Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 58

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi.

58 (A)Ddala mwogera eby’amazima oba musirika busirisi?
    Abaana b’abantu mubasalira emisango mu bwenkanya?
(B)Nedda, mutegeka ebitali bya bwenkanya mu mitima gyammwe;
    era bye mukola bireeta obwegugungo mu nsi.

Abakola ebibi bakyama nga baakazaalibwa,
    bava mu lubuto nga balina ekibi, era bakula boogera bya bulimba.
(C)Balina obusagwa ng’obw’omusota;
    bali ng’enswera etawulira ezibikira amatu gaayo;
n’etawulira na luyimba lwa mukugu
    agisendasenda okugikwata.

(D)Ayi Katonda, menya amannyo gaabwe;
    owangulemu amannyo g’empologoma zino, Ayi Mukama.
(E)Leka babule ng’amazzi agakulukuta ne gagenda.
    Bwe banaanuula omutego, leka obusaale bwabwe bwe balasa bufufuggale.
(F)Babe ng’ekkovu erisaanuukira mu lugendo lwalyo.
    Babe ng’omwana azaaliddwa ng’afudde, ataliraba ku njuba!

(G)Nga n’entamu tennabuguma,
    alibayerawo n’obusungu obungi nga kibuyaga ow’amaanyi ennyo.
10 (H)Omutuukirivu alisanyuka ng’alabye bamuwalanidde eggwanga,
    olwo n’ebigere bye ne bisaabaana omusaayi ogw’abakola ebibi.
11 (I)Awo abantu bonna balyogera nti,
    “Ddala, abatuukirivu balwanirirwa.
    Ddala waliwo Katonda alamula mu bwenkanya ku nsi.”

Yeremiya 2:23-37

23 (A)Oyinza otya okugamba nti, “Sseeyonoonanga,
    sigobereranga ba Baali?”
Jjukira bwe weeyisa ng’oli mu kiwonvu;
    tegeera kye wakola.
Oli ng’eŋŋamira enkazi efuumuuka embiro
    ngeraga eno n’eri,
24 (B)ng’endogoyi ey’omu nsiko
    eddukira mu ddungu mw’emanyidde,
ng’ewunyiriza mu bbanga eno n’eri mu kwaka kwayo,
    mu kiseera ekyo ani ayinza okugiziyiza?
Ensajja zonna ezigyetaaga tezeetaaga kwekooya;
    mu biseera by’okulabaganiramu za kugifuna.
25 (C)Tokooya bigere byo,
    era tokaza mimiro gyo.
Naye n’oddamu nti, “Ebyo bya bwereere,
    sisobola kukyuka, nayagala bakatonda abalala,
    nteekwa okubanoonya.”

26 (D)Ng’omubbi bw’aswala ng’akwatiddwa,
    n’ennyumba ya Isirayiri bw’eswala bw’etyo,
bakabaka baayo, n’abalangira baayo, ne bakabona baayo,
    era ne bannabbi baayo,
27 (E)nga bagamba emiti nti, “Ggwe kitange,”
    era n’ejjinja nti, “Ggwe wanzaala.”
Bankubye amabega,
    naye bwe balaba ennaku bankaabirira nti, “Yimuka ojje otulokole.”
28 (F)Kale bakatonda be weekolera baluwa?
    Leka bajje, bwe baba basobola okukulokola mu biseera eby’emitawaana.
Kubanga obungi bwa bakatonda bammwe
    bwenkanankana n’ebibuga byo ggwe Yuda.

Okubonerezebwa kutuuse

29 (G)“Lwaki munneemulugunyiza?
    Mwenna mwanneeddiimira,”
    bw’ayogera Mukama.
30 (H)Abaana bammwe nababonereza naye nga bwerere,
    tebakkiriza kugololwa.
Mmwe bennyini ne mwettira bannabbi bammwe
    ng’empologoma bw’etta.

31 (I)Mmwe ab’omulembe guno muwulirize ekigambo kya Katonda.

