Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 14

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

14 (A)Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti,
    “Tewali Katonda.”
Aboogera bwe batyo boonoonefu,
    bakola ebitasaana tekuli n’omu ku bo akola kirungi.

(B)Mukama atunuulira abantu bonna mu nsi
    ng’asinziira mu ggulu,
okulaba obanga mulimu mu bo ategeera,
    era abanoonya Katonda.
(C)Naye bonna bakyamye
    boonoonese;
teri akola kirungi,
    era teri n’omu.

(D)Abo bonna abakola ebibi tebaliyiga?
    Kubanga basaanyaawo abantu bange ng’abalya emmere;
    so tebakoowoola Mukama.
Balitya nnyo!
    Kubanga Katonda abeera wamu n’abatuukirivu.
(E)Mulemesa entegeka z’omwavu,
    songa Mukama kye kiddukiro kye.

(F)Singa obulokozi bwa Isirayiri butuuse mu kiseera kino nga buva mu Sayuuni!
    Mukama bw’alirokola abantu be,
    Yakobo alijaguza ne Isirayiri alisanyuka.

Yeremiya 4:13-21

13 (A)Laba ajja ng’ebire,
    amagaali ge ng’empewo y’akazimu,
embalaasi ze zidduka okusinga empungu;
    zitusanze ffe kubanga tuzikiridde!
14 (B)Ayi Yerusaalemi, naaza omutima gwo guve mu kukola ebibi olyoke olokolebwe.
    Olikomya ddi ebirowoozo ebibi?
15 (C)Eddoboozi lyawulirwa okuva mu Ddaani,
    nga lirangirira okuzikirizibwa okuva mu nsozi za Efulayimu.
16 (D)“Labula amawanga nti ajja:
    kirangirirwe mu Yerusaalemi nti,
‘Abalabe bajja okuva mu nsi ey’ewala nga bayimba ennyimba ez’entalo
    nga balumba ebibuga bya Yuda.
17 (E)Bakyetoolodde ng’abasajja abakuuma ennimiro
    kubanga Yuda yanjeemera,’ ”
    bw’ayogera Mukama.
18 (F)“Empisa zammwe,
    n’ebikolwa byammwe bye bibaleeseeko bino.
Kino kye kibonerezo kyammwe.
    Nga kya bulumi!
    Nga kifumita omutima.”

19 (G)Obulumi, Ayi Obulumi!
    Neenyoolera mu bulumi!
Ayi obulumi bw’omutima gwange!
    Omutima gunkubagana munda, sisobola kusirika,
kubanga mpulidde eddoboozi ly’ekkondeere,
    mpulidde enduulu z’olutalo.
20 (H)Okuzikirizibwa kweyongeddeko
    era ensi yonna eyonooneddwa.
Eweema zange zisaanyiziddwawo mu kaseera buseera,
    n’entimbe zange nga kutemya kikowe.
21 Ndituusa ddi nga ndaba bbendera z’olutalo
    n’okuwulira amaloboozi g’amakondeere?

Yeremiya 4:29-31

29 (A)Olw’okuyoogona kw’abeebagazi b’embalaasi n’abalasa obusaale,
    ebibuga byonna biribuna emiwabo,
abamu beesogge ebisaka;
    n’abalala balinnye waggulu ku njazi.
Ebibuga byonna birekeddwa ttayo;
    tewali abibeeramu.

30 (B)Okola ki ggwe,
    ggwe eyayonoonebwa?
    Lwaki oyambala engoye entwakaavu,
ne weeteekako eby’obugagga ebya zaabu,
    n’amaaso n’ogasiiga langi?
Omala biseera nga weeyonja.
    Baganzi bo bakunyoomoola; era baagala kukutta.

31 (C)Mpulira okukaaba ng’okw’omukazi alumwa okuzaala,
    okusinda ng’okw’oyo asindika omwana we asooka,
okukaaba kw’omuwala wa Sayuuni ng’awejjawejja anoonya w’anassiza omukka,
    ng’agolola emikono gye ng’agamba nti,
“Zinsanze nze, nzirika.
    Obulamu bwange buweereddwayo mu batemu.”

Yokaana 10:11-21

11 (A)“Nze musumba omulungi. Omusumba omulungi awaayo obulamu bwe olw’endiga. 12 (B)Omupakasi, atali musumba, endiga nga si zize, bw’alaba omusege nga gujja adduka n’aleka awo endiga, omusege ne guzirumba ne guzisaasaanya. 13 Akola atyo kubanga mupakasi, so n’endiga tazifaako.

14 (C)“Nze ndi musumba mulungi, n’endiga zange nzimanyi era nazo zimmanyi. 15 (D)Nga Kitange bw’ammanyi, era nga nange bwe mmumanyi, bwe ntyo bwe mpaayo obulamu bwange olw’endiga. 16 (E)Nnina n’endiga endala ezitali za mu kisibo kino, nazo kiŋŋwanidde okuzireeta, era nazo ziriwulira eddoboozi lyange, endiga zonna ne ziba ekisibo kimu era ne ziba n’omusumba omu. 17 (F)Kitange kyava anjagala, kubanga mpaayo obulamu bwange ndyoke mbweddize. 18 (G)Tewali n’omu abunzigyako, wabula mbuwaayo lwa kwagala kwange. Nnina obuyinza okubuwaayo, era nnina obuyinza okubweddizza. Ekyo Kitange ye yakindagira.”

19 (H)Yesu bwe yayogera bw’atyo, empaka mu Bayudaaya, ne zisituka buto. 20 (I)Bangi ku bo ne bagamba nti, “Aliko dayimooni oba si kyo alaluse. Lwaki mumuwuliriza?”

21 (J)Abalala ne bagamba nti, “Ebigambo bino si bya muntu aliko dayimooni. Dayimooni asobola okuzibula amaaso ga bamuzibe?”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.