Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
צ Tisade
137 (A)Oli mutuukirivu, Ayi Katonda,
era amateeka go matuufu.
138 (B)Ebiragiro byo bye wateekawo bituukirivu,
era byesigibwa.
139 (C)Nnyiikadde nnyo munda yange,
olw’abalabe bange abatassaayo mwoyo eri ebiragiro byo.
140 (D)Ebisuubizo byo byetegerezebwa nnyo,
kyenva mbyagala.
141 (E)Newaakubadde ndi muntu wa bulijjo era anyoomebwa, naye seerabira biragiro byo.
142 (F)Obutuukirivu bwo bwa lubeerera,
n’amateeka go ga mazima.
143 Newaakubadde nga ndi mu kulumwa n’okutegana okungi,
amateeka go ge gansanyusa.
144 (G)Ebiragiro byo bituufu emirembe gyonna;
onjigirize okubitegeera ndyoke mbeere omulamu.
Okuddamu kwa Mukama
5 (A)“Mutunuulire amawanga, mwetegereze. Mwewuunyize ddala nnyo.
Kubanga ŋŋenda kukola omulimu mu nnaku zammwe
gwe mutalikkiriza
newaakubadde nga mugubuuliddwa.
6 (B)Kubanga laba, nkuyimusiza Abakaludaaya,
eggwanga eryo eririna ettima era ekkambwe,
ababunye ensi eno n’eri
nga bawamba amawanga agatali gaabwe.
7 (C)Ba ntiisa, batiibwa,
be beetekera amateeka gaabwe era be bagassa mu nkola,
nga balwanirira ekitiibwa kyabwe.
8 (D)Embalaasi zaabwe zidduka okukira engo,
era mu bukambwe zikira emisege egy’ekiro.
Abasajja abeebagala embalaasi bava mu nsi ey’ewala
era bajja beesaasaanyizza
ne banguwa okutuuka ng’ensega bw’erumba ky’eneerya.
9 (E)Bajja n’eryanyi bonna,
ebibinja byabwe birumba ng’embuyaga ey’omu ddungu;
ne balyoka bayoola abawambe abangi ng’omusenyu.
10 (F)Weewaawo, basekerera bakabaka
ne baduulira n’abakungu.
Basekerera buli kibuga ekiriko ekigo
ne bakituumako ebifunfugu ne balinnyira okwo, ne bakiwamba.
11 (G)Awo ne bayita nga bakunta ng’embuyaga;
abantu bano omusango be gwasinga, eryanyi lyabwe ye katonda waabwe.”
Kaabakuuku Yeemulugunya Ogwokubiri
12 (H)Ayi Mukama toli wa mirembe na mirembe,
ggwe Mukama Katonda wange, si ggwe Mutukuvu wange? Tetulifa.
Ayi Mukama ggwe wabateekawo n’obawa amaanyi batusalire emisango.
Era ggwe Olwazi, wabateekawo kubonereza.
13 (I)Amaaso go gajjudde obulongoofu tegatunula ku kibi,
so toyinza kugumiikiriza bukyamu.
Kale lwaki ggwe ogumiikiriza ab’enkwe,
n’osirika ng’omubi amalirawo ddala
omuntu amusinga obutuukirivu?
14 Kubanga abantu obafudde ng’ebyennyanja eby’omu nnyanja,
ng’ebitonde eby’omu nnyanja ebitaliiko abifuga.
15 (J)Omulabe omubi abakwata bonna ng’eddobo,
oluusi n’abawalula mu katimba ke,
n’abakuŋŋaanya mu kiragala kye
n’alyoka asanyuka n’ajaguza.
16 (K)Kyava awaayo ssaddaaka eri akatimba ke
n’ayotereza n’ekiragala kye obubaane;
akatimba ke kamuwa obulamu obw’okwejalabya,
n’alya emmere ey’ekigagga.
17 (L)Kale, bwe batyo bwe banaalekebwa okutikkula obutimba bwabwe,
n’okusaanyaawo amawanga awatali kusaasira?
1 (A)Nze Simooni Peetero omuddu era omutume wa Yesu Kristo mpandiikira abo abaafuna okukkiriza okw’omuwendo nga ffe, mu butuukirivu bwa Katonda waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo, 2 (B)ekisa n’emirembe byeyongerenga mu mmwe nga mutegeera Katonda ne Yesu Mukama waffe.
Okuyita n’okulonda kwa Katonda
3 (C)Kubanga mu maanyi g’obwakatonda bwe, mwe twaweerwa ebintu byonna olw’obulamu buno n’okutya Katonda mu kumanya oyo eyatuyita olw’ekitiibwa kye n’obulungi bwe ye. 4 (D)Ebyo bye byatuweesa ebisuubizo eby’omuwendo ebikulu, mu byo mulyoke mugabanire awamu obuzaaliranwa bw’obwakatonda, muwone okuzikirira okuva mu kwegomba okubi okw’omu nsi.
5 (E)Noolwekyo mufubenga nnyo, okukkiriza kwammwe mukwongereko obulungi, ne ku bulungi mwongereko okutegeera, 6 (F)ne ku kutegeera mwongereko okwefuganga, ne ku kwefuganga mwongereko obugumiikiriza, ne ku bugumiikiriza mwongereko okutya Katonda, 7 (G)ne ku kutya Katonda mwongereko okufaayo ku booluganda abalala bonna ne ku kufaayo ku booluganda bonna abalala mwongereko okwagalananga. 8 (H)Kubanga bwe muba n’ebyo ne byeyongera obungi, bibafuula ba mugaso era ababala ebibala olw’okutegeera Mukama waffe Yesu Kristo. 9 (I)Oyo atalina ebyo muzibe wa maaso era awunaawuna, era yeerabidde bwe yanaazibwako ebibi bye eby’edda.
10 (J)Kale, abooluganda mweyongerenga okunywerera mu kulondebwa kwammwe ne mu kuyitibwa kwammwe. Kubanga bwe munaakolanga bwe mutyo temulyesittala n’omulundi n’ogumu. 11 Era mulyanirizibwa n’essanyu lingi nnyo mu bwakabaka bwa Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.