Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 74

Zabbuli ya Asafu.

74 (A)Ayi Katonda, lwaki otusuulidde ddala ennaku zonna?
    Obusungu bwo lwaki bunyookera ku ndiga z’omu ddundiro lyo?
(B)Ojjukire abantu bo be wagula edda;
    ekika kye wanunula okuba ababo.
    Ojjukire olusozi Sayuuni gye wabeeranga.
Tambulatambulako mu bifo by’ekibuga olabe bwe byonooneddwa!
    Olabe omulabe nga bw’azikirizza ennyumba yo.

(C)Abalabe bo baleekaanira mu kifo kyo gye twakuŋŋaaniranga;
    ne bagenda nga bakiramba n’ebendera zaabwe.
(D)Beeyisa ng’abantu ababagalidde embazzi
    abatema emiti mu kibira.
(E)Batemyetemye n’embazzi ebintu ebyole,
    era ne babissessebbula n’obubazzi.
Bookezza awatukuvu wo;
    ne bafaafaaganya ekifo kyo eky’Erinnya lyo.
(F)Baateesa nga bagamba nti, “Tujja kubazikiririza ddala!”
    Baayokya dda amasinzizo ga Katonda gonna agali mu nsi eno.

(G)Tetukyalaba ku bubonero bwo; ne bannabbi tewakyali n’omu.
    So tewali n’omu mu ffe ategeera ebyo lwe birikoma.
10 (H)Ayi Katonda, omulabe alituusa ddi ng’akuduulira?
    Omulabe anavvoolanga erinnya lyo ennaku zonna? Bazikirize.
11 (I)Lwaki totuyambye n’omukono gwo ogwa ddyo?
    Kiki ekikukuumisa omukono gwo ogwa ddyo mu kifuba kyo?

12 (J)Naye ggwe, Ayi Katonda, oli Kabaka wange wa dda;
    gw’oleeta obulokozi mu nsi.

13 (K)Ggwe wayawula mu mazzi g’ennyanja;
    omulabe n’omuzikiririza mu mazzi.
14 Wamenyaamenya emitwe gya lukwata ogunene;
    n’oguwaayo okuba ekyokulya eri ebitonde eby’omu ddungu.
15 (L)Ggwe wazibukula ensulo n’emyala;
    ate n’okaza n’emigga
    egyakulukutanga bulijjo.
16 (M)Obudde bw’emisana bubwo, n’ekiro kikyo;
    ggwe wakola omwezi n’enjuba.
17 (N)Ggwe wateekawo ensalo z’ensi;
    ggwe wakola ebiro eby’ekyeya n’eby’obutiti.

18 (O)Jjukira ebyo, Ayi Katonda, olabe okuduula kw’omulabe,
    n’abantu abasirusiru nga bwe banyoomodde erinnya lyo.
19 (P)Ayi Katonda, towaayo mwoyo gwa jjiba lyo eri ensolo enkambwe;
    so teweerabiriranga ddala bulamu bw’abantu bo ababonyaabonyezebwa.
20 (Q)Ojjukire endagaano yo;
    kubanga ensi ejjudde ekizikiza n’abantu abakambwe.
21 (R)Tokkiriza abo abajoogebwa okuwangulwa;
    era leka abaavu n’abeetaaga batenderezenga erinnya lyo ennaku zonna.
22 (S)Yimuka, Ayi Katonda, osalire abalabe baffe omusango.
Jjukira abo abatakussaamu kitiibwa, nga bwe bakuduulira obudde okuziba.
23 (T)Tonyooma luyoogaano lw’abalabe bo,
    n’okuleekaana okwa buli kiseera.

