Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Asafu. Oluyimba.
75 (A)Tukwebaza, Ayi Katonda.
Tukwebaza, kubanga Erinnya lyo liri kumpi.
Abantu boogera ku bikolwa byo eby’ekyewuunyo.
2 Mukama Katonda oyogera nti, “Neerondera ekiseera kye neetegekera
era nsala omusango gwa bwenkanya.
3 (B)Kyokka newaakubadde ng’ensi eyuuguuma abantu ne beeraliikirira,
naye nze nywezezza empagi zaayo.”
4 (C)Nalabula ab’amalala bagaleke,
n’ababi bakomye okuyimusa ejjembe lyabwe ng’ery’embogo.
5 Mukomye okuyimusa ejjembe lyammwe eri eggulu
n’okwogera nga muduula.
6 Kubanga okugulumizibwa tekuva mu ddungu
era n’obuyinza tebuva buvanjuba wadde obugwanjuba bw’ensi,
7 (D)wabula biva eri Katonda;
era ye y’agulumiza omu ate n’atoowaza omulala.
8 (E)Mukama akutte mu mukono gwe ekikompe eky’obusungu bwe
ekijjudde omwenge ogutabuddwamu ebirungo era kijjudde ejjovu;
akifuka, aboonoonyi bonna ku nsi
ne bakinywa ne bakimaliramu ddala.
4 (A)Mesa Kabaka wa Mowaabu yalundanga endiga, era yalina omutemwa ogw’okuwangayo abaana b’endiga emitwalo kkumi, n’ebyoya by’endiga ennume emitwalo kkumi eri Akabu. 5 (B)Naye Akabu olwafa, kabaka wa Mowaabu n’atandika okujeemera kabaka wa Isirayiri. 6 Awo mu biro ebyo kabaka Yekolaamu n’asitula okuva e Samaliya, n’akunga Isirayiri yenna okugenda naye. 7 (C)N’atumira ne Yekosafaati kabaka wa Yuda nti, “Kabaka wa Mowaabu anjeemedde, onooyinza okumbeera tumulwanyise?”
Yekosafaati n’amuddamu nti, “Nnaagenda naawe, kubanga nze ndi nga bw’oli, era abantu bange be bantu bo, n’embalaasi zange ze zizo.”
8 Yekosafaati n’amubuuza nti, “Ye, tunaalumba kuva ku luuyi ki?” Yekolaamu n’amuddamu nti, “Tunaayita mu ddungu erya Edomu.” 9 (D)Awo kabaka wa Isirayiri, n’asitukira wamu ne kabaka wa Yuda ne kabaka wa Edomu[a] ne bagenda mu lutalo. Ne batambula olugendo lwa nnaku musanvu, n’oluvannyuma ne beesanga ng’eggye amazzi galiweddeko, nga n’ebisolo byabwe tebirina wadde ettondo. 10 Kabaka wa Isirayiri ne yeekanga nnyo. N’ayogera nti, “Zitusanze! Ffenna abasatu, Mukama atuwaddeyo mu mukono gwa Mowaabu?” 11 (E)Kyokka Yekosafaati n’abuuza nti, “Tewali wano nnabbi wa Mukama tumwebuuzeeko?” Awo omu ku bakungu ba kabaka wa Isirayiri n’amuddamu nti, “Wano waliwo Erisa mutabani wa Safati. Ye yali omuweereza wa Eriya ow’oku mwanjo.” 12 (F)Yekosafaati n’ayogera nti, “Alina ekigambo okuva eri Mukama.” Awo Yekosafaati kabaka wa Yuda, awamu ne kabaka wa Isirayiri, ne kabaka wa Edomu ne baserengeta gy’ali.
13 Awo Erisa n’agamba kabaka wa Isirayiri nti, “Onnanga ki? Genda eri bannabbi ba kitaawo n’aba maama wo.” Kabaka wa Isirayiri n’amuddamu nti, “Nedda sijja kugendayo; kubanga kirabika nga Mukama atukuŋŋaanyiza ffensatule, okutuwaayo mu mukono gwa Mowaabu.”
14 Erisa n’ayogera nti, “Nga Mukama Katonda Ayinzabyonna gwe mpeereza bw’ali omulamu, singa nnali siwa Yekosafaati kabaka wa Yuda kitiibwa, sandikukubyeko munye ya liiso wadde okukusaako omwoyo. 15 (G)Naye kaakano, mundeetere omukubi w’ennanga.” Omukubi w’ennanga bwe yali ng’akyakuba ennanga, amaanyi ga Mukama ne gakka ku Erisa, 16 n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Musime ensalosalo mu kiwonvu kino.’ 17 (H)Mukama agamba nti, ‘Temuulabe mbuyaga wadde enkuba, naye ekiwonvu kino kijja kujjula amazzi, era mmwe munaanywa, n’ente zammwe zinaanywa, n’ebisolo byammwe ebirala nabyo binywe. 18 (I)Eyo nsonga nnyangu mu maaso ga Mukama, era n’Abamowaabu mujja kubawangula. 19 Mulizikiriza buli kibuga ekyetooloddwa bbugwe na buli kibuga ekikulu, era mulitema buli muti omulungi, ne muziyiza n’enzizi okuleeta amazzi, era ne mwonoona buli nnimiro nga mugijjuza amayinja.’ ”
20 (J)Awo obudde bwe bwakya, mu kiseera eky’okuweerayo ssaddaaka, amazzi ne gakulukuta nga gava ku luuyi olwa Edomu, ensi n’ejjula amazzi.
6 (A)Omuntu yenna tabalimbalimbanga n’ebigambo ebitaliimu. Katonda abonereza buli muntu yenna amujeemera. 7 Noolwekyo temwegattanga n’abafaanana ng’abo.
8 (B)Edda mwali ng’abantu ab’ekizikiza, naye kaakano muli bantu ba musana mu Mukama waffe. Noolwekyo mutambulenga ng’abaana ab’omusana, 9 (C)ekitangaala kyammwe kirabisibwe. Mubale ebibala eby’omusana nga mweyisa bulungi, nga mubeera abeesimbu era ab’amazima, 10 nga munoonya ekyo ekisanyusa Mukama waffe. 11 Temwenyigiranga mu bikolwa bya kizikiza kubanga tebigasa, wabula munenyenga ababikola. 12 Kubanga kya nsonyi n’okubyogerako ebyo abajeemu bye bakolera mu kyama. 13 (D)Byonna bwe biryatuukirizibwa mu kitangaala, birirabikira ddala nga bwe biri. 14 (E)Ekitangaala kirabisa buli kintu. Kyekiva kigambibwa nti,
“Zuukuka ggwe eyeebase,
Ozuukire mu bafu,
Kristo anaakwakira.”
15 Mutunule nga mutambula n’obwegendereza, si ng’abatalina magezi wabula ng’abalina amagezi, 16 (F)nga temwonoona biseera kubanga ennaku zino mbi. 17 (G)Temubanga basirusiru, naye mutegeere Mukama waffe ky’ayagala. 18 (H)Ate temutamiiranga, kubanga mujja kweyonoona, wabula Omwoyo ajjulenga mu bulamu bwammwe. 19 (I)Bwe mukuŋŋananga muzimbaganenga mu Zabbuli ne mu nnyimba, ne mu nnyimba ez’Omwoyo nga muyimbira Mukama era nga mumuyimusiza amaloboozi mu mutima gwammwe. 20 (J)Bulijjo mwebazenga Katonda Kitaffe olwa byonna, mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.