Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 85

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

85 (A)Ensi yo ogikoledde ebyekisa Ayi Mukama;
    Yakobo omuddizza ebibye.
(B)Abantu bo obasonyiye ebyonoono byabwe,
    n’ebibi byabwe byonna n’obibikkako.
(C)Ekiruyi kyo kyonna okirese,
    n’oleka n’obusungu bwo obubuubuuka.

(D)Tukomyewo gy’oli, Ayi Katonda w’obulokozi bwaffe,
    oleke okutusunguwalira.
(E)Onootusunguwaliranga emirembe gyonna?
    Onootunyiigiranga emirembe n’emirembe?
(F)Tolituzaamu ndasi,
    abantu bo basanyukirenga mu ggwe?
Tulage okwagala kwo okutaggwaawo Ayi Katonda,
    era otuwe obulokozi bwo.

(G)Nnaawulirizanga Mukama Katonda by’agamba;
    asuubiza abantu be, be batukuvu be, okubawa emirembe;
    naye tebaddayo mu byonoono byabwe.
(H)Ddala ddala obulokozi bwe busemberera abo abamutya,
    ensi yaffe n’eryoka ejjula ekitiibwa kye.

10 (I)Okwagala n’obwesigwa bisisinkanye;
    obutuukirivu n’emirembe binywegeraganye.
11 (J)Obwesigwa bulose mu nsi,
    n’obutukuvu ne butunuulira ensi nga businzira mu ggulu.
12 (K)Ddala ddala Katonda anaatuwanga ebirungi,
    n’ensi yaffe eneebalanga ebibala bingi.
13 Obutuukirivu bunaamukulemberanga,
    era bunaateekateekanga ekkubo mw’anaayitanga.

Koseya 5

Isirayiri Asalirwa Omusango

(A)Muwulire kino mmwe bakabona!
    Musseeyo omwoyo, mmwe Isirayiri!
Muwulirize, mmwe ennyumba ya Kabaka!
    Omusango guli ku mmwe:
Mubadde kyambika e Mizupa,
    era ekitimba ekitegeddwa ku Taboli.
(B)Abajeemu bamaliridde okutta,
    naye ndibabonereza bonna.
(C)Mmanyi byonna ebikwata ku Efulayimu,
    so ne Isirayiri tankisibwa.
Efulayimu weewaddeyo okukuba obwamalaaya,
    ne Isirayiri yeeyonoonye.

(D)Ebikolwa byabwe tebibaganya
    kudda eri Katonda waabwe,
kubanga omwoyo ogw’obwamalaaya guli mu mitima gyabwe,
    so tebamanyi Mukama.
(E)Amalala ga Isirayiri gabalumiriza;
    Abayisirayiri ne Efulayimu balyesittala olw’omusango gwabwe;
    ne Yuda alyesittalira wamu nabo.
(F)Bwe baligenda n’ebisibo byabwe n’amagana gaabwe
    okunoonya Mukama,
tebalimulaba;
    abaviiridde, abeeyawuddeko.
(G)Tebabadde beesigwa eri Mukama;
    bazadde abaana aboobwenzi.
Embaga ez’omwezi ogwakaboneka
    kyeziriva zibamalawo, n’ennimiro zaabwe ne ziragajjalirwa.

(H)Mufuuwe eŋŋombe mu Gibea,
    n’ekkondeere mu Laama.
Muyimuse amaloboozi e Besaveni;
    mutukulembere mmwe Benyamini.
(I)Efulayimu alifuuka matongo
    ku lunaku olw’okubonerezebwa.
Nnangirira ebiribaawo
    mu bika bya Isirayiri.
10 (J)Abakulembeze ba Yuda bali ng’abo
    abajjulula ensalo,
era ndibafukako obusungu bwange
    ng’omujjuzo gw’amazzi.
11 (K)Efulayimu anyigirizibwa,
    era omusango gumumezze,
    kubanga yamalirira okugoberera bakatonda abalala.
12 (L)Kyenvudde nfuuka ng’ennyenje eri Efulayimu,
    n’eri ennyumba ya Yuda n’emba ng’ekintu ekivundu.

