Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 65

Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba, Zabbuli ya Dawudi.

65 (A)Osaanira okutenderezebwanga, Ayi Katonda, ali mu Sayuuni;
    tunaatuukiririzanga obweyamo bwaffe gy’oli.
(B)Ayi ggwe awulira okusaba kw’abantu bo,
    abantu bonna banajjanga gy’oli olw’ebibi byabwe.
(C)Ebibi byaffe bwe byatusukkirira,
    n’otutangiririra.
(D)Alina omukisa oyo gw’olonda
    n’omusembeza okumpi naawe, abeerenga mu mpya zo.
Tunaamalibwanga ebirungi eby’omu nnyumba yo;
    eby’omu Yeekaalu yo entukuvu.

(E)Otwanukula n’ebikolwa byo eby’obutuukirivu eby’entiisa n’otulokola,
    Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe;
ggwe ssuubi ly’abo abali mu nsi yonna n’abo bonna
    abali ewala mu nnyanja zonna,
(F)ggwe, eyakola ensozi n’obuyinza bwo,
    n’ozinyweza n’amaanyi go,
(G)ggwe, asirisa okusiikuuka kw’ennyanja,
    n’okkakkanya okwetabula kw’amayengo gaayo,
    era ggw’okkakkanya okwegugunga kw’amawanga.
Abo bonna ababeera ewala balaba ne batya ebyewuunyo byo;
    ne bakuyimbira ennyimba ez’essanyu
    okuva ku makya okutuusa akawungeezi.

(H)Ensi ogirabirira n’ogifukirira
    n’egimuka nnyo.
Emigga gya Katonda gijjudde amazzi,
    okuwa abantu emmere ey’empeke,
    kubanga bw’otyo bwe wakiteekateeka.
10 Otonnyesa enkuba mu nnimiro,
    n’ojjuza ebitaba byamu;
n’ogonza ettaka,
    ebibala by’omu nsi n’obiwa omukisa.
11 Ofundikira omwaka n’amakungula amangi,
    ebigaali ne bigenda nga byetisse ebibala nga bikubyeko.
12 (I)Ebifo awali omuddo mu ddungu bijjula amazzi,
    n’obusozi ne bulabika bulungi nga bweyagala.
13 (J)Amalundiro gajjula ebisibo,
    n’ebiwonvu ne bijjula emmere ey’empeke.
    Ensi yonna eyimba mu ddoboozi ery’omwanguka ng’ejjudde essanyu.

Yoweeri 1

(A)Buno bwe bubaka bwa Mukama obwajjira Yoweeri mutabani wa Pesweri.

(B)Muwulirize mmwe abakadde ba Isirayiri,
    buli ali mu nsi naye awulirize.
Kino kyali kibaddewo mu biseera byammwe,
    oba mu biseera bya bakitammwe?
(C)Mukibuulire abaana bammwe,
    nabo balikibuulira abaana baabwe,
    nabo balikibuulira ab’emirembe egiriddawo.
(D)Ebibinja by’enzige ebisooka bye zitalidde,
    enzige eziddirira zibirumbye,
ate ezo bye zireseewo,
    enzige ento bye ziridde,
ate zino bye zireseewo,
    enzige endala ne zibizikiririza ddala byonna!

(E)Muzuukuke, mmwe abatamiivu, mwekaabire amaziga;
    mukube ebiwoobe mmwe mwenna abanywi b’omwenge,
mukube ebiwoobe kubanga akamwa kammwe
    katuuse okwerabira omwenge omusu.
(F)Eggwanga lirumbye ensi yange,
    ery’amaanyi ennyo era ery’abantu abatabalika.
Amannyo gaalyo gali ng’ag’empologoma,
    n’amasongezo gaalyo ng’ag’empologoma enkazi.
(G)Eggwanga eryo lizikirizza emizabbibu gyange,
    ne limalawo emitiini gyange.
Lisusumbudde ebikuta byagyo,
    byonna biri ku ttaka,
    amatabi gaagyo gasigadde gatukuuliridde.

