Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
71 (A)Mu ggwe, Ayi Mukama, mwe neekweka,
tondeka kuswazibwa.
2 (B)Mu butuukirivu bwo ondokole, omponye;
ontegere okutu ondokole.
3 (C)Onfuukire olwazi obuddukiro bwange,
ekifo eky’amaanyi;
ondokole
kubanga oli lwazi lwange era ekiddukiro kyange.
4 (D)Ayi Katonda wange omponye mu mukono gw’ababi,
omponye abantu abatali batuukirivu era abakambwe.
Abeesigwa Bagambibwa Okudduka
6 (A)Mwekuŋŋaanye mudduke mmwe abantu ba Benyamini!
Mmudduke muve mu Yerusaalemi.
Fuuwa ekkondeere mu Tekowa,
era yimusa ebbendera mu Besukakkeremu:
kubanga akacwano kasinzidde mu bukiikakkono,
okuzikirira okw’entiisa.
2 Ndizikiriza omuwala wa Sayuuni,
omulungi oyo omubalagavu.
3 (B)Abasumba balimulumba n’ebisibo byabwe.
Balimwetoolooza weema zaabwe zimwolekere enjuuyi zonna,
buli omu yeezimbire w’ayagala.
4 (C)“Mwetegeke mumulwanyise!
Muyimuke, tumulumbe mu ttuntu!
Naye, nedda, omusana gugenda guggwaayo,
n’ebisiikirize by’akawungeezi biwanvuye!
5 Tugende, tulumbe kiro
tuzikirize amayumba ge.”
6 (D)Bw’ati Mukama Katonda ow’Eggye bw’agamba nti,
“Muteme emiti mukole entuumo
muzingize Yerusaalemi.
Ekibuga kino kiteekwa okubonerezebwa kyonna,
kubanga kijjudde bujoozi bwerere.
7 (E)Ng’oluzzi bwe lukulukusa amazzi, bwe kityo bwe kikulukusa ebibi byakyo,
entalo era n’okuzikirira biwulirwa munda waakyo.
Obulwadde n’ebiwundu
bye ndaba buli bbanga.
8 (F)Nkulabula,
ggwe Yerusaalemi,
emmeeme yange ereme okwawukana naawe,
si kulwa ng’ofuuka amatongo.”
9 Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,
“Balisusumbulira ddala n’abo abatono
abaliba basigaddewo mu Isirayiri.
Ddamu oyise omukono mu matabi
ng’omunozi we zabbibu bw’akola.”
10 (G)Ndyogera eri ani gwe ndirabula?
Ani alimpuliriza?
Amatu gaabwe gagaddwa
ne batasobola kuwulira.
Ekigambo kya Mukama kiri nga kyakusesa gye bali,
tebakisanyukira n’akamu.
11 (H)Kyenva nzijula ekiruyi
sikyasobola kukizibiikiriza.
“Kiyiwe ku baana abali mu luguudo,
ne ku bavubuka abakuŋŋaanye;
abaami awamu n’abakazi n’abakadde
abo abawezezza emyaka emingi baliwambibwa.
12 (I)Enju zaabwe
ziritwalibwa abalala,
n’ennimiro zaabwe awamu ne bakazi baabwe;
kubanga ndigolola omukono gwange ku abo abali mu nsi,”
bw’ayogera Mukama.
13 (J)“Kubanga okuva ku asembayo wansi okutuusa ku asingayo waggulu,
buli omu alulunkanira kufuna.
Nnabbi ne kabona bonna
boogera eby’obulimba.
14 (K)Ekiwundu ky’abantu bange
bakijjanjaba ng’ekitali ky’amaanyi.
Boogera nti, ‘Mirembe, mirembe.’
So nga tewali mirembe.
15 (L)Bakwatibwa ensonyi olw’ebikolwa byabwe eby’emizizo?
Nedda.
Tebakwatibwa nsonyi n’akatono.