Isaaya 5:24-30

24 (A)Kale ng’olulimi lw’omuliro bwe lwokya ekisagazi ekikalu,
    era ng’omuddo omukalu bwe guggweerera mu muliro,
bwe gityo n’emirandira gyabwe bwe girivunda,
    era n’ebimuli byabwe bifuumuuke ng’enfuufu;
kubanga baajeemera etteeka lya Mukama Katonda ow’Eggye,
    era ne banyooma ekigambo ky’Omutukuvu wa Isirayiri.
25 (B)Noolwekyo obusungu bwa Mukama Katonda bubuubuukira ku bantu be,
    n’agolola omukono gwe n’abasanjaga,
ensozi ne zikankana
    era n’emirambo gyabwe ne gibeera ng’ebisasiro wakati mu nguudo.

Naye wadde nga biri bwe bityo, obusungu bwa Mukama Katonda tebunnakakkana
    era omukono gwe gukyagoloddwa.

26 (C)Era aliyimusiza eggwanga eriri ewala bbendera,
    alibakoowoola ng’asinziira ku nkomerero y’ensi,
era laba,
    balyanguwako okujja.[a]
27 (D)Tewali n’omu akooye, tewali n’omu yeesittala.
    Tewali n’omu asumagira wadde okwebaka.
Tewali aliba yeesibye lukoba olutanywedde mu kiwato kye,
    wadde aliba n’olukoba lw’engatto olulikutuka.
28 (E)Obusaale bwabwe bwogi,
    n’emitego gyabwe gyonna mireege.
Ebinuulo by’embalaasi zaabwe biriba ng’amayinja ag’embaalebaale,
    Ne nnamuziga w’amagaali gaabwe ng’adduka ng’embuyaga y’akazimu.
29 (F)Okuwuluguma kwabwe kuliba nga okw’empologoma,
    balikaaba ng’empologoma ento:
weewaawo baliwuluguma bakwate omuyiggo gwabwe
    bagutwalire ddala awatali adduukirira.
30 (G)Era ku lunaku olwo baliwuumira ku munyago gwabwe
    ng’ennyanja eyira.
Omuntu yenna bw’alitunuulira ensi,
    aliraba ekizikiza n’ennaku;
    n’ekitangaala kiribuutikirwa ebire ebikutte.

Ebikolwa by’Abatume 7:44-53

44 (A)“Bajjajjaffe baatambula mu ddungu nga beetisse Eweema ey’Endagaano, eyakolebwa nga Katonda bwe yalagirira Musa ng’efaanana nga bwe yagimulaga. 45 (B)Bajjajjaffe bajja bagisituzza abaana baabwe, okutuusa Yoswa lwe yajja nayo okulya ensi y’abamawanga Katonda be yagobanga mu maaso ga bajjajjaffe. Eweema n’ebeerawo okutuusa ku mirembe gya Dawudi. 46 (C)Dawudi n’asiimibwa Katonda, era n’asaba azimbire Katonda wa Yakobo ennyumba. 47 Naye Sulemaani ye yagizimba.

48 (D)“Naye oyo Ali Waggulu Ennyo tabeera mu nnyumba zizimbiddwa bantu. Nga nnabbi bw’agamba nti,

49 (E)“ ‘Eggulu y’entebe yange ey’obwakabaka.
    N’ensi ke katebe kwe nteeka ebigere byange.
Mukama n’agamba nti,
    Ononzimbira nnyumba ya ngeri ki?
    Oba kifo ki mwe ndiwummulira?
50 (F)Omukono gwange si gwe gwakola ebyo byonna!’

51 (G)“Mmwe abalina ensingo enkakanyavu, abatakomolebwanga mu mutima wadde amatu, muwakanya Mwoyo Mutukuvu bulijjo; era bajjajjammwe nga bwe baali, nammwe bwe mutyo bwe muli. 52 (H)Nnabbi ki bajjajjammwe gwe bataayigganya? Batta n’abo abaalangirira okujja kw’Omutuukirivu, gwe mwalyamu olukwe ne mumutta. 53 (I)Mmwe mwaweebwa amateeka nga bwe gaalagirwa bamalayika naye ne mutagagondera.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.