Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
19 Nzijukira okubonaabona kwange n’okuwankawanka kwange,
n’obulumi n’obubalagaze.
20 (A)Mbijjukira bulungi
era bwe mbirowoozaako omutima gwange gulumwa.
21 Ebyo byonna mbijjukira,
kyenvudde mbeera n’essuubi.
Okugwa kwa Yerusaalemi
52 (A)Zeddekiya yali wa myaka amakumi abiri mu gumu egy’obukulu we yafuukira kabaka, n’afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemi. Nnyina yayitibwanga Kamutali muwala wa Yeremiya ow’e Libuna. 2 (B)Zeddekiya n’akola eby’omuzizo mu maaso ga Mukama, nga Yekoyakimu bwe yali akoze. 3 (C)Abalabe ba Yerusaalemi ne Yuda ne babalumba kubanga Mukama yali abanyiigidde. Ku nkomerero n’abagobamu mu nsi. Ebyo byonna ne bituuka ku Yerusaalemi ne ku Yuda, Mukama n’okubagoba n’abagoba mu maaso ge, ne Zeddekiya n’ajeemera kabaka w’e Babulooni.
4 (D)Mu mwaka ogw’omwenda ogw’obufuzi bwa Zeddekiya, ku lunaku olw’ekkumi mu mwezi ogw’ekkumi, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’eggye lye lyonna, n’alumba Yerusaalemi, ekibuga ekyo n’akizingiza n’akizimbako ebifunvu okukyetooloola. 5 Ekibuga ne bakizimbako ebifunvu okutuusa mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogw’obufuzi bwa kabaka Zeddekiya.
6 (E)Ku lunaku olw’omwenda olw’omwezi ogwokuna enjala n’eba nnyingi nnyo mu kibuga nga tewaali kyakulya. 7 Bbugwe w’ekibuga yamenyebwa Abakaludaaya. Eggye lyonna erya Yerusaalemi ne lidduka okuva mu kibuga kiro nga bayita mu mulyango oguli wakati w’ebisenge ebibiri ebiri okumpi n’ennimiro lwa kabaka, newaakubadde ng’Abakaludaaya baali beetoolodde ekibuga. Badduka ne bagenda mu Alaba. 8 Eggye ly’Abakaludaaya ne ligoba kabaka Zeddekiya ne bamukwatira mu nsenyi ez’e Yeriko, Abaserikale be bonna ne bamuvaako ne basaasaana. 9 (F)N’akwatibwa.
Zeddekiya n’atwalibwa eri kabaka w’e Babulooni e Libuna mu nsi ey’e Kamasi; n’amusalira omusango ne gumusinga. 10 (G)Awo kabaka w’e Babulooni n’atta batabani ba Zeddekiya nga kitaabwe alaba; n’atta n’abakungu bonna aba Yuda. 11 (H)N’alyoka aggyamu Zeddekiya amaaso n’amusiba mu masamba ag’ebikomo n’amutwala e Babulooni, gye yamuteeka mu kkomera okutuusa lwe yafa.
Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Sumuna
8 (A)“Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Sumuna wandiika nti:
Bw’ati bw’ayogera Owoolubereberye era Owenkomerero eyali afudde oluvannyuma n’azuukira n’aba mulamu, 9 (B)nti mmanyi okubonaabona kwo n’obwavu bwo, naye ng’oli mugagga, era n’okulimirira kw’abo abeeyita Abayudaaya songa ssi Bayudaaya, wabula kuŋŋaaniro lya Setaani. 10 (C)Temutya n’akatono ebyo bye mugenda okubonaabona. Laba Setaani anaatera okusiba abamu ku mmwe mu makomera okubagezesa. Muliyigganyizibwa okumala ennaku kumi ddamba. Mubeere beesigwa okutuusa okufa, nange ndibawa engule ey’obulamu.
11 (D)Alina amatu, awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula talifa mulundi gwakubiri.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.