(H)Mukungubage nga nnamwandu omuto afiiriddwa bba,
    ng’ayambadde ebibukutu olw’ennaku.
(I)Ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke n’ebiweebwayo eby’okunywa
    tewakyali kirabikako mu nnyumba ya Mukama.
Bakabona abaweerereza mu maaso ga Katonda
    bakungubaga.
10 (J)Ennimiro ziweddemu ebirime;
    ettaka likaze,
Emmere ey’empeke eweddewo,
    omwenge omusu n’amafuta g’emizeeyituuni ne bibulira ddala.

11 (K)Mmwe abalimi mukwatibwe entiisa,
    mmwe abalima emizabbibu mukaabe.
Mukaabire eŋŋaano ne sayiri,
    kubanga ebyandikunguddwa byonna biweddewo.
12 (L)Omuzabbibu gukaze
    n’omutiini guyongobedde.
Omukomamawanga, n’olukindu ne apo
    n’emiti gyonna egy’omu nnimiro giwotose.
Abantu tebakyalina ssanyu.

Abantu bayitibwa Okwenenya

13 (M)Mmwe bakabona, mwesibe mwambale ebibukutu mukungubage.
    Mmwe abaweereza ba Katonda wange ab’oku kyoto,
mweyale wansi awali ekyoto,
    musule awo ekiro kyonna nga mukuba ebiwoobe,
kubanga mu nnyumba ya Katonda wammwe temukyali kiweebwayo kyonna,
    eky’emmere ey’empeke oba eky’envinnyo.
14 (N)Mulangirire okusiiba okutukuvu
    n’okukuŋŋaana mu maaso ga Katonda.
Muyite abakulu abakulembeze
    n’abantu bonna ababeera mu nsi,
bajje mu nnyumba ya Mukama Katonda waabwe
    bamukaabirire.

15 (O)Zitusanze olw’olunaku luli!
    Kubanga olunaku lwa Mukama olw’entiisa lusembedde.
Lulijja, ng’okuzikiriza
    okuva eri Ayinzabyonna.

16 (P)Emmere tetuweddeeko
    nga tulaba?
Essanyu n’okujaguza
    mu nnyumba ya Katonda waffe tebikomye?
17 (Q)Ensigo ziwotokedde
    mu ttaka,
amawanika makalu
    n’ebyagi by’emmere bikaze,
    kubanga emmere ey’empeke eweddewo.
18 Ensolo nga zisinda!
    Amagana gabuliddwa amagezi;
kubanga tewali muddo,
    n’endiga nazo zidooba.

19 (R)Ayi Mukama, Ggwe gwe nkaabirira,
    kubanga omuddo gwonna gumaliddwawo empiira,
n’emiti gyonna egy’omu nnimiro
    nagyo giyidde.
20 (S)Ensolo ez’omu nsiko nazo zikukaabira okuziyamba,
    emigga gikalidde,
    ne gye ziriira, omuddo gwonna guyidde.

2 Timoseewo 3:1-9

Ennaku ez’Oluvannyuma

(A)Naye tegeera kino nga mu nnaku ez’oluvannyuma walibaawo ebiseera ebizibu. (B)Kubanga abantu baliba nga beefaako bokka, nga balulunkanira ensimbi, nga beepanka, nga beekuluntaza, nga boogera ebibi, era nga tebawulira bazadde baabwe, nga tebeebaza, nga tebatya Katonda, nga tebaagalana era nga tebatabagana, nga bawaayiriza, nga tebeegendereza, nga bakambwe, nga tebaagala birungi, (C)nga ba nkwe, nga baagala eby’amasanyu okusinga bwe baagala Katonda; nga balina ekifaananyi eky’okutya Katonda so nga tebakkiriza maanyi gaakyo. Abantu ab’engeri eyo obeewalanga.

(D)Mu abo mulimu abasensera mu mayumba ne bawamba abakazi abanafu mu mwoyo abazitoowereddwa ebibi, era abawalulwa okwegomba okubi okwa buli ngeri, abayiga bulijjo, kyokka ne batatuuka ku kutegeerera ddala amazima, (E)nga Yane ne Yambere abaawakanya Musa, ne bano bwe batyo bawakanya amazima. Be bantu abaayonooneka ebirowoozo, abatakyalina kukkiriza kutuufu. (F)Kyokka tebaliiko gye balaga, kubanga obusirusiru bwabwe bujja kumanyibwa abantu bonna, ng’obwa abasajja abo bwe bwamanyibwa.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.