Add parallel Print Page Options

36 (A)Mukama alikuleka, ggwe ne kabaka wo gw’onoobanga weerondedde n’otwalibwa mu ggwanga eddala ly’otowulirangako, ne bajjajjaabo lye bataamanya, n’oweererezanga eyo bakatonda abalala ab’emiti n’amayinja.

Read full chapter

13 (A)Noolwekyo ndibaggya mu nsi eno ne mbateeka mu nsi mmwe gye mutamanyi wadde bakitammwe gye bataamanya, era nga muli eyo muliweereza bakatonda abalala emisana n’ekiro, era siribakwatirwa kisa.’

Read full chapter

22 (A)Kubanga obusungu bwange bukumye omuliro,
    ne gwaka okutuukira ddala wansi mu magombe,
gusenkenya ensi n’ebibala byayo,
    ne gwokya amasozi okutandikira ku bikolo byago.

Read full chapter

(A)Bw’olirabika, Ayi Mukama,
    olibasiriiza n’omuliro ng’ogw’omu kyoto ekyengeredde.
Mukama, ng’ajjudde obusungu, alibamira bonna,
    era alibamalirawo ddala.

Read full chapter