13 (M)“Efulayimu bwe yalaba obulwadde bwe,
    ne Yuda n’alaba ekivundu kye,
Efulayimu n’addukira mu Bwasuli,
    n’atumya obuyambi okuva eri kabaka waayo omukulu.
Naye tasobola kubawonya
    newaakubadde okubajjanjaba ebiwundu byabwe.
14 (N)Kyendiva mbeera ng’empologoma eri Efulayimu,
    era ng’empologoma ey’amaanyi eri ennyumba ya Yuda.
Ndibataagulataagula ne ŋŋenda;
    ndibeetikka ne mbatwala, ne babulwako ayinza okubawonya.
15 (O)Ndiddayo mu kifo kyange,
    okutuusa lwe balikkiriza omusango gwabwe.
Balinnoonya,
    mu buyinike bwabwe, balinnoonya n’omutima gwabwe gwonna.”

Ebikolwa by’Abatume 2:22-36

22 (A)“Abasajja Abayisirayiri, muwulirize ebigambo bino! Yesu Omunnazaaleesi omuntu Katonda gwe yakakasa gye muli n’ebyamagero eby’ekitalo, Katonda bye yamukozesanga ng’ali mu mmwe, nga mwenna bwe mumanyi. 23 (B)Naye ng’enteekateeka ya Katonda bwe yali, omuntu oyo yaweebwayo mu mikono gy’abantu abatagoberera mateeka, ne mumutta nga mumukomeredde ku musaalaba. 24 (C)Kyokka Katonda yamuzuukiza ng’asaanyizaawo obulumi bw’okufa, kubanga okufa tekwayinza kumunyweza. 25 (D)Kubanga Dawudi amwogerako nti,

“ ‘Nalaba nga Mukama ali nange bulijjo,
    kubanga ali ku mukono gwange ogwa ddyo,
    nneme okusagaasagana.
26 Noolwekyo omutima gwange kyeguvudde gusanyuka, n’olulimi lwange ne lukutendereza.
    Era n’omubiri gwange gunaabeeranga mu ssuubi.
27 (E)Kubanga tolireka mwoyo gwange kuzikirira
    so toliganya mutukuvu wo kuvunda.
28 Wandaga amakubo g’obulamu,
    era olinzijuza essanyu nga ndi mu maaso go.’ 

29 (F)“Abasajja abooluganda, nnyinza okwogera n’obuvumu gye muli ku bifa ku jjajjaffe Dawudi nga yafa n’aziikibwa, era n’amalaalo ge weegali ne kaakano. 30 (G)Naye Dawudi yali nnabbi, n’amanya nga Katonda yamulayirira ekirayiro, nti mu bibala eby’omu ntumbwe ze mwe muliva alituula ku ntebe ey’obwakabaka bwe, 31 (H)bwe yakiraba olubereberye nayogera ku kuzuukira kwa Kristo nga teyalekebwa magombe so nga n’omubiri gwe tegwavunda. 32 (I)Yesu oyo Katonda yamuzuukiza, era ffe ffenna tuli bajulirwa. 33 (J)Awo bwe yagulumizibwa n’alaga ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, n’aweebwa Mwoyo Mutukuvu eyamusuubizibwa Kitaffe, n’alyoka atuwa kino nammwe kye mwerabiddeko era kye mwewuliriddeko. 34 Kubanga Dawudi teyalinnya mu ggulu, naye agamba nti,

“ ‘Mukama yagamba Mukama wange nti,
    “Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo,
35 (K)okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y’ebigere byo.” ’

36 (L)“Noolwekyo ennyumba yonna eya Isirayiri, bamanyire ddala nti oyo Yesu gwe mwakomerera ku musaalaba, Katonda yamufuula Mukama era Kristo!”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.