Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Zabbuli ya Dawudi gye yayimbira Mukama ng’efa ku Kuusi Omubenyamini.
7 (A)Ayi Mukama, Katonda wange, neesiga ggwe:
ngobaako bonna abangigganya era omponye,
2 (B)si kulwa nga bantagulataagula ng’empologoma
ne bankutulakutula obufiififi ne watabaawo amponya.
3 (C)Ayi Mukama, Katonda wange, obanga nkoze kino,
era ng’engalo zange ziriko omusango,
4 obanga waliwo andaze ebirungi nze ne si muyisa bulungi,
oba nzibye omulabe wange awatali nsonga:
5 Kale, abalabe bange baleke bangoberere bankwate,
bankube wansi banninnyirire,
banzitire mu nfuufu.
6 (D)Golokoka, Ayi Mukama, mu busungu bwo oziyize abalabe bange abajjudde obukambwe.
Golokoka, Ayi Katonda wange,
onnyambe ggwe asala omusango mu bwenkanya.
7 Kuŋŋaanya bannaggwanga bonna okukwetooloola;
obafuge ng’oli waggulu ennyo.
8 (E)Ggwe, Ayi Mukama, Ali Waggulu Ennyo,
asalira amawanga gonna emisango,
osale omusango gwange Ayi Mukama Ali Waggulu Ennyo ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
era n’amazima agali mu nze bwe gali.
9 (F)Ayi Katonda omutukuvu,
akebera emitima n’emmeeme;
okomye ebikolwa by’abakola ebibi:
era onyweze abatuukirivu.
10 (G)Katonda Ali Waggulu Ennyo ye ngabo yange;
alokola abo abalina omutima omulongoofu.
11 (H)Katonda mulamuzi wa mazima;
era alaga ekiruyi kye buli lunaku.
12 (I)Mukama awagala ekitala kye
n’aleega omutego gwe
ogw’obusaale.
13 Era ategese ebyokulwanyisa ebissi;
era akozesa obusaale obw’omuliro.
14 (J)Omuntu ajjudde ebibi afuna emitawaana,
n’azaala obulimba.
15 (K)Asima ekinnya, n’akiwanvuya nnyo;
ate n’akigwamu ye kye yasimye.
16 Emitawaana gye gimwebunguludde;
n’obukambwe bwe bumuddire.
17 (L)Nneebazanga Mukama olw’obutuukirivu bwe;
nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lya Mukama Ali Waggulu Ennyo.
6 (A)“Nabaleetera enjala embuto zammwe ne ziba njereere mu buli kibuga,
ne ssibawa kyakulya mu buli kabuga,
naye era ne mugaana okudda gye ndi,”
bw’ayogera Mukama.
7 (B)“Ne mbamma enkuba
ng’ekyabulayo emyezi esatu amakungula gatuuke.
Ne ntonnyesa enkuba mu kibuga ekimu
ne ngiziyiza mu kirala.
Yatonnyanga mu nnimiro emu,
mu ndala n’etatonnya, ebirime ne biwotoka.
8 (C)Abantu ne bavanga mu kibuga ekimu ne balaga mu kirala nga banoonya amazzi banyweko,
naye ne gababula;
naye era ne mutakyuka kudda gye ndi,”
bw’ayogera Mukama.
9 (D)“Emirundi mingi ebirime byammwe n’ennimiro zammwe ez’emizabbibu na bigengewaza.
Nabileetako obulwadde.
Enzige nazo ne zirya emitiini gyammwe n’emizeeyituuni gyammwe,
naye era temwadda gye ndi,”
bw’ayogera Mukama.
10 (E)“Nabasindikira kawumpuli
nga gwe nasindika mu Misiri.
Abavubuka bammwe ne mbattira mu lutalo n’ekitala
awamu n’embalaasi zammwe ze mwawamba.
Okuwunya kw’olusisira lwammwe ne kuyitirira nnyo
naye era ne mugaana okudda gye ndi,”
bw’ayogera Mukama.
11 (F)“Nazikiriza abamu ku mmwe
nga bwe nakola Sodomu ne Ggomola,
ne muba ng’olumuli olusikiddwa mu muliro ogwaka
naye era ne mulema okudda gye ndi,”
bw’ayogera Mukama.
12 “Kyendiva nkukola bwe ntyo, ggwe Isirayiri,
era ndikwongerako ebibonoobono.
Noolwekyo weetegeke okusisinkana Katonda wo, ggwe Isirayiri.”
13 (G)Kubanga laba, oyo eyatonda ensozi
era ye yatonda n’embuyaga
era abikkulira omuntu ebirowoozo bye.
Yafuula enkya okubeera ekiro,
era alinnya mu bifo ebigulumivu eby’ensi.
Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.
Mwagalanenga
11 (A)Kubanga buno bwe bubaka bwe twawulira okuva ku lubereberye nti twagalanenga, 12 (B)si nga Kayini eyali owa Setaani, n’atta muganda we. Kale yamuttira ki? Kayini yatta muganda we kubanga Kayini yakola ebibi, so nga ye muganda we yakola eby’obutuukirivu. 13 (C)Abooluganda, ensi bwe bakyawanga, temwewuunyanga. 14 (D)Kubanga ffe tumanyi nga twava mu kufa, ne tuyingira mu bulamu, kubanga twagala abooluganda, naye buli muntu atalina kwagala akyali mu kufa. 15 (E)Buli akyawa muntu munne, oyo aba mussi, era mukimanyi nti tewali mussi alina obulamu obutaggwaawo mu ye.
16 (F)Mu kino mwe tutegeerera okwagala, kubanga yawaayo obulamu bwe ku lwaffe, era naffe kyetuva tuteekwa okuwaayo obulamu bwaffe olw’abooluganda. 17 (G)Buli alina ebintu eby’omu nsi n’alaba muganda we nga yeetaaga, naye n’abulwako ky’amuwa, okwagala kwa Katonda, kuyinza kutya okuba mu ye?
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.