Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Ya mukulu wa bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.
44 (A)Ayi Katonda, twawulira n’amatu gaffe,
bajjajjaffe baatubuulira,
ebyo bye wakola mu biro byabwe,
mu nnaku ez’edda ezaayita.
2 (B)Nga bwe wagoba amawanga mu nsi
n’ogiwa bajjajjaffe,
wasaanyaawo amawanga
n’okulaakulanya bajjajjaffe.
3 (C)Ekitala kyabwe si kye kyabaleetera okuwangula ensi,
n’omukono gwabwe si gwe gwabalokola;
wabula baawangula n’omukono gwo ogwa ddyo
awamu n’obulungi bwo, kubanga wabaagala.
4 (D)Ggwe oli Kabaka wange, era Katonda wange;
awa Yakobo obuwanguzi.
5 (E)Ku lulwo tunaawangulanga abalabe baffe;
ku lw’erinnya lyo tunaalinnyiriranga abalabe baffe.
6 (F)Ddala ddala omutego gwange ogw’obusaale si gwe neesiga,
n’ekitala kyange si kye kimpa obuwanguzi.
7 (G)Wabula ggwe otulokola mu balabe baffe,
n’oswaza abo abatuyigganya.
8 (H)Twenyumiririza mu Katonda olunaku lwonna.
Era tunaatenderezanga erinnya lyo emirembe gyonna.
9 (I)Naye kaakano otusudde ne tuswala;
era tokyatabaala na magye gaffe.
10 (J)Watuzza emabega okuva mu bifo mwe twali ng’abalabe baffe balaba,
abatuyigganya ne batunyaga.
11 (K)Watuwaayo okuliibwa ng’endiga;
n’otusaasaanya mu mawanga.
12 (L)Watunda abantu bo omuwendo mutono nnyo,
n’otobaako ky’oganyulwa.
13 (M)Watufuula ekivume eri baliraanwa baffe,
ekinyoomebwa era ekisekererwa abo abatwetoolodde.
14 (N)Otufudde ekinyoomebwa mu mawanga gonna;
era abantu banyeenya emitwe gyabwe.
15 Nswazibwa obudde okuziba,
amaaso gange ne gajjula ensonyi,
16 (O)olw’abo abangigganya, abanvuma nga tebandabamu ka buntu,
olw’omulabe amaliridde okuwoolera eggwanga.
17 (P)Ebyo byonna bitutuseeko,
newaakubadde nga tetukwerabidde,
wadde obutagondera ndagaano yo.
18 (Q)Omutima gwaffe tegukuvuddeeko,
so tetugaanyi kutambulira mu kkubo lyo.
19 (R)Naye ggwe otubonerezza n’otulekera emisege,
n’otuleka mu kizikiza ekikutte.
20 (S)Ddala singa twerabira erinnya lya Katonda waffe,
ne tusinza katonda omulala,
21 (T)ekyo Katonda waffe teyandikizudde?
Kubanga ye amanyi n’ebikisibwa mu mutima.
22 (U)Katonda waffe, tetukuvuddeeko, kubanga ku lulwo tuttibwa obudde okuziba,
era tuli ng’endiga ez’okusalibwa.
Obujeemu bwa Isirayiri
6 (A)“Mujje, tudde eri Mukama.
Atutaaguddetaagudde,
naye alituwonya;
atuleeseeko ebiwundu,
naye ebiwundu alibinyiga.
2 (B)Oluvannyuma olw’ennaku bbiri alituzzaamu obulamu, era ku lunaku
olwokusatu alituzza buggya,
ne tubeera balamu mu maaso ge.
3 (C)Tumanye Mukama;
tunyiikire okumumanya.
Ng’enjuba bw’evaayo enkya,
bw’atyo bw’alirabika;
alijja gye tuli ng’enkuba ey’omu kiseera ky’omuzira,
era ng’enkuba eya ddumbi efukirira ettaka.”
4 (D)Nkukolere ki, Efulayimu?
Nkukolere ki, Yuda?
Okwagala kwo kuli ng’olufu olw’enkya,
era ng’omusulo ogw’enkya ogukala amangu.
5 (E)Kyenvudde nkozesa bannabbi okubasalaasala ebitundutundu,
ne mbatta n’ebigambo eby’omu kamwa kange,
era ne mbasalira emisango ng’okumyansa okw’eggulu.
6 (F)Kubanga njagala ekisa so si ssaddaaka,
era n’okumanya Katonda, okusinga ebiweebwayo ebyokebwa.
7 (G)Okufaanana nga Adamu, bamenye endagaano,
tebaali beesigwa.
8 Gireyaadi kibuga ky’abakozi ba bibi,
era engalo zaabwe zijjudde omusaayi.
9 (H)Ng’abatemu bwe bateegerera omuntu mu kkubo,
n’ebibiina bya bakabona
bwe bityo bwe bittira ku luguudo olugenda e Sekemu,
ne bazza emisango egy’obuswavu.
10 (I)Ndabye eby’ekivve
mu nnyumba ya Isirayiri;
era eyo Efulayimu gye yeeweereddeyo mu bwamalaaya,
ne Isirayiri gy’ayonoonekedde.
Obutakkiriza bw’Abayudaaya
30 (A)Kale tunaagamba ki? Tugambe nti Abaamawanga abataagobereranga butuukirivu, baafuna obutuukirivu, bwe butuukirivu obuva mu kukkiriza, 31 (B)naye Isirayiri mu kugobereranga amateeka ag’obutuukirivu, teyafuna butuukirivu obwo? 32 (C)Lwaki? Ekyo baalema okukituukako kubanga tebaagoberera butuukirivu mu kukkiriza wabula mu bikolwa. Beesittala ku jjinja eryo eryesittalwako, 33 (D)nga bwe kyawandiikibwa nti,
“Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja eryesittalwako[a]
n’olwazi olulibasuula.
Oyo amukkiriza taliswazibwa.”
10 Abooluganda, kye njagala mu mutima gwange era kye nsabira Abayisirayiri eri Katonda, kwe kulokolebwa. 2 (E)Kubanga nkakasa nga balina obunyiikivu eri Katonda, naye si mu kutegeera. 3 (F)Mu butamanya butuukirivu bwa Katonda, bagezaako okwenoonyeza obutuukirivu, nga bagondera amateeka mu kifo ky’okugondera obutuukirivu bwa Katonda. 4 (G)Kristo atuwa amakulu amajjuvu, buli amukkiriza n’amuwa obutuukirivu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.