Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
40 (A)Mukama kyeyava asunguwalira abantu be,
n’akyawa ezzadde lye.
41 (B)N’abawaayo eri amawanga amalala,
abalabe ne babafuga.
42 Abalabe baabwe ne babanyigiriza,
ne babatuntuza nnyo ddala.
43 (C)Yabawonyanga abalabe baabwe emirundi mingi,
naye obujeemu ne bubalemeramu,
ebibi byabwe ne bigenda nga bibasaanyaawo.
44 (D)Naye bwe yawulira okukaaba kwabwe,
n’abakwatirwa ekisa;
45 (E)ku lwabwe, n’ajjukira endagaano ye;
okwagala kwe okungi ne kumuleetera okukyusa ekirowoozo kye.
46 (F)N’abaleetera okusaasirwa
abo abaabawambanga.
47 (G)Ayi Mukama Katonda,
otulokole, otukuŋŋaanye, otuggye mu mawanga,
tulyoke twebazenga erinnya lyo ettukuvu,
era tusanyukenga nga tukutendereza.
48 (H)Mukama atenderezebwenga, Katonda wa Isirayiri,
emirembe n’emirembe.
Abantu bonna ka boogere nti, “Amiina!”
Mumutendereze Mukama.
12 (A)Mugezigezi ki anaayinza okutegeera kino? Ani oyo Mukama gw’abuulidde alyoke akinnyonnyole? Lwaki ensi eyonoonese ng’eddungu ne wataba agiyitamu?
13 (B)Mukama n’agamba nti, “Kubanga balese amateeka gange, ge nabateekerawo. Tebaŋŋondedde wadde okugoberera amateeka gange. 14 (C)Naye, bagoberedde obukakanyavu bw’emitima gyabwe ne basinza ebifaananyi bya Babaali nga bajjajjaabwe bwe baabayigiriza.” 15 (D)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Laba ndiriisa abantu bano emmere ekaawa ne mbanyweesa n’amazzi ag’obutwa. 16 (E)Ndibasaasaanya mu mawanga bakitaabwe ge bataamanya; era ndibasindiikiriza n’ekitala, okutuusa nga mbazikirizza.”
17 (F)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,
“Mulowooze kaakano, muyite abakazi abakungubazi, bajje;
era mutumye abasingayo obumanyirivu.
18 (G)Leka bajje mangu
batukaabireko
okutuusa amaaso gaffe lwe ganaakulukuta amaziga,
n’obukoowekoowe bwaffe ne butiiriika amazzi.
19 (H)Kubanga amaloboozi ag’okukungubaga gawuliddwa mu Sayuuni;
‘Nga tunyagiddwa!
Nga tuswadde nnyo!
Tuteekwa okuva mu nsi yaffe
kubanga amayumba gaffe gazikiriziddwa.’ ”
20 (I)Kaakano mmwe abakazi, muwulirize ekigambo kya Katonda,
era mutege okutu kwammwe kuwulire ekigambo ky’akamwa ke.
Muyigirize bawala bammwe okukaaba,
era buli muntu ayigirize munne okukungubaga.
21 (J)Kubanga okufa kutuyingiridde mu madirisa,
kuyingidde mu mbiri zaffe,
okugoba abaana okubaggya ku nguudo,
n’abavubuka okubaggya mu bifo ebisanyukirwamu.
22 (K)“Yogera,” bw’atyo bw’ayogera Mukama nti,
“ ‘Emirambo gy’abasajja abafudde
gijja kugwa ng’obusa ku ttale
ng’ebinywa by’eŋŋaano ensale bwe bigwa
emabega w’omukunguzi nga tebiriiko alonda.’ ”
23 (L)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Omusajja omugezi aleme kwenyumiririza mu magezi ge,
oba omusajja ow’amaanyi okwenyumiririza mu maanyi ge
oba omugagga mu bugagga bwe.
24 (M)Naye leka oyo eyeenyumiriza yeenyumirizenga mu kino:
nti antegeera era ammanyi,
nti nze Mukama akola ebyekisa
n’eby’ensonga n’eby’obutuukirivu mu nsi,
kubanga mu byo mwe nsanyukira,”
bw’ayogera Mukama.
25 (N)“Ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama, “lwe ndibonereza abo bonna abakomole obukomozi mu mubiri: 26 (O)Misiri, ne Yuda, ne Edomu, n’abaana ba Amoni, ne Mowaabu, era n’abo bonna ababeera mu ddungu mu bifo eby’ewala. Kubanga amawanga gano gonna ddala si makomole, ate era n’ennyumba ya Isirayiri yonna si nkomole mu mutima.”
Peetero ne Yokaana mu Lukiiko lw’Abayudaaya Olukulu
4 (A)Awo Peetero ne Yokaana baali bakyayogera eri abantu, bakabona, n’omukulu w’abakuumi ba Yeekaalu n’Abasaddukaayo ne bajja gye bali, 2 (B)nga basunguwadde nnyo okuwulira nga Peetero ne Yokaana bayigiriza abantu, ku bwa Yesu, okuzuukira mu bafu. 3 (C)Ne bakwata Peetero ne Yokaana, naye olwokubanga obudde bwali buyise ne babaggalira mu kkomera okutuusa enkeera. 4 (D)Kyokka abantu bangi ku abo abaali bawuliriza abatume ne bakkiriza, era omuwendo gw’abasajja bokka abakkiriza ne guba ng’enkumi ttaano!
5 (E)Enkeera, abafuzi n’abakulembeze b’Abayudaaya, n’abannyonnyozi b’amateeka ne bakuŋŋaanira mu Yerusaalemi. 6 (F)Baali ne Ana Kabona Asinga Obukulu, ne Kayaafa, ne Yokaana, ne Alegezanda n’abalala bangi abaalina oluganda ne Kabona Asinga Obukulu. 7 Awo abatume bombi ne baleetebwa ne basimbibwa mu maaso g’Olukiiko. Ne bababuuza nti, “Buyinza ki oba linnya ly’ani kwe musinzidde okukola kino?”
8 (G)Awo Peetero bwe yajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu n’agamba nti, “Abafuzi, n’abakulembeze b’abantu, 9 (H)obanga tubuuzibwa nsonga ey’omusajja eyawonyezeddwa, 10 (I)mutegeere mmwe mwenna n’abantu bonna mu Isirayiri, omusajja ono ayimiridde mu maaso gammwe mu linnya lya Yesu Kristo Omunnazaaleesi, gwe mwakomerera naye Katonda n’amuzuukiza, era kaakano mulamu.
11 (J)“ ‘Oyo ly’Ejjinja abazimbi lye baagaana,
lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.’
12 (K)Tewali mu mulala yenna bulokozi, era tewali linnya ddala na limu mu mannya gonna agaaweebwa abantu, wansi w’eggulu, mwetugwanira okulokolebwa.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.