Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 81:1

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Asafu.

81 (A)Mumuyimbire nnyo n’essanyu Katonda amaanyi gaffe;
    muyimuse waggulu amaloboozi gammwe eri Katonda wa Yakobo!

Zabbuli 81:10-16

10 (A)Nze Mukama Katonda wo,
    eyakuggya mu nsi y’e Misiri.
    Yasamya akamwa ko, nange nnaakajjuza.

11 (B)“Naye abantu bange tebampuliriza;
    Isirayiri teyaŋŋondera.
12 (C)Nange ne mbawaayo eri obujeemu bw’omutima gwabwe,
    okugoberera ebyo bye baagala.

13 (D)“Singa abantu bange bampuliriza;
    singa Isirayiri agondera ebiragiro byange,
14 (E)mangwago nandirwanyisizza abalabe baabwe,
    ne mbawangula.
15 Abo abakyawa Mukama ne beegonza gy’ali;
    ekibonerezo kyabwe kya mirembe gyonna.
16 (F)Naye ggwe, Isirayiri, nandikuliisizza eŋŋaano esingira ddala obulungi,
    ne nkukkusa omubisi gw’enjuki nga guva mu lwazi.”

Yeremiya 11:1-17

Yuda Amenye Endagaano

11 Kino kye kigambo kya Mukama ekyajjira Yeremiya. Wuliriza ebigambo by’endagaano eno era yogera n’abantu ba Yuda era n’abo ababeera mu Yerusaalemi. (A)Bagambe nti, “Bw’ati Mukama Katonda wa Isirayiri bw’ayogera nti, ‘Akolimiddwa omuntu atagondera bigambo by’endagaano eno (B)bye nalagira bakitammwe bwe nabaggya mu nsi y’e Misiri, okuva mu kikoomi ky’omuliro.’ Nabagamba nti, ‘Muŋŋondere era mukole ebintu byonna nga bwe mbalagira, munaabeeranga bantu bange, nange nnaabeeranga Katonda wammwe, (C)ndyoke ntuukirize ekirayiro kye nalayirira bajjajjammwe, okubawa ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, ensi gye mulimu leero.’ ” Awo ne nziramu nti, “Kibeere bwe kityo Mukama.”

(D)Mukama n’aŋŋamba nti, “Langirira ebigambo bino byonna mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo za Yerusaalemi. ‘Muwulire ebigambo by’endagaano era mubikole. (E)Okuva lwe naggya bajjajjammwe mu Misiri okutuusa leero, mbakuutidde emirundi mingi nga mbagamba nti, “Muŋŋondere.” (F)Naye tebampuliriza wadde okussaayo omwoyo, wabula buli muntu yeeyongera okutambulira mu bukakanyavu bw’omutima gwe omubi. Ne ndyoka mbaleetako ebikolimo byonna ebiri mu ndagaano gye nabalagira okukwata ne batagikwata.’ ”

(G)Ate Mukama n’aŋŋamba nti, “Waliwo olukwe mu basajja ba Yuda ne mu batuuze b’omu Yerusaalemi. 10 (H)Bazzeeyo mu butali butuukirivu bwa bajjajjaabwe abaagaana okugoberera ebigambo byange. Bagoberedde bakatonda abalala ne babaweereza. Ennyumba zombi eya Isirayiri n’eya Yuda zimenye endagaano gye nakola ne bajjajjaabwe. 11 (I)Noolwekyo, bw’atyo bw’ayogera Mukama nti, ‘Laba, ndibaleetako akabi ke batayinza kuwona; wadde banaankaabirira, sijja kubawuliriza. 12 (J)Ebibuga bya Yuda n’abantu ba Yerusaalemi bajja kugenda bakaabirire bakatonda baabwe be bootereza obubaane, naye tebaabayambe n’akamu nga bali mu nnaku. 13 (K)Mulina bakatonda abenkana ebibuga byammwe obungi, ggwe Yuda; n’ebyoto bye mukoze okwoterezaako obubaane eri Baali byenkana enguudo za Yerusaalemi obungi.’ 

14 (L)“Noolwekyo tosabira bantu bano, tobakaabiririra wadde okubegayiririra kubanga siribawulira mu biro lwe baligwako akabi.

15 “Omwagalwa akola ki mu yeekaalu yange ng’ate akoze eby’ekivve?
    Okuwaayo ssaddaaka kuyinza okukuggyako ekibonerezo ekijja?
    Okola ebibi n’olyoka ojaguza!”

16 (M)Mukama yakutuuma Omuzeyituuni ogubala ennyo,
    oguliko ebibala ebirungi.
Naye ajja kugukumako omuliro
    n’okuwuuma okw’omuyaga ogw’amaanyi,
    amatabi gaagwo gakutuke.

17 (N)Mukama Katonda ow’Eggye, eyakusimba akulangiriddeko akabi kubanga ennyumba ya Isirayiri n’ennyumba ya Yuda zikoze eby’ekivve ne zinkwasa obusungu bwe zooterezza Baali obubaane.

1 Peetero 3:8-12

Okubonyaabonyezebwa olw’Okukola Ebituufu

(A)Eky’enkomerero, mwenna mubenga n’emmeeme emu, buli omu alumirirwenga munne, era mwagalanenga ng’abooluganda ddala, mubenga ba kisa era beetoowaze. (B)Temuwooleranga ggwanga. Abavumye, mmwe temumuvumanga. Wabula mumusabirenga mukisa, kubanga ekyo kye mwayitirwa, mulyoke muweebwe omukisa. 10 Kubanga ekyawandiikibwa kigamba nti,

“Ayagala okufuna obulamu n’okubeera mu ddembe,
    aziyizenga olulimi lwe okwogera ekibi,
n’emimwa gye
    okwogera ebyobukuusa.
11 Era yeewalenga okukola ebibi, akolenga ebirungi.
    Anoonyenga emirembe era atambulirenga mu gyo.
12 (C)Kubanga abatuukirivu Mukama abatunuulira n’ekisa,
    n’amatu ge gawuliriza bye basaba.
Kyokka aboonoonyi abatunuuliza bukambwe.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.