Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 119:49-56

ז Zayini

49 Jjukira ekigambo kye wansuubiza, nze omuddu wo,
    kubanga gwe wampa essuubi.
50 (A)Ekiwummuza omutima gwange nga ndi mu bulumi
    kye kisuubizo kyo ekimpa obulamu.
51 (B)Ab’amalala banduulira obutamala,
    naye nze siva ku mateeka go.
52 (C)Bwe ndowooza ku biragiro byo eby’edda, Ayi Mukama,
    biwummuza omutima gwange.
53 (D)Nkyawa nnyo abakola ebibi,
    abaleka amateeka go.
54 Ebiragiro byo binfuukidde ennyimba
    buli we nsula nga ndi mu lugendo lwange.
55 (E)Mu kiro nzijukira erinnya lyo, Ayi Mukama,
    ne neekuuma amateeka go.
56 Olw’okukugonderanga
    nfunye emikisa gyo mingi.

Yeremiya 33:1-13

Ebisuubizo by’Okuddawo

33 (A)Yeremiya bwe yali ng’akyali mu kkomera mu luggya lw’omukuumi, ekigambo kya Mukama ne kimujjira omulundi ogwokubiri nti, (B)“Bw’ati bw’ayogera Mukama, oyo eyakola ensi, Mukama eyagikola era n’agiteekawo, Mukama lye linnya lye: (C)‘Mumpite n’abayitaba ne mbalaga ebikulu ebitanoonyezeka bye mutamanyi.’ (D)Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri ku mayumba agali mu kibuga kino era ne ku mbiri z’obwakabaka bwa Yuda ebyamenyebwamenyebwa okukozesebwa ng’entuumo eziziyiza obulumbaganyi n’ekitala (E)mu lutalo n’Abakaludaaya. ‘Birijjula emirambo gy’abasajja be nditta olw’obusungu bwange n’ekiruyi. Ndikweka amaaso gange okuva ku kibuga kino olw’obutali butuukirivu bwabwe bwonna.

“ ‘Naye ndikiwa obulamu n’okuwonyezebwa; ndiwonya abantu bange, mbaleetere okweyagalira mu mirembe emigazi era eminywevu. (F)Ndikomyawo Yuda ne Isirayiri okubaggya mu buwambe era mbazimbe nga bwe baasooka okubeera. (G)Ndibalongoosa okubaggyako ebibi byonna bye bannyonoona era mbasonyiwe n’ekibi eky’okunjeemera. (H)Olwo ekibuga kino kirindetera okwongera okumanyika, n’essanyu, n’ettendo era n’ekitiibwa eri amawanga gonna ku nsi agaliwulira ebintu byonna ebirungi bye mbakolera; era balyewuunya bakankane olw’okukulaakulana n’emirembe gye nkiwa.’

10 (I)“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Mwogera ku kifo kino nti, “Matongo agaalekebwa awo, omutali bantu wadde ensolo.” Ate nga mu bibuga bya Yuda n’enguudo za Yerusaalemi ezalekebwawo omutali bantu wadde ensolo, muliddamu okuwulirwa nate 11 (J)amaloboozi ag’essanyu n’okujaguza, n’amaloboozi g’omugole ne bba, n’amaloboozi gaabo abaleeta ekiweebwayo eky’okwebaza eri ennyumba ya Mukama, nga bagamba nti,

“ ‘ “Mumwebaze Mukama Katonda ow’Eggye,
    kubanga Mukama mulungi;
    okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”

Kubanga ndizzaawo omukisa gw’eggwanga lino nga bwe gwali mu kusooka,’ bw’ayogera Mukama Katonda.

12 (K)“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, ‘Mu kifo kino ekirekeddwa awo omutali bantu wadde ensolo, mu bibuga byakyo byonna nate muliddamu amalundiro ag’abasumba mwe banaawummulizanga ebisibo byabwe. 13 (L)Mu bibuga eby’ensi ey’obusozi, eby’eri wansi w’ensozi ez’omu bugwanjuba era ne Negebu, mu kitundu kya Benyamini, mu byalo ebyetoolodde Yerusaalemi n’ebibuga ebyetoolodde Yuda mwonna ebisibo biriddamu okuyita wansi w’omukono gw’oyo abibala,’ bw’ayogera Mukama.

Matayo 19:16-22

Omuvubuka Omugagga

16 (A)Awo omuntu omu n’amusemberera n’amubuuza nti, “Omuyigiriza, nkole ki ekirungi okufuna obulamu obutaggwaawo?”

17 (B)Yesu n’amuddamu nti, “Lwaki ombuuza ebikwata ku birungi? Omulungi ali omu, naye bw’obanga oyagala okuyingira mu bulamu, ggondera amateeka.”

18 (C)N’amuddamu nti, “Ge galuwa?”

Yesu n’amugamba nti, “ ‘Tottanga, toyendanga, tobbanga, towaayirizanga, 19 (D)ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko era yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.’ ”

20 Omuvubuka oyo n’amuddamu nti, “Ebyo byonna nabikwata dda, ate kiki ekimpeebuuseeko?”

21 (E)Yesu n’amugamba nti, “Obanga oyagala okuba omutuukirivu genda otunde ebibyo, ensimbi ozigabire abaavu, kale oliba n’obugagga mu ggulu, olyoke ojje ongoberere.”

22 Naye omuvubuka bwe yawulira ebyo n’agenda ng’anakuwadde kubanga yali mugagga.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.