunaava muwulira ekigambo kya Mukama Katonda mmwe ensozi za Isirayiri: Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti eri ensozi n’obusozi, n’eri enzizi n’ebiwonvu, n’eri ebifulukwa n’ebibuga ebyafuuka amatongo ebyanyagibwa ne bifuuka eby’okusekererwa eri amawanga gonna okwetooloola 5 (D)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti; Njogerera mu busungu bwange obungi eri amawanga amalala n’eri Edomu yonna, abajjula okusanyuka n’ettima mu mitima gyabwe, ne baddira ensi yange ne bagifuula eyaabwe banyage obugagga bwayo.’ 6 (E)Kyonoova owa obunnabbi eri ensi ya Isirayiri n’oyogera eri ensozi n’obusozi, n’eri enzizi n’ebiwonvu nti, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Njogera nga nzijudde obuggya n’obusungu kubanga mwasekererwa nnyo amawanga. 7 Mukama Katonda kyava ayogera nti, Ndayira nti amawanga agabeetoolodde nago galisekererwa.

8 (F)“ ‘Naye mmwe ensozi za Isirayiri mulireeta amatabi gammwe ne mubalira abantu bange Isirayiri ebibala byammwe kubanga banaatera okudda ewaabwe. 9 Mbalumirwa era ndibatunuulira n’ekisa, era abalimi balikabala ettaka lyammwe ne basigamu ensigo, 10 (G)era ndibaaza mmwe, ennyumba yonna eya Isirayiri. Ebibuga birituulwamu, n’ebyali ebifulukwa biriddaabirizibwa. 11 (H)Ndyaza abantu n’ensolo, era abantu balyeyongera n’ensolo ne zeeyongera. Ndibazzaayo mu bifo byammwe eby’edda, era ndibakolera ebirungi ebisingawo ku bye nabakolera, mulyoke mumanye nga nze Mukama. 12 (I)Ndikkiriza abantu bange, Isirayiri babatambulireko, era balibeddiza, nammwe muliba mugabo gwabwe nga temukyaddamu kubaggyako baana baabwe.

13 (J)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Kubanga abantu baboogerako nti, “Musaanyaawo abantu ne mumalawo ezzadde lye ggwanga lyammwe,” 14 kyemuliva mutaddayo kusaanyaawo bantu newaakubadde okubamalako ezzadde ly’eggwanga lyo, bw’ayogera Mukama Katonda. 15 (K)Toliwulira nate okusekererwa kw’amawanga newaakubadde okunyoomebwa wadde eggwanga lyo okugwa, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”

16 Nate ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 17 (L)“Omwana w’omuntu, abantu ba Isirayiri bwe baaberanga mu nsi yaabwe, baagyonoona olw’empisa zaabwe n’ebikolwa byabwe, era n’ebikolwa byabwe byali ng’obutali bulongoofu obw’omukazi mu biseera bye. 18 (M)Olw’omusaayi gwe baayiwa mu nsi, ate n’olw’okusinza bakatonda abalala kwe beeyonoonyesa, kyennava mbayiwako ekiruyi kyange. 19 (N)Naye mbasaasaanyiza mu mawanga, ne basaasaana mu nsi. Era nabasalira omusango ng’empisa zaabwe n’ebikolwa byabwe bwe byali. 20 (O)Buli gye baagendanga mu mawanga baaswazanga erinnya lyange ettukuvu, kubanga kyayogerwanga nti, ‘Bano bantu ba Mukama, naye baagobebwa mu nsi ye.’ 21 (P)Nafaayo ku linnya lyange ettukuvu, ennyumba ya Isirayiri lye yaswaza mu mawanga gye baagenda.

22 (Q)“Kale nno gamba ennyumba ya Isirayiri nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: Ggwe ennyumba ya Isirayiri bino sibikola ku lulwo, naye ku lw’erinnya lyange ettukuvu lye mwavumisa mu mawanga gye mwagenda. 23 (R)Ndiraga obutukuvu bw’erinnya lyange ekkulu, eryavumisibwa mu mawanga, erinnya lye mwavumisa mu bo, era amawanga galimanya nga nze Mukama, bw’ayogera Mukama Katonda, bwe ndyolesa obutukuvu bwange mu mmwe mu maaso gaabwe.

24 (S)“ ‘Ndibaggya mu mawanga ne mbakuŋŋaanya okuva mu nsi zonna ne mbakomyawo mu nsi yammwe. 25 (T)Ndibamaansirako amazzi amayonjo, era ndibaggyako obutali bulongoofu bwammwe bwonna n’okuva ku bakatonda abalala bonna, ne mbafuula abalongoofu. 26 (U)Ndibawa omutima omuggya era ne nteeka n’omwoyo omuggya mu mmwe. Ndibaggyamu omutima ogw’ejjinja ne mbawa omutima ogw’ennyama. 27 (V)Era ndibawa Omwoyo wange alibakubiriza okugoberera ebiragiro byange n’okukuuma obulungi amateeka gange. 28 (W)Mulibeera mu nsi gye nawa bajjajjammwe, nammwe mulibeera bantu bange, nange ne mbeera Katonda wammwe. 29 (X)Ndibalokola mu butali bulongoofu bwammwe bwonna, era nditumya emmere ey’empeke ne ngyaza nnyo muleme okulumwa enjala. 30 (Y)Ndyaza ebibala eby’oku miti n’ebimera eby’omu nnimiro, nga temukyasekererwa nate mu mawanga olw’enjala. 31 (Z)Olwo mulijjukira amakubo gammwe amabi n’ebikolwa byammwe ebitali birungi, era mulyetamwa olw’ebibi byammwe n’olw’ebikolwa byammwe eby’emizizo. 32 (AA)Mukimanye ng’ebyo sibikola ku lwammwe, bw’ayogera Mukama Katonda. Muswale olw’ebikolwa byammwe, mmwe ennyumba ya Isirayiri.

