Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
139 (A)Ayi Mukama, okebedde omutima gwange,
n’otegeera byonna ebiri munda yange.
2 (B)Bwe ntuula omanya, ne bwe ngolokoka omanya;
era otegeera byonna bye ndowooza, ne bwe mbeera ewala ennyo.
3 (C)Otegeera okutambula kwange kwonna n’okuwummula kwange.
Omanyi amakubo gange gonna.
4 (D)Ekigambo kye nnaayogera, Ayi Mukama,
okimanya nga sinnaba na kukyogera.
5 (E)Ondi mu maaso n’emabega,
era ontaddeko omukono gwo.
6 (F)Okumanya okw’engeri eyo kunsukkiridde,
era nkwewuunya nnyo, kunnema okutegeera.
13 (A)Ggwe watonda byonna ebiri munda mu nze;
ggwe wammumbira mu lubuto lwa mmange.
14 (B)Nkutendereza, kubanga wankola mu ngeri ey’entiisa era ey’ekitalo;
emirimu gyo gya kyewuunyo;
era ekyo nkimanyidde ddala bulungi.
15 (C)Wammanya nga ntondebwa,
bwe nakolerwa mu kyama;
bwe natondebwa mu buziba bw’ensi n’amagezi go amangi.
16 Wandaba nga si natondebwa.
Ennaku zange zonna ze wanteekerateekera
zawandiikibwa mu kitabo kyo.
17 (D)By’ondowooleza nga bya muwendo munene, Ayi Katonda!
Omuwendo gwabyo munene!
18 Singa ngezaako okubibala
bisinga omusenyu obungi.
Ne bwe ngolokoka mu makya
oba okyandowoozaako.
14 (A)“Naye ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama. “Abantu lwe bataliddayo kwogera nti, ‘Ddala nga Katonda bw’ali omulamu eyaggya Isirayiri mu nsi y’e Misiri,’ 15 (B)naye baligamba nti, ‘Ddala nga Mukama bw’ali omulamu eyaggya Abayisirayiri mu nsi ey’omu bukiikakkono era n’okuva mu nsi zonna gye yali abasudde.’ Kubanga ndibakomyawo mu nsi gye nawa bajjajjaabwe.
16 (C)“Naye kaakano leka ntumye abavubi bange,” bw’ayogera Mukama, “era bajja kubavuba. Ng’ekyo kiwedde nzija kutumya abayizzi bange, era bajja kubayigga ku buli lusozi era na buli kasozi na buli lwatika lwonna mu njazi. 17 (D)Amaaso gange galaba buli kye bakola, tebinkwekeddwa wadde obutali butuukirivu bwabwe okuunkwekebwa. 18 (E)Ndibasasula olw’obutali butuukirivu bwabwe n’olw’ekibi kyabwe emirundi ebiri, kubanga boonoonye ensi yange olw’ebintu ebitaliimu bulamu ne bajjuza omugabo gwange ebifaananyi bya bakatonda baabwe abakolerere, eby’emizizo.”
19 (F)Ayi Mukama, amaanyi gange era ekigo kyange,
ekiddukiro kyange mu biro eby’okulabiramu ennaku,
bannaggwanga balijja gy’oli,
okuva ku nkomerero z’ensi bagambe nti,
“Bakitaffe tebaalina kantu okuggyako bakatonda ab’obulimba,
ebifaananyi ebikolerere ebitagasa ebitaabayamba.
20 (G)Abantu beekolera bakatonda baabwe?
Ye, naye si Katonda!
21 “Noolwekyo ndibayigiriza,
ku mulundi guno;
ŋŋenda kubalaga amaanyi gange n’obuyinza bwange.
Olwo balyoke bamanye nti
erinnya lyange nze Mukama.”
Ekibi n’Ekibonerezo kya Yuda
17 (H)“Ekibi kya Yuda kiwandiikiddwa n’ekkalaamu ey’ekyuma
n’ejjinja essongovu;
kirambiddwa ku mitima gyabwe
ne ku mayembe g’ebyoto byabwe.
2 (I)N’abaana baabwe basinziza
ku byoto bya bakatonda ba Asera
ebiri ku buli muti oguyimiridde
era ne ku busozi obuwanvu.
3 (J)Olusozi lwange oluli mu nsi,
obugagga bwammwe n’ebintu byo eby’omuwendo byonna,
ndibiwaayo byonna binyagibwe
n’ebifo byammwe ebigulumivu kwe musaddaakira
olw’ekibi ekibunye mu nsi yonna.
4 (K)Musango gwo ggwe nti olifiirwa ensi gye nakuwa okuba omugabo gwo,
ndikufuula muddu wa balabe bo mu nsi gy’otomanyangako,
kubanga mu busungu bwange omuliro gukoleezeddwa
ogunaayakanga emirembe gyonna.”
7 (A)Tukiko owooluganda omwagalwa era omuweereza omwesigwa era muddu munnaffe mu Mukama waffe alibategeeza ebinfaako byonna. 8 (B)Kyenva mmutuma gye muli mulyoke mumanye ebitufaako, era abazzeemu n’amaanyi, 9 (C)awamu ne Onesimo owooluganda omwagalwa era omwesigwa, omu ku b’ewammwe; balibategeeza byonna ebifa eno.
10 (D)Alisutaluuko, musibe munnange, ne Makko omujjwa wa Balunabba, gwe baabagambako nti bw’aliba ng’aze gye muli mumusembezanga, babatumidde; 11 ne Yesu ayitibwa Yusito abalamusizza. Abo be Bayudaaya, bakozi bannange bokka mu bwakabaka bwa Katonda, abaanzizaamu amaanyi. 12 (E)Epafula ow’ewammwe, omuddu wa Kristo Yesu, afuba bulijjo ku lwammwe okubasabira, mulyoke muyimirirenga nga munywedde mu kukkiriza era nga mutegeereranga ddala mu byonna Katonda by’ayagala, abalamusizza. 13 (F)Kubanga mmuweera obujulirwa, nga bw’afuba ennyo ku lwammwe, n’ab’omu Lawodikiya, n’ab’omu Kiyerapoli. 14 (G)Lukka, omusawo omwagalwa ne Dema, babalamusizza. 15 (H)Mulamuse abooluganda ab’omu Lawodikiya, ne Nunfa, n’ekkanisa ekuŋŋaanira mu nnyumba ye.
16 (I)Ebbaluwa eno bw’emalanga okusomebwa mu mmwe, mulabe nti esomerwa n’ab’ekkanisa y’omu Lawodikiya, era nammwe musome ebbaluwa eriva e Lawodikiya.
17 (J)Era mugambe Alukipo nti, “Ssaayo omwoyo ku kuweereza kwe waweebwa mu Mukama waffe, okutuukirize.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.