Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Koseya 1:2-10

Koseya Afuna Amaka

(A)Awo Mukama bwe yasooka okwogera eri Koseya, yamulagira nti, “Ggenda owase omukazi malaaya, omuzaalemu abaana, era banaayitibwanga abaana aboobwamalaaya, kubanga ensi eyitirizza okukola ekibi eky’obwenzi, n’eva ku Mukama.” Awo n’awasa Gomeri muwala wa Dibulayimu, n’aba olubuto, n’amuzaalira omwana wabulenzi.

(B)Mukama n’agamba Koseya nti, “Mmutuume erinnya Yezuleeri, kubanga nnaatera okubonereza ennyumba ya Yeeku, olw’okuyiwa omusaayi gw’abantu ab’e Yezuleeri, era ndimalawo obwakabaka bwa Isirayiri. (C)Ku lunaku olwo omutego gwa Isirayiri ndigumenyera mu Kiwonvu kya Yezuleeri.”

(D)Gomeri n’aba olubuto olulala, n’azaala omwana wabuwala. Mukama n’agamba Koseya nti, “Mmutuume erinnya Lolukama, kubanga ennyumba ya Isirayiri ndiba sikyagyagala, si kulwa nga mbasonyiwa. (E)Naye ab’ennyumba ya Yuda ndibaagala, era ndibalokola, si na kasaale, newaakubadde ekitala, newaakubadde entalo, newaakubadde embalaasi newaakubadde abeebagala embalaasi, wabula nze kennyini Mukama Katonda waabwe nze ndibaagala era ne mbalokola.”

Awo Gomeri bwe yamala okuggya Lolukama ku mabeere, n’aba olubuto olulala n’azaala omwana wabulenzi. Mukama n’ayogera nti, “Mmutuume erinnya Lowami, kubanga temukyali bantu bange, nange sikyali Katonda wammwe.

10 (F)“Naye ekiseera kirituuka abantu ba Isirayiri ne baba bangi ng’omusenyu ogw’oku nnyanja, ogutayinzika kupimibwa newaakubadde okubalibwa olw’obungi bwagwo. Mu kifo ky’okuyitibwa abatali bantu bange, baliyitibwa, baana ba Katonda omulamu.

Zabbuli 85

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

85 (A)Ensi yo ogikoledde ebyekisa Ayi Mukama;
    Yakobo omuddizza ebibye.
(B)Abantu bo obasonyiye ebyonoono byabwe,
    n’ebibi byabwe byonna n’obibikkako.
(C)Ekiruyi kyo kyonna okirese,
    n’oleka n’obusungu bwo obubuubuuka.

(D)Tukomyewo gy’oli, Ayi Katonda w’obulokozi bwaffe,
    oleke okutusunguwalira.
(E)Onootusunguwaliranga emirembe gyonna?
    Onootunyiigiranga emirembe n’emirembe?
(F)Tolituzaamu ndasi,
    abantu bo basanyukirenga mu ggwe?
Tulage okwagala kwo okutaggwaawo Ayi Katonda,
    era otuwe obulokozi bwo.

(G)Nnaawulirizanga Mukama Katonda by’agamba;
    asuubiza abantu be, be batukuvu be, okubawa emirembe;
    naye tebaddayo mu byonoono byabwe.
(H)Ddala ddala obulokozi bwe busemberera abo abamutya,
    ensi yaffe n’eryoka ejjula ekitiibwa kye.

10 (I)Okwagala n’obwesigwa bisisinkanye;
    obutuukirivu n’emirembe binywegeraganye.
11 (J)Obwesigwa bulose mu nsi,
    n’obutukuvu ne butunuulira ensi nga businzira mu ggulu.
12 (K)Ddala ddala Katonda anaatuwanga ebirungi,
    n’ensi yaffe eneebalanga ebibala bingi.
13 Obutuukirivu bunaamukulemberanga,
    era bunaateekateekanga ekkubo mw’anaayitanga.

Abakkolosaayi 2:6-15

Obulamu obujjuvu mu Kristo

(A)Nga bwe mwaweebwa Kristo Yesu Mukama waffe, mutambulirenga mu ye, (B)nga musimbibwa era nga mukuzibwa mu ye, era nga munywezebwa mu kukkiriza nga bwe mwayigirizibwa, nga mujjudde okwebazanga.

