Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 119:97-104

מ Meemu

97 (A)Amateeka go nga ngagala nnyo!
    Ngafumiitirizaako olunaku lwonna.
98 (B)Amateeka go ganfuula mugezi okusinga abalabe bange,
    kubanga ge gannuŋŋamya bulijjo.
99 Ntegeera okusinga abasomesa bange bonna,
    kubanga nfumiitiriza nnyo ebyo bye walagira.
100 (C)Ntegeera okusinga abakadde;
    kubanga ŋŋondera ebyo bye walagira.
101 (D)Neekuumye obutatambulira mu kkubo lyonna ekyamu,
    nsobole okugondera ekigambo kyo.
102 Sivudde ku mateeka go,
    kubanga ggwe waganjigiriza.
103 (E)Ebisuubizo byo nga bimpoomera nnyo!
    Biwoomera akamwa kange okusinga omubisi gw’enjuki.
104 (F)Mu biragiro byo mwe nfunira okutegeera;
    kyenva nkyawa ekkubo lyonna ekyamu.

Yeremiya 31:15-26

15 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Eddoboozi liwulirwa mu Laama,
    nga likungubaga n’okukaaba okungi.
Laakeeri akaabira abaana be
    era agaanye okusirisibwa,
    kubanga abaana be baweddewo.”

16 (B)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Ziyiza eddoboozi lyo lireme okuwulikika ng’okaaba
    n’amaaso go galeme okujja amaziga,
kubanga omulimu gwo gulisasulibwa,”
    bw’ayogera Mukama.
    Balikomawo okuva mu nsi y’omulabe.
17 Waliwo essuubi,
    bw’ayogera Mukama.
    Abaana bo baliddayo mu nsi yaabwe.

18 (C)“Ddala mpulidde Efulayimu ng’akungubaga nti,
    ‘Wankangavvula ng’ennyana endalu
    era kaakano nkangavvuddwa.
Nziza, n’akomawo gy’oli
    kubanga ggwe Mukama Katonda wange.
19 (D)Nga mmaze okubula,
    neenenya,
nga nzizeemu amagezi agategeera
    ne neekuba mu kifuba.
Nakwatibwa ensonyi era ne nswala,
    kubanga naliko ekivume ky’obuvubuka bwange.’
20 (E)Efulayimu si mwana wange omwagalwa,
    omwana gwe nsanyukira?
Wadde nga ntera okumunenya
    naye nkyamujjukira.
Noolwekyo omutima gwange gumuyaayaanira;
    nnina ekisa kingi gy’ali,”
    bw’ayogera Mukama.

21 (F)“Muteeke ebipande ku nguudo;
    muteekeeko ebipande.
Mwetegereze ekkubo eddene,
    ekkubo mwe muyita.
Komawo ggwe Omuwala Isirayiri,
    komawo mu bibuga byo.
22 (G)Olituusa ddi okudda eno n’eri,
    ggwe omuwala atali mwesigwa?
Mukama alikola ekintu ekiggya ku nsi,
    omukazi aliwa omusajja obukuumi.”

23 (H)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Bwe ndibakomyawo okubaggya mu busibe, abantu b’omu nsi ye Yuda ne mu bibuga byamu bajja kuddamu okukozesa ebigambo bino nti, ‘Mukama akuwe omukisa, ggwe ekifo ekitukuvu, ggwe olusozi olutukuvu.’ 24 (I)Abantu balibeera wamu mu Yuda ne mu bibuga byakyo byonna, abalimi n’abo abatambula n’amagana gaabwe. 25 (J)Abalumwa ennyonta ndibanywesa, nzizeemu amaanyi abazirika.”

26 (K)Awo we nazuukukira ne ntunulatunula. Otulo twange twali tunnyumidde.

Makko 10:46-52

Yesu Azibula Battimaayo Amaaso

46 Awo Yesu n’abayigirizwa be ne batuuka mu Yeriko. Oluvannyuma bwe baali bava mu kibuga ekibiina kinene ne kibagoberera. Waaliwo omusajja omuzibe w’amaaso, erinnya lye Battimaayo (mutabani wa Timaayo) eyasabirizanga, eyali atudde ku mabbali g’oluguudo. 47 (A)Awo Battimaayo bwe yategeera nga Yesu Omunnazaaleesi ajja okuyita we yali, n’atandika okuleekaana nti, “Yesu, Omwana wa Dawudi, onsaasire!”

48 Abamu ku bantu abaali mu kibiina ne bamuboggolera nti, “Sirika! Totuleekaanira!” Naye ye ne yeeyongera bweyongezi okukoowoola ng’addiŋŋana nti, “Ayi Omwana wa Dawudi, onsaasire!”

49 Yesu n’ayimirira n’ayogera nti, “Mumuyite.” Ne bayita omuzibe w’amaaso nti, “Guma omwoyo, situka akuyita!” 50 Battimaayo n’asuula eri ekikooti kye, n’asituka mangu n’ajja eri Yesu.

51 (B)Yesu n’amubuuza nti, “Oyagala nkukolere ki?” Omuzibe w’amaaso n’addamu nti, “Ayi Omuyigiriza, njagala nsobole okulaba!”

52 (C)Awo Yesu n’amugamba nti, “Ggenda, okukkiriza kwo kukuwonyezza.” Amangwago omusajja n’azibuka amaaso, n’agoberera Yesu.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.