Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
139 (A)Ayi Mukama, okebedde omutima gwange,
n’otegeera byonna ebiri munda yange.
2 (B)Bwe ntuula omanya, ne bwe ngolokoka omanya;
era otegeera byonna bye ndowooza, ne bwe mbeera ewala ennyo.
3 (C)Otegeera okutambula kwange kwonna n’okuwummula kwange.
Omanyi amakubo gange gonna.
4 (D)Ekigambo kye nnaayogera, Ayi Mukama,
okimanya nga sinnaba na kukyogera.
5 (E)Ondi mu maaso n’emabega,
era ontaddeko omukono gwo.
6 (F)Okumanya okw’engeri eyo kunsukkiridde,
era nkwewuunya nnyo, kunnema okutegeera.
13 (A)Ggwe watonda byonna ebiri munda mu nze;
ggwe wammumbira mu lubuto lwa mmange.
14 (B)Nkutendereza, kubanga wankola mu ngeri ey’entiisa era ey’ekitalo;
emirimu gyo gya kyewuunyo;
era ekyo nkimanyidde ddala bulungi.
15 (C)Wammanya nga ntondebwa,
bwe nakolerwa mu kyama;
bwe natondebwa mu buziba bw’ensi n’amagezi go amangi.
16 Wandaba nga si natondebwa.
Ennaku zange zonna ze wanteekerateekera
zawandiikibwa mu kitabo kyo.
17 (D)By’ondowooleza nga bya muwendo munene, Ayi Katonda!
Omuwendo gwabyo munene!
18 Singa ngezaako okubibala
bisinga omusenyu obungi.
Ne bwe ngolokoka mu makya
oba okyandowoozaako.
10 (A)Zinsanze, mmange lwaki wanzaala
omuntu eggwanga lyonna gwe lirwanyisa ne likuluusanya?
Siwolanga wadde okweyazika,
kyokka buli muntu ankolimira.
11 (B)Mukama agamba nti,
“Ddala ndikununula olw’ekigendererwa ekirungi,
ddala ndireetera abalabe bo okukwegayirira,
mu biseera eby’okuluma obujiji, mu biseera eby’akabi.
12 (C)“Omusajja ayinza okumenya ekikomo
oba ekyuma eky’omu bukiikakkono?
13 (D)“Ndiwaayo eby’obugagga byo n’ebintu byo eby’omuwendo ennyo
binyagibwe awatali kusasulwa,
olw’ebibi byo byonna
ebikoleddwa mu ggwanga lyonna.
14 (E)Ndibafuula abasibe b’abalabe bammwe
mu ggwanga lye mutamanyi,
kubanga obusungu bwange bwakukoleeza omuliro
ogunaabookya gubamalewo.”
Yeremiya Yeekaabirako
15 (F)Ayi Mukama ggwe omanyi byonna.
Nzijukira ondabirire.
Ompalanire eggwanga ku abo abanjigganya.
Mu kugumiikiriza kwo okunene tontwala.
Lowooza ku ngeri gye mbonyeebonye ku lulwo.
16 (G)Ebigambo byo bwe byanzijira, ne mbirya,
byali ssanyu era okujaguza kw’omutima gwange.
Kubanga mpitibwa linnya lyo,
Ayi Mukama Katonda ow’Eggye.
17 (H)Situulangako mu kuŋŋaaniro ly’abo ab’ebinyumu
era sibeerangako mu biduula nabo.
Natuulanga nzekka kubanga naliko omukono gwo,
era wandeetera okwekyawa.
18 (I)Lwaki okulumwa kwange tekukoma
era n’ekiwundu kyange ne kitawona?
Onomberera ng’akagga akalimbalimba
ng’ensulo ekalira?
19 (J)Noolwekyo kino Mukama ky’agamba nti,
“Bwe muneenenya,
ndibakomyawo musobole okumpeereza;
bwe mulyogera ebigambo ebisaana so si ebitasaanidde,
mulibeera boogezi bange.
Leka abantu bano be baba bajja gy’oli,
so si ggwe okugenda gye bali.
20 (K)Ndikufuula ekisenge eri abantu bano,
ekisenge ekinywezebbwa eky’ekikomo.
Balikulwanyisa
naye tebalikuwangula,
kubanga ndi naawe,
okukununula, n’okukulokola,”
bw’ayogera Mukama.
21 (L)“Ndikununula okuva mu mukono gw’abakozi b’ebibi
era n’enkuggya mu mukono gw’abasajja abakambwe,” bw’ayogera Mukama.
25 (A)Era ndabye nga kisaanye okubatumira owooluganda Epafuladito mukozi munnange, era mulwanyi munnange, naye ate nga mutume wammwe, omuweereza ow’eby’obwakabona ow’eby’etaago byange, 26 (B)ayagala ennyo okubalaba, mwenna, eyeeraliikirira ennyo olw’obutabalaba, kubanga mwawulira nga yalwala. 27 Ddala yalwala era yali kumpi n’okufa. Kyokka Katonda yamusaasira, naye era teyasaasira ye yekka, wabula nange yansaasira ennaku n’eteenneeyongera. 28 Noolwekyo nayagala nnyo okumutuma gye muli mulyoke musanyuke okumulaba nate, ekyo kikendeeze ku nnaku gye nnina. 29 (C)Kale mumwanirize nnyo n’essanyu lyonna mu Mukama waffe, era abantu abali ng’oyo mubassangamu ekitiibwa, 30 (D)kubanga yabulako katono okufa ng’ali ku mulimu gwa Kristo, ng’akola ebyo bye mwandinkoledde singa mwali nange.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.