Mbadde nga ddungu gye muli
    ng’ensi ejjudde ekizikiza eky’amaanyi?
Kale lwaki abantu bange bagamba nti,
    “Tulina eddembe, tetukyadda gy’oli?”
32 Omuwala omuto ayinza okwerabira ebikomo,
    oba omugole okwerabira ekyambalo kye?
Naye ng’ate abantu bange
    Bannerabidde!
33 Ng’omanyi nnyo okukuba amakubo ag’okunoonya abanaakwagala!
    N’asembayo okuba omukugu mu bamalaaya aba alina kuyigira ku ggwe.
34 (J)Engoye zo zijjudde omusaayi gw’abaavu
    n’abatalina musango,
awatali kugamba nti
    bakwatibwa nga babba.
Ate nga wadde byonna biri bwe bityo
35     (K)ogamba nti, “Sirina musango,
    ddala takyanninako busungu!”
Laba, ŋŋenda kukusalira omusango
    olw’okugamba nti, “Sirina kibi kye nkoze.”
36 (L)Lwaki ogenda ng’okyusakyusa
    amakubo go!
Misiri ejja kukuswaza
    nga Bwasuli bwe yakuswaza.
37 (M)Era n’eyo olivaayo
    ng’emikono ogyetisse ku mutwe,
kubanga Mukama agaanye abo be weesiga;
    tagenda kukuyamba.

Abaebbulaniya 13:7-21

(A)Mujjukirenga abakulembeze bammwe abaababuulira ekigambo kya Katonda, nga mutunuulira empisa zaabwe nga mugobereranga okukkiriza. (B)Yesu Kristo nga bwe yali jjo, ne leero bw’ali era bw’aliba emirembe n’emirembe. (C)Temusendebwasendebwanga kuyigiriza okw’engeri ennyingi ezitamanyiddwa. Kubanga kirungi omutima okunywezebwa ekisa, so si mu byokulya ebitagasa abo ababirya. 10 (D)Tulina ekyoto, abaweereza mu weema ey’Okukuŋŋaanirangamu kye batalina buyinza kuliirangako.

11 (E)Kabona Asinga Obukulu yatwalanga omusaayi gw’ebisolo, olw’ebibi, mu kifo ekitukuvu era n’ennyama yaabyo n’eyokerwa ebweru w’olusiisira. 12 (F)Noolwekyo ne Yesu kyeyava abonaabonera era n’afiira ebweru w’ekibuga alyoke atutukuze n’omusaayi gwe ye. 13 (G)Kale naffe tufulume tulage gy’ali ebweru w’olusiisira nga twetisse ekivume kye. 14 (H)Kubanga wano ku nsi tetulinaawo kibuga kya lubeerera, wabula tulindirira ekyo ekijja.

15 (I)Kale mu Yesu tuweerayo bulijjo ssaddaaka ey’okutendereza Katonda, kye kirabo eky’emimwa, nga twatula erinnya lye. 16 (J)Temwerabiranga kukola bulungi n’okugabananga; kubanga ssaddaaka eziri ng’ezo Katonda zimusanyusa. 17 (K)Muwulirenga abakulembeze bammwe era mubagonderenga, kubanga obuweereza bwabwe kwe kulabirira emyoyo gyammwe, balyoke bakikole n’essanyu nga tebeemulugunya. Kubanga bwe babeemulugunyiza tekibagasa mmwe.

18 (L)Mutusabirenga, kubanga tumanyidde ddala nga tulina omwoyo mulungi, era twagala okukolanga obulungi mu buli kimu. 19 (M)Era okusinga ennyo mbeegayirira munsabire ndyoke nkomewo mangu gye muli.

20 (N)Kale, Katonda ow’emirembe eyazuukiza Mukama waffe Yesu, Omusumba w’endiga omukulu ow’endagaano etaggwaawo gye yanyweza n’omusaayi gwe, 21 (O)abawe buli kirungi kyonna kye mwetaaga okubasobozesa okukola by’ayagala, era atukozese ebisiimibwa mu maaso ge ng’ayita mu Yesu Kristo. Aweebwenga ekitiibwa emirembe n’emirembe. Amiina.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.