Noolwekyo baligwira wamu n’abo abaligwa;
balisuulibwa wansi bwe ndibabonereza,”
bw’ayogera Mukama.
16 (M)Kino Mukama ky’agamba nti,
“Yimirira mu masaŋŋanzira otunule.
Buuza amakubo ag’edda, buuza ekkubo eddungi gye liri,
era otambulire omwo,
emmeeme yammwe erifuna ekiwummulo.
Naye ne mugamba nti, ‘Tetujja kulitambuliramu.’
17 (N)Nabateerawo abakuumi babategeeze nti,
Muwulirize eddoboozi ly’ekkondeere,
naye ne mugamba nti, ‘Tetujja kuwuliriza.’
18 Kale muwulire,
mmwe amawanga
era mulabe mmwe ab’ekkuŋŋaaniro ekyo ekiribatuukako.
19 (O)Wuliriza, ggwe ensi:
laba, ndeeta akabi ku bantu bano,
by’ebibala by’enkwe zaabwe,
kubanga tebafuddeeyo ku bigambo byange
n’etteeka lyange baligaanye.
3 (A)Kale mulowooze oyo eyagumiikiriza okuwakanyizibwa okw’abakozi b’ebibi bwe kutyo, mulemenga okukoowa mu mmeeme zammwe nga mutendewererwa ne mu mutima. 4 (B)Temunnalwanagana na kibi okutuusa ne kukuyiwa omusaayi! 5 Mwerabidde ebigambo ebizzaamu amaanyi byayogera nammwe ng’abaana be? Agamba nti,
“Mwana wange, tonyoomanga kukangavvulwa kwa Mukama,
so toggwangamu maanyi ng’akunenyezza.
6 (C)Kubanga Mukama gw’ayagala amukangavvula,
Era abonereza buli gw’ayita omwana we.”
7 (D)Noolwekyo mugumiikirize okukangavvulwa, kubanga Katonda abakangavvula ng’abaana be. Mwana ki kitaawe gw’atakangavvula? 8 (E)Naye singa temukangavvulwa, nga bwe kitugwanira ffenna, muba temuli baana be ddala.
9 (F)Kale, nga bwe mussaamu ekitiibwa bakitaffe ab’omubiri, newaakubadde nga batukangavvula, nga batuyigiriza, kitaawe w’emyoyo talisinga nnyo okutukangavvula ne tuba abalamu? 10 (G)Bakitaffe ab’omubiri baatugunjulira ennaku si nnyingi, naye ye atugunjula tugasibwe tulyoke tusobole okugabanira awamu naye mu butukuvu bwe.
11 (H)Okukangavvulwa kwonna mu biro ebya kaakano tekufaanana nga kwa ssanyu, kuba kwa bulumi, naye oluvannyuma kuleeta ebibala eby’emirembe eri abo abayigirizibwa, era ekivaamu bwe butuukirivu. 12 (I)Bwe mutyo munyweze emikono gyammwe egikooye n’amaviivi gammwe agajugumira, 13 (J)era ebigere byammwe mubikolere ekkubo eggolokofu, abo ababagoberera newaakubadde nga balema era banafu, baleme okuva mu kkubo eryo, wabula bawonyezebwe.
Okulabulwa obutagaana Katonda
14 (K)Mufubenga okuba n’emirembe n’abantu bonna, era mufubenga okuba abatukuvu, kubanga atali mutukuvu taliraba Mukama. 15 (L)Buli muntu afe ku munne waleme kubeerawo n’omu ava mu kisa kya Katonda, era mwekuume ensigo ey’obukyayi ereme okuloka mu mmwe, bangi ne bagwagwawala. 16 (M)Era mwegendereze waleme okubaawo omwenzi mu mmwe wadde atatya Katonda nga Esawu eyatunda ebyobusika bwe olw’olulya olumu. 17 (N)Oluvannyuma ne bwe yagezaako okusikira omukisa ogwo, teyasiimibwa, era teyafuna mukisa kwenenya newaakubadde nga yagunoonya n’amaziga mangi.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.