Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 137

137 (A)Twatuula ku mabbali g’emigga gy’e Babulooni,
    ne tukaaba amaziga bwe twajjukira Sayuuni.
Ne tuwanika ennanga zaffe
    ku miti egyali awo.
(B)Abaatunyaga ne batulagira okuyimba,
    abaatubonyaabonya ne batulagira okusanyuka;
    nga bagamba nti, “Mutuyimbireyo lumu ku nnyimba za Sayuuni.”

Tunaayimba tutya oluyimba lwa Mukama
    mu nsi eteri yaffe?
Bwe nnaakwerabiranga, ggwe Yerusaalemi,
    omukono gwange ogwa ddyo gukale!
(C)Olulimi lwange lwesibire waggulu w’ekibuno kyange
    singa nkwerabira,
ggwe Yerusaalemi, ne sikulowoozaako
    okusinga ebintu ebirala byonna.

(D)Jjukira, Ayi Mukama, batabani ba Edomu kye baakola,[a]
    ku lunaku Yerusaalemi lwe kyawambibwa;
ne baleekaana nti, “Kisuule,
    kimalirewo ddala n’emisingi gyakyo.”
(E)Ggwe omuwala wa Babulooni, agenda okuzikirizibwa,
    yeesiimye oyo alikusasula ebyo
    nga naawe bye watukola.
(F)Yeesiimye oyo aliddira abaana bo
    n’ababetentera[b] ku lwazi.

Okukungubaga 5

(A)Jjukira Ayi Mukama ekitutuuseeko.
    Tunula olabe ennaku yaffe.
(B)Omugabo gwaffe guweereddwa bannamawanga,
    n’amaka gaffe gatwaliddwa abatali ba mu nnyumba.
(C)Tufuuse bamulekwa abatalina bakitaabwe,
    ne bannyaffe bafuuse bannamwandu.
(D)Tusasulira amazzi ge tunywa;
    n’enku tuteekwa okuzigula.
(E)Abatucocca batugobaganya;
    tukooye ate nga tetulina wa kuwummulira.
(F)Twakola endagaano ne Misiri n’Abasuuli
    okutufuniranga ku mmere.
(G)Bajjajjaffe baayonoona, ne bafa,
    naye tubonerezebwa olw’ebikolwa byabwe ebitaali bya butuukirivu.
(H)Abaddu be batufuga,
    tewali n’omu ayinza okutulokola mu mukono gwabwe.
Tuba kumpi n’okuttibwa nga tunoonya emmere,
    olw’ekitala ekiri mu ddungu.
10 (I)Olususu lwaffe luddugadde ng’enziro
    olw’enjala ennyingi.
11 (J)Abakyala ba Sayuuni,
    n’abawala embeerera ab’omu bibuga bya Yuda bakwatiddwa olw’amaanyi.
12 (K)Abalangira bawanikibbwa baleebeetera ku mikono gyabwe
    n’abakadde tewali abassaamu kitiibwa.
13 Abavubuka bawalirizibwa okusa emmere ku jjinja ne ku lubengo,
    n’abalenzi batagala nga beetisse entuumu z’enku.
14 (L)Abakadde tebakyatuula mu wankaaki w’ekibuga,
    n’abavubuka tebakyayimba.
15 (M)Emitima gyaffe tegikyasanyuka,
    n’okuzina kwaffe kufuuse kukungubaga.
16 (N)Engule egudde okuva ku mitwe gyaffe.
    Zitusanze kubanga twonoonye!
17 (O)Emitima gyaffe kyegivudde gizirika,
    era n’amaaso gaffe kyegavudde gayimbaala.
18 (P)Olw’okuba nga olusozi Sayuuni lulekeddwa nga lwereere,
    ebibe kyebivudde bitambulirako.

19 (Q)Ggwe, Ayi Mukama obeerera ennaku zonna;
    entebe yo ey’obwakabaka ya mirembe na mirembe.
20 (R)Lwaki otwelabiririra ddala okumala ennaku ezo zonna?
    Tuddiremu, Ayi Mukama, tudde gy’oli.
21 (S)Tukomyewo gy’oli Ayi Mukama,
    otuzze buggya ng’edda;
22 (T)wabula ng’otusuulidde ddala,
    era ng’otusunguwalidde nnyo nnyini obutayagala na kutuddiramu.

Makko 11:12-14

Yesu Akolimira Omuti Ogutabala

12 Enkeera bwe baali bava e Besaniya, Yesu n’alumwa enjala. 13 (A)N’alengera omutiini, nga guddugazza bulungi amalagala, n’agendayo alabe obanga anaasangako ebibala. Yagenda okugutuukako nga kuliko makoola meereere, kubanga si kye kyali ekiseera kyagwo okubaako ebibala. 14 Awo Yesu n’agamba omuti nti, “Omuntu yenna alemenga okuddayo okulya ekibala kyo!” Abayigirizwa be ne bamuwulira ng’akyogera.

Makko 11:20-24

Eky’okuyiga ku Mutiini Ogwakala

20 Awo enkeera mu makya abayigirizwa be ne balaba omuti omutiini Yesu gwe yakolimira nga gukaze okuviira ddala ku kikolo! 21 (A)Peetero n’ajjukira n’agamba Yesu nti, “Omuyigiriza, laba omutiini gwe wakolimira gukaze!”

22 Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Mukkiririze mu Katonda. 23 (B)Ddala ddala mbagamba nti buli aligamba olusozi luno nti, ‘Siguka ogwe mu nnyanja,’ n’atabuusabuusa mu mutima gwe, naye n’aba n’okukkiriza, ky’ayogedde kirituukirira. 24 (C)Noolwekyo mbagamba nti buli kye munaasabanga, mukkirize nti mukiweereddwa, era kinaabanga bwe kityo gye muli.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.