Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
71 (A)Mu ggwe, Ayi Mukama, mwe neekweka,
tondeka kuswazibwa.
2 (B)Mu butuukirivu bwo ondokole, omponye;
ontegere okutu ondokole.
3 (C)Onfuukire olwazi obuddukiro bwange,
ekifo eky’amaanyi;
ondokole
kubanga oli lwazi lwange era ekiddukiro kyange.
4 (D)Ayi Katonda wange omponye mu mukono gw’ababi,
omponye abantu abatali batuukirivu era abakambwe.
20 (A)Omugavu oguva e Seeba bampa gwa ki?
Oba zino emmuli ezakaloosa eziva mu nsi ey’ewala?
Ebiweebwayo byammwe ebyokebwa sijja kubikkiriza,
n’essaddaaka zammwe tezinsanyusa.”
21 (B)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Laba nditeeka enkonge mu maaso g’abantu bano;
bakitaabwe ne batabani baabwe bonna bazesittaleko.
Muliraanwa we ne mukwano gwe balizikirira.”
22 (C)Bw’ati bw’ayogera Mukama, nti,
“Laba, eggye lijja
eriva mu nsi ey’omu bukiikakkono,
eggwanga ery’amaanyi
liyimusibwa okuva ku nkomerero z’ensi.
23 (D)Bakutte omutego n’effumu,
abakambwe abatalina kusaasira.
Bawulikika ng’ennyanja ewuuma,
nga beebagadde embalaasi zaabwe:
bajja ng’abalwanyi mu byambalo by’olutalo
okulumba ggwe Muwala wa Sayuuni!”
24 (E)Tuwulidde ettutumu lyabwe;
era emikono gyaffe giweddemu amaanyi
okulumwa okunene kutukutte
n’okulumwa ng’okw’omukazi alumwa okuzaala.
25 (F)Togeza kugenda mu nnimiro
newaakubadde okutambulira mu kkubo;
kubanga omulabe abunye wonna wonna
n’entiisa ejjudde mu bantu.
26 (G)Kale nno mmwe abantu,
mwambale ebibukutu era mwevulunge mu vvu;
mukungubage ng’abakaabira
omwana owoobulenzi omu yekka.
Kubanga oyo agenda okuzikiriza
ajja kutugwako mavumbavumba.
27 (H)“Nkufudde ekigezesa
abantu bange n’ekyuma,
osobole okulaba n’okugezesa
amakubo gaabwe.
28 (I)Bonna bakyewaggula
abakakanyavu abagenda bawaayiriza,
bikomo era kyuma,
bonna boonoonefu.
29 Emivubo bagifukuta n’amaanyi,
omuliro gumalawo essasi,
naye balongoosereza bwereere
kubanga ababi tebaggyibwamu.
30 (J)Baliyitibwa masengere ga ffeeza,
kubanga Mukama abalese.”
Pawulo mu Sessaloniika
17 (A)Awo ne batambula ne bayita mu bibuga Anfipoli ne Apolooniya ne batuuka e Sessaloniika, omwali ekkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya. 2 (B)Pawulo, ng’empisa ye bwe yali, n’agenda n’ababuuliranga ekigambo kya Katonda okuva mu byawandiikibwa, ku buli lwa Ssabbiiti okumala Ssabbiiti ssatu. 3 (C)N’abannyonnyola era n’abalaga nga bwe kyali kyetaagisa Kristo okubonaabona n’okuzuukira mu bafu, era nti, “Oyo ye Kristo Yesu gwe mbabuulira.” 4 (D)Abamu ku Bayudaaya abaamuwuliriza ne bakkiriza ne beegatta ku Pawulo ne Siira; era n’Abayonaani bangi abatya Katonda awamu n’abakazi bangi ab’ekitiibwa mu kibuga ekyo.
5 (E)Naye Abayudaaya ne bakwatibwa obuggya, ne bagenda nga bafukuutirira abantu ab’empisa embi ne babaggya mu nguudo z’omu kibuga ne mu katale, ne batandikawo akasasamalo mu kibuga. Ne balumbagana amaka ga Yasooni nga banoonyaamu Pawulo ne Siira babatwale mu kibiina ky’abantu. 6 (F)Bwe baababulwa, kwe kukwata Yasooni n’abooluganda abamu ne babaleeta mu maaso g’abakulu b’ekibuga, nga bwe baleekaana nti, “Pawulo ne Siira batabuddetabudde ebifo ebirala mu nsi yonna, ne kaakano bazze wano batabuletabule ekibuga kyaffe, 7 (G)era Yasooni oyo y’abaaniriza mu maka ge. Bano bonna bazizza omusango ogw’okuseeketerera eggwanga ne bamenya amateeka ga Kayisaali nga bayimbirira kabaka omulala Yesu.” 8 Ekibiina n’abakulu b’ekibuga bwe baawulira ebintu ebyo ne basasamala. 9 (H)Bwe baamala okusasuza Yasooni ne banne omutango, ne babaleka ne bagenda.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.