33 “ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: Ku lunaku lwe ndibanaalizaako ebibi byammwe byonna, abantu balidda mu bibuga byammwe n’ebifulukwa biriddaabirizibwa. 34 Ensi eyazika eririmibwa, ereme kuba nga bwe yali mu maaso gaabo bonna abaagiyitangamu. 35 (AB)Balyogera nti, “Ensi eno eyali ezise, kaakano efuuse ng’ennimiro Adeni, n’ebifulukwa n’ebibuga ebyali bifuuse amatongo, kaakano mulimu ababibeeramu, era biriko ne bbugwe.” 36 (AC)Olwo n’amawanga agaasigalawo agabeetoolodde galimanya nga nze Mukama, naddaabiriza ebyayonoonebwa, n’ennimiro n’ebyali bizise. Nze Mukama nkyogedde, era ndikituukiriza.’

37 “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti: Nate ndiwuliriza ennyumba ya Isirayiri ne mbakolera kino, era ndyaza abantu baabwe babeere bangi ng’ekisibo ky’endiga. 38 (AD)Balyala ng’ebisibo eby’endiga ez’okuweebwayo e Yerusaalemi ku mbaga ezaalagirwa, era n’ebibuga ebyali amatongo ndibijjuza ebibinja by’abantu. Kale balimanya nga nze Mukama.”

Cross references

  1. 36:2 : a Ez 25:3 b Ma 32:13 c Ez 35:10
  2. 36:3 : Zab 44:13-14
  3. 36:4 : a Ez 6:3 b Ma 11:11; Zab 79:4; Ez 34:28
  4. 36:5 : Yer 50:11; Ez 25:12-14; 35:10, 15
  5. 36:6 : Zab 123:3-4; Ez 34:29
  6. 36:8 : Is 27:6
  7. 36:10 : nny 33; Is 49:17-23
  8. 36:11 : a Mi 7:14 b Yer 31:28; Ez 16:55
  9. 36:12 : Ez 47:14, 22
  10. 36:13 : Kbl 13:32
  11. 36:15 : Zab 89:50-51; Ez 34:29
  12. 36:17 : Yer 2:7
  13. 36:18 : 2By 34:21
  14. 36:19 : a Ma 28:64 b Ez 39:24
  15. 36:20 : a Bar 2:24 b Is 52:5; Yer 33:24; Ez 12:16
  16. 36:21 : Zab 74:18; Is 48:9
  17. 36:22 : a Bar 2:24* b Zab 106:8
  18. 36:23 : a Ez 20:41 b Zab 126:2; Is 5:16
  19. 36:24 : Ez 34:13; 37:21
  20. 36:25 : a Beb 9:13; 10:22 b Zab 51:2, 7 c Zek 13:2
  21. 36:26 : a Yer 24:7 b Zab 51:10; Ez 11:19
  22. 36:27 : Ez 37:14
  23. 36:28 : a Yer 30:22 b Ez 14:11; 37:14, 27
  24. 36:29 : Ez 34:29
  25. 36:30 : Lv 26:4-5; Ez 34:27; Kos 2:21-22
  26. 36:31 : Ez 6:9; 20:43
  27. 36:32 : Ma 9:5
  28. 36:35 : a Yo 2:3 b Is 51:3
  29. 36:36 : Ez 17:22; 22:14; 37:14; 39:27-28
  30. 36:38 : 1Bk 8:63; 2By 35:7-9
Next
Ezeekyeri 35
Ezeekyeri 37
Next
dropdown
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.

Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo

Font Size

Font Size

Dark Mode

Light Mode Dark Mode

About

  • About
  • Learn About the Bible
  • Statement of Faith
  • Mobile App
  • Store
  • Blog
  • Newsroom
  • Support Us

Help

  • FAQs
  • Tutorials
  • Use Bible Gateway on Your Site
  • Advertise with us
  • Contact us
  • Privacy policy
  • California Privacy Rights
  • Do Not Sell My Personal Information
  • Site: Terms of use
  • Widget: Terms of use

Our Network

  • FaithGateway
  • StudyGateway
  • ChurchSource
  • HarperCollins Christian Publishing
  • Grupo Nelson
  • Editorial Vida
  • Thomas Nelson
  • WestBow Press
  • Zondervan
  • MasterLectures

Social

  • Facebook
  • Instagram
  • Pinterest
  • TikTok
  • X
  • YouTube

Preferences

  • Versión en español
  • Preferences
  • Classic Bible Gateway
Sign Up for Bible Gateway: News & Knowledge
Get weekly Bible news, info, reflections, and deals in your inbox.

By submitting your email address, you understand that you will receive email communications from Bible Gateway, operated by HarperCollins Christian Publishing, 501 Nelson Pl, Nashville, TN 37214 USA, including commercial communications and messages from partners of Bible Gateway. You may unsubscribe from Bible Gateway’s emails at any time. If you have any questions, please review our Privacy Policy or email us at privacy@biblegateway.com.

Preferences

  • Versión en español
  • Preferences
  • Classic Bible Gateway