Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 107:1-9

EKITABO V

Zabbuli 107–150

107 (A)Mwebaze Mukama, kubanga mulungi;
    okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

(B)Kale abanunule ba Mukama boogere bwe batyo;
    abo be yanunula mu mikono gy’abalabe;
(C)abo be yakuŋŋaanya mu mawanga; okuva Ebugwanjuba n’Ebuvanjuba,
    n’okuva obukiikakkono ne mu bukiikaddyo.

(D)Abamu baataataaganira mu malungu
    nga babuliddwa ekkubo eribatwala ku kibuga gye banaabeeranga.
Baalumwa ennyonta n’enjala,
    obulamu bwabwe ne butandika okusereba.
(E)Bwe batyo ne bakaabira Mukama nga bali mu kabi;
    n’abawonya mu kweraliikirira kwabwe.
(F)Yabakulembera butereevu
    n’abatuusa mu kibuga mwe baabeera.
Kale singa beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo,
    n’olw’eby’ekitalo by’akolera abaana b’abantu!
(G)Kubanga abalina ennyonta abanywesa,
    n’abayala abakkusa ebirungi.

Zabbuli 107:43

43 (A)Abalina amagezi bonna, bagondere ebigambo bino
    era bategeere okwagala kwa Mukama okutaggwaawo.

Koseya 10

10 (A)Isirayiri yali muzabbibu ogwagaagadde,
    ogwabala ebibala byagwo.
Ebibala bye gye byeyongera obungi,
    naye gye yeeyongera okuzimba ebyoto;
n’ensi ye gye yeeyongera okuba engagga,
    gye yeeyongera okulungiya empagi ze.
(B)Omutima gwabwe mulimba,
    era ekiseera kituuse omusango gubasinge.
Mukama alimenya ebyoto byabwe,
    era alizikiriza empagi zaabwe.

Olwo balyogera nti, “Tetulina kabaka
    kubanga tetwatya Mukama.
Naye ne bwe twandibadde ne kabaka,
    yanditukoleddeyo ki?”
(C)Basuubiza bingi,
    ne balayirira obwereere
    nga bakola endagaano;
emisango kyegiva givaayo
    ng’omuddo ogw’obutwa mu nnimiro ennime.
(D)Abatuuze b’e Samaliya bali mu ntiisa
    olw’ennyana ensaanuuse ey’e Besaveni.
Abantu baayo baligikungubagira,
    ne bakabona baayo abaweereza bakatonda abalala,
abaasanyukanga olw’ekitiibwa kyayo baligikungubagira,
    kubanga ekitiibwa kyayo kigivuddeko.
(E)Erisutulibwa n’etwalibwa e Bwasuli
    n’eweebwa kabaka omukulu ng’ekirabo.
Efulayimu aliswazibwa
    ne Isirayiri alikwatibwa ensonyi olw’ekiteeso kye.
(F)Samaliya ne kabaka we balitwalibwa
    ng’ekibajjo eky’omuti ku mazzi n’azikirizibwa.
(G)Ebifo ebigulumivu eby’obutali butuukirivu birisaanyizibwawo,
    kye kibi kya Isirayiri.
Amaggwa n’amatovu galimera ku byoto byabwe,
    ne gabibikka.
Olwo ne bagamba ensozi nti, “Mutubuutikire,”
    n’obusozi nti, “Mutugweko.”

(H)Okuva mu nnaku za Gibea, wayonoona, ggwe Isirayiri
    era eyo gye wagugubira.
Entalo tezakwatira abakozi b’ebibi mu Gibea?
10 (I)Bwe ndiba nga njagadde, ndibabonereza;
    amawanga galikuŋŋaana okulwana nabo,
    ne basibibwa mu masanga olw’ebibi byabwe eby’emirundi ebiri.
11 Efulayimu nnyana ntendeke
    eyagala okuwuula;
kyendiva nteeka ekikoligo
    mu nsingo ye ennungi.
Ndigoba Efulayimu
    ne Yuda ateekwa okulima
    ne Yakobo ateekwa okukabala.
12 (J)Musige ensigo ez’obutuukirivu,
    mukungule ebibala eby’okwagala okutaggwaawo;
mukabale ettaka lyammwe eritali ddime,
    kubanga ekiseera kituuse okunoonya Mukama,
okutuusa lw’alidda
    n’abafukako obutuukirivu.
13 (K)Naye mwasimba obutali butuukirivu
    ne mukungula ebibi,
    era mulidde ebibala eby’obulimba.
Olw’okwesiga amaanyi go,
    n’abalwanyi bo abangi,
14 (L)olutalo kyeluliva lubawuumira mu matu,
    n’ebigo byammwe byonna ne bizikirizibwa,
nga Sulemaani bwe yazikiriza Beswaluberi ku lunaku olw’olutalo,
    abakyala ba nnakazadde lwe baggundwa ku ttaka n’abaana baabwe.
15 (M)Bwe kityo bwe kiribeera, ggwe Besweri
    kubanga ekibi kyo kinene nnyo.
Olunaku olwo bwe lulituuka,
    kabaka wa Isirayiri alizikiririzibwa ddala.

Makko 10:17-22

17 (A)Awo Yesu bwe yali ng’atambula, omusajja n’ajja gy’ali ng’adduka, n’amufukaamirira n’amubuuza nti, “Omuyigiriza omulungi, nsaanidde kukola ki okufuna obulamu obutaggwaawo?”

18 Yesu n’amuddamu nti, “Ompitira ki omulungi? Tewali mulungi n’omu wabula Katonda yekka. 19 (B)Amateeka gano ogamanyi. ‘Tottanga, toyendanga, tobbanga, towaayirizanga, kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.’ ” 20 N’amuddamu nti, “Omuyigiriza, ebyo byonna simenyangako na kimu okuva mu buvubuka bwange.”

21 (C)Yesu n’amutunuulira enkaliriza, n’amwagala. N’amugamba nti, “Waliwo ekintu kimu kyokka ekikubulako, era kye kino: genda otunde ebintu byonna by’olina, ensimbi z’onoggyamu ozigabire abaavu, oliba n’obugagga mu ggulu, olyoke ojje ongoberere.”

22 Bwe yawulira ebigambo ebyo n’anyiikaala, n’agenda ng’anakuwadde, kubanga yali mugagga nnyo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.