Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
EKITABO V
Zabbuli 107–150
107 (A)Mwebaze Mukama, kubanga mulungi;
okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
2 (B)Kale abanunule ba Mukama boogere bwe batyo;
abo be yanunula mu mikono gy’abalabe;
3 (C)abo be yakuŋŋaanya mu mawanga; okuva Ebugwanjuba n’Ebuvanjuba,
n’okuva obukiikakkono ne mu bukiikaddyo.
4 (D)Abamu baataataaganira mu malungu
nga babuliddwa ekkubo eribatwala ku kibuga gye banaabeeranga.
5 Baalumwa ennyonta n’enjala,
obulamu bwabwe ne butandika okusereba.
6 (E)Bwe batyo ne bakaabira Mukama nga bali mu kabi;
n’abawonya mu kweraliikirira kwabwe.
7 (F)Yabakulembera butereevu
n’abatuusa mu kibuga mwe baabeera.
8 Kale singa beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo,
n’olw’eby’ekitalo by’akolera abaana b’abantu!
9 (G)Kubanga abalina ennyonta abanywesa,
n’abayala abakkusa ebirungi.
43 (A)Abalina amagezi bonna, bagondere ebigambo bino
era bategeere okwagala kwa Mukama okutaggwaawo.
Okubonerezebwa kwa Isirayiri
9 (A)Tosanyuka ggwe Isirayiri;
tojaguza ng’amawanga amalala,
kubanga tobadde mwesigwa eri Katonda wo,
weegomba empeera eya malaaya
ku buli gguuliro.
2 (B)Egguuliro n’essogolero tebiribaliisa,
ne wayini omusu alibaggwaako.
3 (C)Tebalisigala mu nsi ya Mukama;
Efulayimu aliddayo e Misiri
n’alya emmere etali nnongoofu mu Bwasuli.
4 (D)Tebaliwaayo biweebwayo ebya wayini eri Mukama,
so ne ssaddaaka zaabwe tezirimusanyusa.
Ssaddaaka zaabwe ziriba ng’emmere ey’abakungubazi,
ne bonna abaliziryako balifuuka abatali balongoofu.
Emmere eyo eriba yaabwe bo,
so teriyingizibwa mu yeekaalu ya Mukama.
5 (E)Kiki ky’olikola ku lunaku olw’embaga ezaalondebwa,
ku lunaku olw’embaga ya Mukama?
6 (F)Ne bwe baliwona okuzikirira,
Misiri alibakuŋŋaanya,
ne Menfisi alibaziika.
Eby’obugagga byabwe ebya ffeeza birizika,
n’eweema zaabwe zirimeramu amaggwa.
7 (G)Ennaku ez’okubonerezebwa zijja,
ennaku ez’okusasulirwamu ziri kumpi.
Ekyo Isirayiri akimanye.
Olw’ebibi byammwe okuba ebingi ennyo,
n’obukambwe bwammwe obungi,
nnabbi ayitibwa musirusiru,
n’oyo eyabikkulirwa mumuyita mugu wa ddalu.
8 (H)Nnabbi awamu ne Katonda wange
ye mukuumi wa Efulayimu,[a]
newaakubadde nga waliwo emitego mu kkubo lye,
n’obukambwe mu nnyumba ya Katonda we.
9 (I)Boonoonye nnyo nnyini
nga mu nnaku ez’e Gibea.
Katonda alijjukira obutali butuukirivu bwabwe,
n’ababonereza olw’ebibi byabwe.
10 (J)We nasangira Isirayiri,
kyali nga kulaba zabbibu mu ddungu.
Bwe nalaba bajjajjammwe,
kyali nga kulaba ebibala ebisooka ku mutiini.
Naye bwe bajja e Baalipyoli,
beewonga eri ekifaananyi eky’ensonyi,
ne bafuuka ekyenyinnyalwa ng’ekifaananyi kye baayagala.
11 (K)Ekitiibwa kya Efulayimu kiribuuka ne kigenda ng’ekinyonyi
nga tewali kuzaala, newaakubadde okuba olubuto newaakubadde okufuna olubuto.
12 (L)Ne bwe balikuza abaana baabwe,
ndibabaggyako bonna.
Ziribasanga
bwe ndibavaako.
13 (M)Nalaba Efulayimu
ng’asimbiddwa mu kifo ekirungi, nga Ttuulo bw’ali.
Naye Efulayimu alifulumya
abaana be ne battibwa.
14 (N)Bawe Ayi Mukama Katonda.
Olibawa ki?
Leetera embuto zaabwe okuvaamu
obawe n’amabeere amakalu.
15 (O)Olw’ebibi byabwe byonna mu Girugaali,
kyennava mbakyayira eyo.
Olw’ebikolwa byabwe ebitali bya butuukirivu,
kyendiva mbagoba mu nnyumba yange.
Siribaagala nate;
abakulembeze baabwe bonna bajeemu.
16 (P)Efulayimu balwadde,
emirandira gyabwe gikaze,
tebakyabala bibala.
Ne bwe balizaala abaana baabwe,
nditta ezzadde lyabwe lye baagala ennyo.
17 (Q)Katonda wange alibavaako
kubanga tebamugondedde;
baliba momboze mu mawanga.
Obulamu obuggya mu Kristo
17 (A)Ng’omugoberezi wa Mukama waffe, mbalagira okulekeraawo okutambula ng’abatamanyi Katonda bwe batambulira mu birowoozo byabwe eby’obusirusiru. 18 (B)Amagezi gaabwe gajjudde ekizikiza. Tebalina mugabo mu by’obulamu bwa Katonda, kubanga bajjudde obutamanya era emitima gyabwe mikakanyavu. 19 (C)Tebakyalina nsonyi, beemalidde mu bya buwemu, na mululu gwa kukola bya bugwenyufu ebya buli ngeri.
20 Kyokka mmwe si bwe mwayigirizibwa ku bya Kristo. 21 Obanga ddala mwamuwulira, era ne muyigirizibwa mu ye ng’amazima bwe gali mu Yesu, 22 (D)kale mwambulemu obulamu obw’omuntu ow’edda, avunda olw’okwegomba okw’obulimba. 23 (E)Mufuuke baggya olw’Omwoyo afuga ebirowoozo byammwe, 24 (F)era mwambale omuntu omuggya, eyatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu butuukirivu ne mu kutukuzibwa okw’amazima.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.