Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 119:17-32

ג Gimero

17 (A)Omuddu wo omukolere ebirungi, mbe omulamu,
    ngobererenga ekigambo kyo.
18 Ozibule amaaso gange, nsobole okulaba
    eby’ekitalo ebiri mu mateeka go.
19 (B)Nze ndi muyise ku nsi;
    tonkisa bye walagira.
20 (C)Bulijjo emmeeme yange
    eyaayaanira amateeka go.
21 (D)Onenya ab’amalala, abaakolimirwa,
    abaleka amateeka go.
22 (E)Mponya okuduula kwabwe n’okunyooma kwabwe;
    kubanga bye walagira mbigondera.
23 Newaakubadde ng’abalangira bansalira enkwe;
    naye nze, omuweereza wo, nnaafumiitirizanga ku biragiro byo.
24 Amateeka go lye ssanyu lyange,
    era ge gannuŋŋamya.

ד Daleeti

25 (F)Nzigweddemu amaanyi, ndi wansi mu nfuufu;
    nkusaba onzizeemu endasi ng’ekigambo kyo bwe kiri.
26 (G)Nakutegeeza bye nteesezza okukola, n’onnyanukula;
    onjigirize amateeka go.
27 (H)Njigiriza amateeka go bye gagamba,
    nange nnaafumiitirizanga ku byamagero byo.
28 (I)Emmeeme empweddemu ensa olw’okunakuwala;
    onzizeemu amaanyi ng’ekigambo kyo bwe kiri.
29 Nzigiraako ddala ebyo ebitali bya butuukirivu;
    olw’ekisa kyo njigiriza amateeka go.
30 Nonzeewo okubeera omwesigwa;
    ntambulire mu ebyo bye walagira.
31 (J)Nnyweredde ku biragiro byo, Ayi Mukama,
    tondeka kuswazibwa.
32 Bw’onoosumulula omutima gwange,
    nnaatambuliranga mu makubo go ng’ebiragiro byo bwe biri.

Amosi 8:13-9:4

13 (A)“Mu biro ebyo,

“abawala ababalagavu n’abalenzi ab’amaanyi
    balizirika olw’ennyonta.
14 (B)Abo abaalayira eby’ensonyi eby’e Samaliya
    oba abaayogera nti, ‘Nga katonda wo bw’ali omulamu ggwe Ddaani,’
    oba nti, ‘Nga katonda w’e Beeruseba bw’ali omulamu,’
    baligwa obutayimuka nate.”

Okuzikirira kwa Isirayiri

(C)Bwe ntyo nate ne ndaba Mukama ng’ayimiridde ku mabbali g’ekyoto, n’ayogera nti,

“Mukube emitwe gy’empagi bya yeekaalu n’amaanyi mangi,
    emifuubeeto gikankane.
Bisesebbuke bikube emitwe gy’abantu bonna,
    n’abo abaliba bawonyeewo ndibattisa ekitala.
Tewaliba n’omu awona.
(D)Ne bwe balisima ne baddukira emagombe,
    omukono gwange gulibaggyayo.
Ne bwe balirinnya waggulu mu ggulu
    ndibawanulayo.
(E)Wadde balyekweka ku lusozi Kalumeeri,
    ndibanoonyaayo ne mbaggyayo.
Ne bwe balyekweka wansi mu buziba bw’ennyanja
    ndiragira ogusota ne gubalumirayo.
(F)Ne bwe balitwalibwa abalabe baabwe mu buwaŋŋanguse,
    era nayo ndiragira ekitala ne kibattirayo.
Ndibasimba amaaso
    ne batuukibwako bibi so si birungi.”

1 Yokaana 2:1-6

Kristo Omuwolereza Waffe

(A)Baana bange abaagalwa, ebintu bino mbibawandiikidde mulemenga okukola ekibi. Naye omuntu yenna bw’akolanga ekibi tulina omuwolereza eri Kitaffe, ye Yesu Kristo Omutuukirivu. (B)Ye, ye mutango olw’ebibi byaffe, naye si lwa bibi byaffe byokka, wabula ne ku lw’ebibi by’abantu bonna. (C)Bwe tugondera ebiragiro bye, kye kikakasa nti tumutegeera. (D)Kyokka oyo agamba nti amutegeera n’atakuuma biragiro bye, aba mulimba, era si wa mazima. (E)Naye buli agondera ekigambo kye, ddala ng’okwagala kwa Katonda kutuukiridde mu muntu oyo. Era ekyo kye kitukakasisa nti tuli mu ye. (F)Oyo agamba nti ali mu ye, asaana okutambula nga Mukama waffe yennyini bwe yatambula.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.