Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 94

94 (A)Ayi Mukama, ggwe Katonda awalana eggwanga,
    ggwe Katonda awalana eggwanga, labika omasemase.
(B)Golokoka, Ayi ggwe Omulamuzi w’ensi,
    osasule ab’amalala nga bwe kibagwanidde.
Ayi Mukama, omukozi w’ebibi alikomya ddi?
    Omukozi w’ebibi alituusa ddi ng’asanyuka?

(C)Bafukumula ebigambo eby’okwewaanawaana;
    abakola ebibi bonna beepankapanka.
(D)Babetenta abantu bo, Ayi Mukama,
    babonyaabonya ezzadde lyo.
Batta nnamwandu n’omutambuze;
    ne batemula ataliiko kitaawe.
(E)Ne boogera nti, “Katonda talaba;
    Katonda wa Yakobo tafaayo.”

(F)Mwerinde mmwe abantu abatategeera.
    Mmwe abasirusiru muligeziwala ddi?
(G)Oyo eyatonda okutu tawulira?
    Oyo eyakola eriiso talaba?
10 (H)Oyo akangavvula amawanga, taakubonereze?
    Oyo ayigiriza abantu talina ky’amanyi?
11 (I)Mukama amanyi ebirowoozo by’abantu;
    amanyi nga mukka bukka.

12 (J)Ayi Mukama, alina omukisa oyo gw’ogunjula,
    gw’oyigiriza eby’omu mateeka go;
13 (K)omuwummuzaako mu kabi kaalimu,
    okutuusa abakola ebibi lwe balisimirwa ekinnya.
14 (L)Kubanga Mukama talireka bantu be;
    talyabulira zzadde lye.
15 (M)Aliramula mu butuukirivu,
    n’abo abalina emitima emigolokofu bwe banaakolanga.

16 (N)Ani alinnwanyisizaako abakola ebibi?
    Ani alinnwanirira eri abakola ebibi?
17 (O)Singa Mukama teyali mubeezi wange,
    omwoyo gwange gwandiserengese emagombe.
18 (P)Bwe naleekaana nti, “Nseerera!”
    Okwagala kwo okutaggwaawo, Ayi Mukama, ne kumpanirira.
19 Ebyeraliikiriza omutima gwange bwe byayitirira obungi,
    okusaasira kwo ne kuzzaamu omwoyo gwange amaanyi.

20 (Q)Oyinza okukolagana n’obufuzi obukyamu,
    obukaabya abantu n’amateeka gaabwe?
21 (R)Abakola ebibi beegatta ne balumbagana abatuukirivu;
    atasobezza ne bamusalira ogw’okufa.
22 (S)Naye Mukama afuuse ekiddukiro kyange eky’amaanyi;
    ye Katonda wange, era Olwazi lwange mwe neekweka.
23 (T)Mukama alibabonereza olw’ebibi byabwe,
    n’abazikiriza olw’ebyonoono byabwe;
    Mukama Katonda waffe alibamalirawo ddala.

Yeremiya 5:1-17

Tewali n’Omu mugolokofu

(A)“Dduka ogende eno n’eri mu nguudo za Yerusaalemi,
    tunulatunula olabe,
    noonya wonna we bakuŋŋaanira,
bw’onoosanga omuntu omu bw’ati
    omwesimbu ow’amazima,
    nnaasonyiwa ekibuga kino.
(B)Ne bwe boogera nti, ‘Nga Mukama bwali omulamu;’
    baba balayirira bwereere.”

(C)Ayi Mukama Katonda, amaaso go teganoonya mazima?
    Wabakuba naye ne batawulira bulumi wababetenta,
    naye ne bagaana okukangavvulwa.
Beeyongedde kukakanyala, bagubye obwenyi okusinga n’amayinja;
    era bagaanyi okwenenya.
(D)Ne njogera nti,
    “Bano baavu abasirusiru.
Kubanga tebamanyi kkubo lya Mukama,
    amateeka ga Katonda waabwe.
(E)Kale ndigenda eri abakulembeze
    njogere nabo;
Kubanga bamanyi ekkubo lya Mukama,
    amateeka ga Katonda waabwe.”
Naye nabo bwe batyo baali baamenya dda ekikoligo
    nga baakutula ebisiba.
(F)Noolwekyo empologoma eriva mu kibira n’ebalya,
    n’omusege ogw’omu ddungu gulibasaanyaawo.
Engo erikuumira okumpi n’ebibuga byabwe,
    buli muntu abifuluma ayuzibweyuzibwe;
Kubanga ebibi byabwe bingi,
    okudda ennyuma kunene.

(G)“Mbasonyiwe ntya?
    Abaana bammwe banvuddeko,
    ne balayiririra bakatonda abatali bakatonda.
Bwe nabaliisa ne bakkuta, badda mu kwenda,
    ne beekuŋŋaanya ku nnyumba z’abenzi.
(H)Baali ng’embalaasi ennume ezikkuse ezitaamye,
    buli muntu ng’akaayanira muka munne.
(I)Lwaki sibabonereza olw’ebintu ebyo?
    bw’ayogera Mukama,
Lwaki siwoolera ggwanga ku nsi
    efaanana bw’etyo?”

Ekiragiro ky’Okulumba Yuda

10 (J)“Yita mu nnimiro z’emizabbibu gyabwe ogyonooneyonoone,
    naye togimalirawo ddala.
Giggyeeko amatabi gaagyo,
    kubanga si bantu ba Mukama.
11 (K)Kubanga ennyumba ya Isirayiri n’ennyumba ya Yuda
    zifuukidde ddala njeemu gye ndi,”
    bw’ayogera Mukama.

12 (L)Boogedde eby’obulimba ku Mukama ne bagamba nti,
    “Talina kyajja kukola,
tewali kabi kanaatugwako,
    era tetujja kulaba wadde kitala oba kyeya.
13 (M)Bannabbi mpewo buwewo
    era ekigambo tekibaliimu;
    noolwekyo leka kye boogera kikolebwe ku bo.”

14 (N)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda ow’Eggye nti,

“Kubanga abantu boogedde ebigambo bino,
    ndifuula ekigambo kyange mu kamwa kammwe okuba ng’omuliro,
    n’abantu bano okuba enku era omuliro gubookye.
15 (O)Laba, mbaleetera eggwanga eriva ewala,
    ggwe ennyumba ya Isirayiri,” bw’ayogera Mukama.
Ensi eyaguma ey’edda,
    abantu ab’olulimi lwe mutamanyi
    aboogera bye mutategeera
16 omufuko gwabwe ogw’obusaale guli ng’entaana eyasaamiridde,
    bonna balwanyi nnamige.
17 (P)Balirya amakungula gammwe n’emmere yammwe;
    balirya batabani bammwe era ne bawala bammwe;
balye emizabbibu n’emitiini gyammwe,
    ebibuga byammwe ebiriko bbugwe bye mwesiga birizikirizibwa n’ebitala.

1 Timoseewo 1:18-20

18 (A)Mwana wange Timoseewo, nkukubiriza ojjukire ebigambo bya bannabbi bye baakwogerako edda, olyoke olwane olutalo n’obuzira, 19 (B)ng’okukkiriza, n’omwoyo omulungi, bye byokulwanyisa byo. Kubanga abalala abagaana okuba n’omwoyo ogwo omulungi bafiirwa okukkiriza kwabwe. 20 (C)Mu abo mwe muli Kumenayo ne Alegezanda be n’awaayo eri Setaani bayige obutavumanga Katonda.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.