Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 82

Zabbuli ya Asafu.

82 (A)Katonda akubiriza olukiiko lwe olukulu olw’omu ggulu,
    ng’alamula bakatonda.

(B)Mulituusa ddi okusala emisango n’obukuusa,
    nga musalira abanafu?
(C)Abanafu n’abatalina bakitaabwe mubalamulenga mu bwenkanya;
    abaavu n’abanyigirizibwa mubayambenga mu bwenkanya.
Mulwanirire abatalina maanyi n’abali mu kwetaaga, mubawonye;
    mubanunule nga mubaggya mu mikono gy’ababi.

(D)Tebalina kye bamanyi, era tebategeera.
    Batambulira mu kizikiza;
    emisingi gy’ensi gyonna ginyeenyezebwa.

(E)Njogedde nti, Muli bakatonda,
    era mwenna muli baana b’oyo Ali Waggulu Ennyo.
(F)“Naye mugenda kufa ng’abantu obuntu;
    muliggwaawo ng’abafuzi abalala bonna bwe baggwaawo.”

(G)Ogolokoke, Ayi Katonda, olamule ensi;
    kubanga amawanga gonna gago.

Amosi 2:12-3:8

12 (A)“Naye mmwe ne mudda mu kuwa Abawonge ba Mukama omwenge okunywa,
    ne muwa bannabbi amateeka nga mubagamba nti temuwa byabunnabbi.

13 “Laba, ndibasesebbula
    ng’eggaali eryettisse ebinywa by’emmere ey’empeke bwe lisesebbula ekiri mu kkubo lyalyo.
14 (B)Abanguwa tebaliwona,
    n’ab’amaanyi tebalikuŋŋaanya maanyi gaabwe
    era n’omuzira nnamige talisobola kuwonya bulamu bwe.
15 (C)Omukubi w’obusaale omukugu taliyimirira kunywera,
    n’omuserikale ow’ebigere nnakinku talisobola kuwenyuka.
    Abo abasajja abazira abeebagazi b’embalaasi tebalisobola kuwonya bulamu bwabwe.
16 (D)Ku lunaku olwo abalwanyi abazira nnamige
    balidduka bukunya!”
    bw’atyo bw’ayogera Mukama.

Okulabula Abantu ba Isirayiri

(E)Muwulire ekigambo kino Mukama ky’aboogerako mmwe abaana ba Isirayiri, ennyumba yonna gye naggya mu Misiri.

(F)“Mu bantu bonna abali ku nsi,
    mmwe mwekka be nalonda.
Kyendiva mbabonereza
    olw’ebibi byammwe byonna.”
Abantu ababiri bayinza okutambulira awamu
    wabula nga bakkiriziganyizza?
(G)Empologoma ewulugumira mu kisaka
    nga terina muyiggo?
Empologoma ento ekaabira mu mpuku yaayo
    nga teriiko ky’ekutte?
Akanyonyi kayinza okugwa mu mutego
    nga tewali kikasikirizza?
Omutego gumasuka
    nga teguliiko kye gukwasizza?
(H)Akagombe kavugira mu kibuga
    abantu ne batatya?
Akabenje kagwa mu kibuga
    nga Mukama si y’akaleese?

(I)Naye ddala Mukama Katonda takola kintu kyonna
    nga tasoose kukibikkulira
    baweereza be, bannabbi.

(J)Empologoma ewulugumye,
    ani ataatye?
Mukama Katonda ayogedde
    ani ataawe bubaka bwe?

Yokaana 3:16-21

16 (A)“Kubanga Katonda bwe yayagala ensi, bw’atyo n’awaayo Omwana we omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme kuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo. 17 (B)Kubanga Katonda teyatuma Mwana we mu nsi kugisalira musango, wabula ensi erokolebwe okuyita mu ye. 18 (C)Amukkiriza tasalibwa musango, naye atakkiriza gumaze okumusinga kubanga takkiririza mu linnya ly’Omwana oyo omu yekka owa Katonda. 19 (D)Era guno gwe musango nti: Omusana guzze mu nsi, kyokka abantu ne baagala ekizikiza okusinga omusana, kubanga ebikolwa byabwe bibi. 20 (E)Buli akola ebibi akyawa Omusana era tajja eri musana, ebikolwa bye bireme okumanyibwa. 21 Naye buli ajja eri omusana akola eby’amazima, ebikolwa bye bimanyibwe nga byakolerwa mu Katonda.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.