Add parallel Print Page Options

29 (A)“Amangu ddala ng’okubonyaabonyezebwa

“kw’omu nnaku ezo kuwedde,
    ‘enjuba eriggyako ekizikiza
era n’omwezi teguliyaka,
    n’emmunyeenye zirigwa n’amaanyi g’eggulu galinyeenyezebwa.’ ”

Read full chapter

Laba olunaku lwa Mukama lujja,
    olunaku olubi ennyo olw’ekiruyi n’obusungu obubuubuuka
okufuula ensi amatongo,
    n’okuzikiriza abakozi b’ebibi okubamalamu.
10 (A)Kubanga emmunyeenye ez’omu ggulu n’ebibiina byazo
    tebiryaka;
enjuba nayo teryaka nga bw’ekola bulijjo,
    n’omwezi nagwo tegulyaka.

Read full chapter

Olunaku lwa Mukama

(A)“Kubanga, laba, olunaku lujja, lwokya ng’ekikoomi, n’ab’amalala bonna n’abo bonna abakola ebibi baliba bisasiro: ku lunaku lwennyini balyokerwa ddala,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “obutabalekerawo mulandira newaakubadde ettabi.

Read full chapter

(A)“Laba, ndibatumira nnabbi Eriya, olunaku lwa Mukama olukulu olw’entiisa nga terunnatuuka,

Read full chapter