Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 91:1-6

Obwesige bw’oyo atya Katonda.

91 (A)Oyo abeera mu kifo eky’ekyama eky’oyo Ali Waggulu Ennyo;
    aliwumulira mu kisiikirize kya Katonda Ayinzabyonna.
(B)Nnaayogeranga ku Mukama nti, Oli kiddukiro kyange era ekigo kyange;
    ggwe Katonda wange gwe nneesiga.

(C)Ddala ddala y’anaakuwonyanga omutego gw’omuyizzi,
    ne kawumpuli azikiriza.
(D)Alikubikka n’ebyoya bye,
    era mu biwaawaatiro bye mw’onoddukiranga;
    obwesigwa bwe bunaabanga ngabo yo okukukuumanga.
(E)Tootyenga ntiisa ya kiro,
    wadde akasaale akalasibwa emisana;
newaakubadde olumbe olusoobasooba mu kizikiza,
    wadde kawumpuli azikiriza mu ttuntu.

Zabbuli 91:14-16

14 “Olw’okuba nga njagala kyendiva muwonya;
    nnaamukuumanga, kubanga amanyi erinnya lyange.
15 (A)Anankowoolanga ne muyitabanga;
    nnaabeeranga naye mu biseera eby’akabi.
    Ndimuwonya era ndimuwa ekitiibwa.
16 (B)Ndimuwangaaza n’asanyuka
    era ndimulaga obulokozi bwange.”

Yeremiya 23:23-32

23 (A)“Ndi Katonda abeera okumpi wokka,
    so si abeera ewala?”
    bw’ayogera Mukama.
24 (B)“Omuntu ayinza okwekweka mu bifo eby’ekyama
    ne sisobola kumulaba?”
    bw’ayogera Mukama.
    “Sijjuza eggulu n’ensi?”
    bw’ayogera Mukama.

25 (C)“Mpulidde bannabbi aboogera eby’obulimba mu linnya lyange. Bagamba nti, ‘Naloose! Naloose!’ 26 (D)Kino kinaakoma ddi mu mitima gy’abo bannabbi b’obulimba, abategeeza eby’obulimba ebiva ku mitima gyabwe? 27 (E)Balowooza nti ebirooto bye balootolola bannaabwe bijja kuleetera abantu bange okwerabira erinnya lyange, nga bakitaabwe bwe beerabira erinnya lyange nga basinza Baali. 28 Nnabbi alina ekirooto ayogere ekirooto kye, n’oyo alina ekigambo kyange akyogere mu bwesigwa. Kubanga ebisusunku birina nkolagana ki n’eŋŋaano?” bw’ayogera Mukama. 29 (F)“Ekigambo kyange tekiri nga muliro, ng’ennyondo eyasaayasa olwazi?” bw’ayogera Mukama.

30 (G)“Noolwekyo, ndi mulabe wa bannabbi ababbiŋŋanako ebigambo ebiva gye ndi,” bw’ayogera Mukama. 31 (H)“Weewaawo,” bw’ayogera Mukama, “saagalira ddala bannabbi abayogerayogera nga bagamba nti, ‘Bw’atyo Mukama bw’agamba.’ 32 (I)Ddala ddala ndi mulabe w’abo abawa obunnabbi bw’ebirooto ebikyamu. Babyogera ne babuza abantu bange n’obulimba bwabwe obutaliimu, ate nga saabatuma wadde okubateekawo. Tebalina kye bayamba bantu bano n’akatono,” bw’ayogera Mukama.

Abaefeso 2:1-10

Okuggyibwa mu kufa n’okufuulibwa abalamu

(A)Edda mwali mufiiridde mu byonoono byammwe ne mu bibi byammwe. (B)Ebyo bye mwatambulirangamu ng’emirembe egy’ensi bwe giri, nga mufugibwa omwoyo ogw’omukulu w’obuyinza obw’omu bbanga, omwoyo ogwa Setaani, ogufuga abajeemu bonna. (C)Edda naffe twatambuliranga mu kwegomba kw’emibiri gyaffe, nga tukola ebyo ebyegombebwanga omubiri n’ebirowoozo. Era okufaanana ng’abantu abalala bonna, naffe mu buzaaliranwa twali baakubonerezebwa ng’abalala bonna. Kyokka olw’okwagala kwe okungi, n’ekisa kye ekingi, (D)ne bwe twali nga tufiiridde mu bibi byaffe, yatufuula abalamu awamu ne Kristo. Mwalokolebwa lwa kisa. (E)Katonda yatuzuukiriza wamu ne Kristo okuva mu kufa ne tufuna obulamu, era atutuuzizza mu bifo eby’omu ggulu, okumpi ne Kristo Yesu. (F)Ekyo Katonda yakikola alyoke alage, mu mirembe egigenda okujja, ekisa kye ekingi kye yatukwatirwa mu Kristo Yesu. (G)Mwalokolebwa lwa kisa olw’okukkiriza. Tekwava mu mmwe, wabula kirabo kya Katonda. (H)Tekwatuweebwa lwa bikolwa byaffe; noolwekyo omuntu yenna aleme okwenyumirizanga. 10 (I)Tuli mulimu gwa Katonda, abaatondebwa mu Kristo Yesu, okukolanga ebikolwa ebirungi, nga Katonda bwe yatuteekerateekera.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.