Add parallel Print Page Options

26 (A)Yesu n’abaddamu nti, “Mmwe abalina okukkiriza okutono! Lwaki mutya bwe mutyo?” N’agolokoka n’aboggolera omuyaga. Omuyaga ne guggwaawo, ennyanja n’eteeka.

Read full chapter

12 (A)Woowe oluyoogaano olw’amawanga amangi,
    bawuluguma ng’okuwuluguma kw’ennyanja esiikuuse!
Okuwuluguma kw’abantu,
    bawuluguma ng’amazzi agayiika n’amaanyi amangi!
13 (B)Wadde amawanga galiwuuma n’okuwulikika ne gawulikika ng’amazzi agayiika n’amaanyi amangi,
    Mukama bw’aligagoba, galibulawo mbagirawo.
Galiba ng’ebisusunku bwe bitwalibwa empewo;
    era ng’enfuufu ekunta nga yeetooloola, enkuba ng’eneetera okutonnya.

Read full chapter