Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yoweeri 2:23-32

23 (A)Musanyuke mmwe abaana ba Sayuuni;
    mujagulize Mukama Katonda wammwe.
Kubanga abawadde
    enkuba esooka mu butuukirivu.
Era abawadde enkuba nnyingi esooka n’esembayo
    mu mwaka ng’obw’edda.
24 (B)Amawuuliro gammwe galijjula eŋŋaano,
    n’amasogolero gammwe galijjula envinnyo n’amafuta n’okubooga ne gabooga.

25 “Ndibaddizaawo byonna enzige bye zaalya mu myaka egyo.
    Lyali ggye lyange ery’amaanyi lye nabasindikira nga lirimu lusejjera,
    n’enzige ezisala obusazi,
    awamu n’ezo ezizikiririza ddala.
26 (C)Kale, munaabanga n’ebyokulya bingi nga bwe muneetaaganga.
    Munaatenderezanga erinnya lya Mukama Katonda wammwe
    abakoledde ebintu ebirungi bwe bityo.
Era abantu bange tebakyaddayo kuswazibwa.
27 (D)Mulimanya nga ndi wakati mu Isirayiri,
    era nga Nze, Mukama, Nze Katonda wammwe,
    so tewali mulala;
n’abantu bange tebakyaddayo kuswazibwa.

Mukama Afuka Omwoyo We ku Bantu Be

28 (E)“Awo olulituuka oluvannyuma lw’ebyo,
    ndifuka Omwoyo wange ku bantu bonna.
Batabani bammwe ne bawala bammwe balitegeeza eby’omu maaso;
    abakadde baliroota ebirooto,
    n’abavubuka bammwe balyolesebwa.
29 (F)Mu biro ebyo
    ndifuka Omwoyo wange ku baweereza bange abasajja n’abakazi.
30 (G)Era ndyolesa ebyamagero mu ggulu
    ne ku nsi:
    omusaayi n’omuliro n’ekikoomi eky’omukka.
31 (H)Enjuba erifuuka ekizikiza,
    n’omwezi gulimyuka ng’omusaayi,
    olunaku lwa Mukama olukulu era olw’entiisa nga terunnatuuka.
32 (I)Awo olulituuka buli alikoowoola
    erinnya lya Mukama okusaasirwa alirokoka.
Kubanga mu lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi
    walibaawo abaliwona
    nga Mukama bw’ayogedde,
ne mu abo abalifikkawo
    mulibaamu abo Mukama b’aliyita.”

Zabbuli 65

Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba, Zabbuli ya Dawudi.

65 (A)Osaanira okutenderezebwanga, Ayi Katonda, ali mu Sayuuni;
    tunaatuukiririzanga obweyamo bwaffe gy’oli.
(B)Ayi ggwe awulira okusaba kw’abantu bo,
    abantu bonna banajjanga gy’oli olw’ebibi byabwe.
(C)Ebibi byaffe bwe byatusukkirira,
    n’otutangiririra.
(D)Alina omukisa oyo gw’olonda
    n’omusembeza okumpi naawe, abeerenga mu mpya zo.
Tunaamalibwanga ebirungi eby’omu nnyumba yo;
    eby’omu Yeekaalu yo entukuvu.

(E)Otwanukula n’ebikolwa byo eby’obutuukirivu eby’entiisa n’otulokola,
    Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe;
ggwe ssuubi ly’abo abali mu nsi yonna n’abo bonna
    abali ewala mu nnyanja zonna,
(F)ggwe, eyakola ensozi n’obuyinza bwo,
    n’ozinyweza n’amaanyi go,
(G)ggwe, asirisa okusiikuuka kw’ennyanja,
    n’okkakkanya okwetabula kw’amayengo gaayo,
    era ggw’okkakkanya okwegugunga kw’amawanga.
Abo bonna ababeera ewala balaba ne batya ebyewuunyo byo;
    ne bakuyimbira ennyimba ez’essanyu
    okuva ku makya okutuusa akawungeezi.

(H)Ensi ogirabirira n’ogifukirira
    n’egimuka nnyo.
Emigga gya Katonda gijjudde amazzi,
    okuwa abantu emmere ey’empeke,
    kubanga bw’otyo bwe wakiteekateeka.
10 Otonnyesa enkuba mu nnimiro,
    n’ojjuza ebitaba byamu;
n’ogonza ettaka,
    ebibala by’omu nsi n’obiwa omukisa.
11 Ofundikira omwaka n’amakungula amangi,
    ebigaali ne bigenda nga byetisse ebibala nga bikubyeko.
12 (I)Ebifo awali omuddo mu ddungu bijjula amazzi,
    n’obusozi ne bulabika bulungi nga bweyagala.
13 (J)Amalundiro gajjula ebisibo,
    n’ebiwonvu ne bijjula emmere ey’empeke.
    Ensi yonna eyimba mu ddoboozi ery’omwanguka ng’ejjudde essanyu.

2 Timoseewo 4:6-8

(A)Nze kaakano mpebwayo, era ekiseera kyange eky’okuva ku nsi kituuse. (B)Nnwanye okulwana okulungi, mmalirizza olugendo lwange, nkuumye okukkiriza kwange. (C)Kye nsigazza kwe kufuna engule ey’obutuukirivu enterekeddwa, Mukama omulamuzi omutuukirivu gy’alimpeera ku lunaku luli. Taligiwa nze nzekka, naye aligiwa n’abo bonna abeegomba okujja kwe.

2 Timoseewo 4:16-18

16 (A)Mu kuwoza kwange okwasooka, tewaali n’omu yajja kubeera nange, bonna banjabulira. Nsaba Katonda ekyo kireme kubavunaanibwa. 17 (B)Kyokka Mukama waffe yabeera nange, n’ampa amaanyi, ne nsobola okutegeereza ddala Abaamawanga bonna Enjiri ne bagiwulira, bw’atyo n’anziggya mu kamwa k’empologoma. 18 (C)Era Mukama anamponyanga mu buli kabi, era alintuusa mirembe mu bwakabaka bwe. Mukama agulumizibwenga emirembe n’emirembe. Amiina.

Lukka 18:9-14

(A)Awo Yesu n’agerera olugero luno abo abeerowooza nga batuukirivu nga banyoomoola n’abantu abalala, n’agamba nti, 10 (B)“Abantu babiri baayambuka mu Yeekaalu okusaba, omu yali Mufalisaayo n’omulala nga muwooza. 11 (C)Omufalisaayo n’ayimirira n’atandika okusaba nga yeeyogerako nti, ‘Nkwebaza, Katonda, kubanga sifaanana ng’abantu abalala: ab’omululu, abalyazaamaanyi, abenzi, oba omuwooza ono. 12 (D)Nsiiba emirundi ebiri mu wiiki, era mpaayo eri Katonda, ekimu eky’ekkumi ku bintu byonna bye nfuna.’

13 (E)“Naye omuwooza n’ayimirira wala n’atasobola na kuyimusa maaso ge kutunula eri eggulu ng’asaba, wabula ne yeekuba mu kifuba ng’asaba nti, ‘Katonda, onsaasire, nze omwonoonyi.’

14 (F)“Mbagamba nti omusajja ono, omuwooza ye yaddayo eka ng’asonyiyiddwa ebibi bye. Kubanga buli eyeegulumiza alitoowazibwa, n’oyo eyeetoowaza aligulumizibwa.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.