(C)Mwekuumenga walemenga kubaawo n’omu ku mmwe abuzibwabuzibwa mu bufirosoofo ne mu by’obulimba ebitaliimu, okugobereranga obulombolombo obw’abantu n’ebiyigirizibwa abantu. Munywererenga ku biyigirizibwa ku Kristo. Kubanga mu Kristo okutuukiriza kwonna okw’Obwakabaka mwe kulabikira mu mubiri, 10 (D)era mmwe nga muli mu ye, mwatuukirira mu ye, oyo Kristo omutwe gw’obufuzi bwonna n’obuyinza bwonna. 11 (E)Mu ye mwakomolebwa, bwe mwaggibwako okwegomba kw’omubiri, naye si okukomolebwa okw’engalo z’abantu, wabula mu kukomolebwa okwa Kristo. 12 (F)Bwe mwabatizibwa, mwaziikibwa wamu naye, ate ne muzuukizibwa wamu naye olw’okukkiriza kwammwe mu maanyi ga Katonda eyamuzuukiza mu bafu.

13 (G)Mwali mufudde olw’ebyonoono byammwe ne mu butakomolebwa bwammwe obw’okwegomba kw’omubiri. Katonda n’abafuula balamu wamu ne Kristo, ffenna bwe yatusonyiwa ebyonoono byaffe byonna. 14 (H)Bwe yasazaamu era n’aggyawo ebiragiro ebyawandiikibwa mu mateeka ebyatwolekeranga, n’abikomerera ku musaalaba, 15 (I)n’aggya ebyokulwanyisa ebyo ku bafuzi n’ab’obuyinza ab’omu bbanga, n’abaswaza mu lwatu, n’abawangulira ddala.

Abakkolosaayi 2:16-19

16 (A)Noolwekyo waleme kubaawo muntu n’omu abasalira musango ku bye mulya ne bye munywa, oba okubasalira omusango olw’embaga z’Ekiyudaaya oba ez’omwezi ogubonese wadde olwa Ssabbiiti. 17 (B)Kubanga ebyo kisiikirize eky’ebyo ebyali bigenda okujja, naye ekirimu ensa ye Kristo. 18 (C)Omuntu yenna tabalimbalimbanga n’abanyagako ekirabo kye mwaweebwa, nga yeesigama ku kwewombeeka okw’obulimba n’okuwa bamalayika ekitiibwa ekingi, ng’anywerera mu bintu bye yalaba, nga yeenyumiririza mu butaliimu obw’amagezi ag’omubiri gwe. 19 (D)Ab’engeri eyo baba tebakyali mu Kristo, omutwe gw’omubiri gwonna. Omubiri ogwo gugattibwa mu nnyingo ne mu binywa era ne gugattibwa wamu nga gukula, Katonda nga y’agukuza.

Lukka 11:1-13

Yesu Ayigiriza Okusaba

11 (A)Awo olwatuuka Yesu ng’ali mu kifo ekimu ng’asaba, bwe yamaliriza, omu ku bayigirizwa be n’amugamba nti, “Mukama waffe, naawe tuyigirize okusaba nga Yokaana bwe yayigiriza abayigirizwa be.”

(B)N’abagamba nti, “Bwe mubanga musaba mugambanga nti,

“ ‘Kitaffe,[a]
Erinnya lyo litukuzibwe,
obwakabaka bwo bujje.
Otuwenga buli lunaku emmere yaffe ey’olunaku.
(C)Era otusonyiwe ebyonoono byaffe,
    nga naffe bwe tusonyiwa abatukolako ebisobyo.
So totutwala mu kukemebwa.’ ”

Ate n’abagamba nti, “Singa omu ku mmwe alina mukwano gwe, n’ajja gy’ali ekiro mu ttumbi n’amugamba nti, ‘Mukwano gwange, nkusaba ompoleyo emigaati esatu, kubanga nfunye omugenyi, mukwano gwange avudde lugendo, naye sirina kyakulya kya kumuwa.’ ”

“Oli ali munda mu nju bw’ayanukula nti, ‘Tonteganya. Twasibyewo dda, ffenna n’abaana bange twebisse. Noolwekyo siyinza kugolokoka kaakano ne mbaako kye nkuwa.’ (D)Naye mbategeeza nti, Newaakubadde nga tagolokoka n’amuyamba nga mukwano gwe, naye, singa akonkona n’amwetayirira, alwaddaaki agolokoka n’amuwa by’amusabye.

(E)“Bwe ntyo mbagamba nti, musabe munaaweebwa, munoonye mulizuula, mukonkone era munaggulirwawo. 10 Kubanga buli asaba, aweebwa, n’oyo anoonya, azuula, era n’oyo akonkona aggulirwawo.

11 “Ani ku mmwe kitaawe w’omwana, omwana we ng’amusabye ekyennyanja, mu kifo ky’ekyennyanja n’amuwa omusota? 12 Oba ng’amusabye eggi n’amuwa enjaba? 13 Kale obanga mmwe ababi muwa abaana bammwe ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisinga nnyo okubawa Mwoyo Mutukuvu abo abamusaba?”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.