Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 6

Eri Omukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.

(A)Ayi Mukama, tonnenya ng’ojjudde obusungu;
    so tombonereza mu kiruyi kyo.
(B)Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga ndi munafu.
    Omponye, Ayi Mukama, kubanga amagumba gange gali mu bulumi.
(C)Emmeeme yange ejjudde ennaku.
    Olirindirira kutuusa ddi olyoke onnyambe?

(D)Onkyukire, Ayi Mukama, olokole omwoyo gwange;
    omponye okufa olw’okwagala kwo okungi.
(E)Kubanga tewali ayinza kukujjukira ng’amaze okufa.
    Ani alikutendereza ng’asinziira emagombe?

(F)Mpweddemu amaanyi olw’okusinda.

Buli kiro obuliri bwange bujjula amaziga gange
    n’omutto ne gutoba.
(G)Amaaso gange ganafuye olw’okunyolwa,
    tegakyalaba bulungi olw’abalabe bange.

(H)Muve we ndi mmwe mwenna abakola ebibi;
    kubanga Mukama awulidde okukaaba kwange.
(I)Mukama awulidde okwegayirira kwange,
    n’okusaba kwange akukkirizza.
10 (J)Abalabe bange bonna baliswazibwa era balitya nnyo;
    bazzibwe emabega nga bajjudde obuswavu mangu ago.

2 Bassekabaka 5:19-27

19 (A)Erisa n’amuddamu nti, “Genda mirembe.”

Omululu gwa Gekazi n’Ekibonerezo kye

Naye Naamani bwe yali yakagendako ebbanga ttono, 20 (B)Gekazi omuweereza wa Erisa omusajja wa Katonda, n’alowooza mu mutima gwe nti, “Laba mukama wange bw’asaasidde Naamani ono Omusuuli, n’atakkiriza kirabo kimuweerebbwa. Mazima ddala, nga Mukama bw’ali omulamu nzija kumugoberera, mbeeko kye muggyako.”

21 Amangwago, Gekazi n’agoberera Naamani. Naamani bwe yamulengera ng’ajja adduka, n’ava mu gaali lye okumusisinkana, n’amubuuza nti, “Byonna biri bulungi?” 22 (C)N’amuddamu nti, “Byonna biri bulungi, naye mukama wange antumye okukutegeeza nti, ‘Wabaddewo bannabbi abavubuka babiri abazze gy’ali okuva mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu, era akusabye obaweeko kilo amakumi asatu mu nnya eza ffeeza n’ebika by’engoye bya mirundi ebiri.’ ”

23 Naamani n’amugamba nti, “Tewali kikugaana kutwala kilo nkaaga munaana.” N’awaliriza Gekazi, n’amusibirako kilo bbiri eza ffeeza mu nsawo bbiri, n’ebika by’engoye bya mirundi ebiri, Naamani n’abitikka abaddu be babiri, abaabyetikka nga bakulembeddemu Gekazi. 24 Gekazi bwe yatuuka ku lusozi, n’abibaggyako, n’abiteeka mu nnyumba ye, n’abasindika bagende. 25 N’ayingira n’ayimirira mu maaso ga Erisa mukama we. Erisa n’amubuuza nti, “Ova wa Gekazi?” Gekazi n’addamu nti, “Omuddu wo taliiko gy’agenze.” 26 (D)Naye Erisa n’amugamba nti, “Ssaagenze naawe mu mwoyo, omusajja bwe yavudde mu ggaali lye okukusisinkana? Kino ky’ekiseera eky’okutwala ensimbi, oba engoye, oba ennimiro ez’emizeeyituuni, oba ez’emizabbibu, oba endiga, oba ente, oba abaddu, oba abaweereza abawala? 27 (E)(F)Noolwekyo ebigenge bya Naamani binaakuberangako gwe ne bazzukulu bo emirembe gyonna.” Awo Gekazi n’ava mu maaso ga Erisa nga mugenge, atukula ng’omuzira.

Ebikolwa by’Abatume 19:28-41

28 (A)Awo bwe baawulira ebyo, ne basunguwala, ne batandika okuleekaana nti, “Atemi ow’Abaefeeso ye Mukulu!” 29 (B)Ekibuga ne kijjula akayuuguumo, abantu bonna ne badduka nga balaga mu kifo omwazanyirwanga emizannyo nga bwe basikaasikanya Gayo ne Alisutaluuko, abaatambulanga ne Pawulo, babatwale babawozese. 30 Pawulo n’ayagala naye okuyingira mu kibiina, kyokka abayigirizwa ne batamukkiriza. 31 N’abamu ku b’omu Asiya, abaali mikwano gya Pawulo, ne bamutumira aleme kwewaayo kuyingira mu kifo omwazanyirwanga emizannyo.

32 (C)Abantu abaali munda ne bamala galeekaana, ng’abamu boogera kino n’abalala kiri kubanga ekibiina kyali kitabusetabuse. Abasinga obungi nga n’okumanya tebamanyi nsonga yennyini ebakuŋŋaanyisizza. 33 (D)Abayudaaya abamu bwe baalengera Alegezanda ng’ali mu kibiina ne bamusika okumuleeta mu maaso. N’akoma ku bantu basirike abeeko ky’abagamba. 34 Naye ekibiina bwe kyategeera nga Muyudaaya, bonna ne baddamu buto okuleekaana nti, “Atemi ow’Abaefeeso ye Mukulu!” Ne bakiddiŋŋana emirundi n’emirundi okumala ng’essaawa bbiri nnamba.

35 (E)Awo omukulu w’ekibuga n’abasirisa n’ayogera nabo nti, “Abasajja Abaefeso, buli muntu yenna amanyi nti Efeso mwe mukuumirwa essabo ekkulu ery’omukulu Atemi, gwe tumanyi ng’ekifaananyi ekyava mu ggulu. 36 Olw’okubanga ebyo tewali abiwakanya, temusaana kwecanga olw’ebyo ebyogerwa, era temusaana kwanguyiriza kukola kya bulabe. 37 (F)Kale muleese wano abasajja bano abatabbye kintu kya Atemi n’ekimu, wadde okumunyoomoola. 38 (G)Obanga Demeteriyo n’abakozi be balina ensonga ze bavunaana abasajja bano, embuga z’amateeka weeziri era abalamuzi bajja kuyingira mangu mu nsonga zaabwe. Kirungi bakwate amakubo amatongole. 39 Obanga waliwo abeemulugunya ku nsonga endala, ebyo biyinza okutereezebwa mu Lukiiko lw’Ekibuga olwa bulijjo. 40 Kubanga singa tetwegendereza, tujja kuvunaanibwa olw’akasasamalo ka leero, kubanga tetujja kuba na kya kwogera.” 41 Awo n’abasiibula, ne basaasaana.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.