Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Oluyimba nga balinnya amadaala.
129 (A)Isirayiri ayogere nti,
“Bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange.”
2 (B)Ddala bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange;
naye tebampangudde.
3 Newaakubadde ng’omugongo gwange gujjudde enkovu olw’embooko ze bankubye
era ne gulabika nga kwe bayisizza ekyuma ekirima,
4 (C)kyokka Mukama mutuukirivu;
amenyeemenye enjegere z’abakola ebibi.
5 (D)Abo bonna abakyawa Sayuuni bagobebwe
era bazzibweyo emabega nga baswadde.
6 (E)Babeere ng’omuddo ogumera waggulu ku nnyumba[a],
oguwotoka nga tegunnakula.
7 Omukunguzi tagufaako, n’oyo asiba ebinywa agunyooma.
8 (F)Wadde abayitawo baleme kwogera nti,
“Omukisa gwa Mukama gube ku mmwe.
Tubasabidde omukisa mu linnya lya Mukama.”
Obubaka ku Babulooni
50 (A)Kino kye kigambo Mukama Katonda kye yayogerera mu nnabbi Yeremiya ekikwata ku Babulooni n’ensi ey’Abakaludaaya.
2 (B)“Buulira mu mawanga era olangirire,
yimusa bendera olangirire,
tolekaayo kintu kyonna ogambe nti,
‘Babulooni eriwambibwa;
Beri kiswale,
ne Meroddaaki kijjule entiisa.
Ebifaananyi bya bakatonda abakole n’emikono bijja kuswala
era bitye.’
3 (C)Eggwanga okuva mu bukiikakkono lijja kukirumba
lyonoone ensi y’Abakaludaaya.
Tewali muntu alisigalamu;
abantu bonna balikiddukamu era n’ensolo zonna.
4 (D)“Mu nnaku ezo, era mu kiseera ekyo,”
bw’ayogera Mukama,
“abantu ba Isirayiri awamu n’abantu ba Yuda
balikaaba amaziga nga banoonya Mukama Katonda waabwe.
5 (E)Balibuuza ekkubo eridda e Sayuuni
era bakyuse obwenyi bwabwe okukitunuulira, nga boogera nti,
Mujje twesibe ku Mukama Katonda
mu ndagaano ey’emirembe gyonna
etegenda kwerabirwa.
6 (F)“Abantu bange babadde ndiga ezibuze;
abasumba baabwe babawabizza
ne babatuusa ku kutaataaganira ku nsozi.
Baava ku lusozi ne badda ku kasozi
ne beerabira ekifo kyabwe eky’okuwummuliramu.
7 (G)Buli eyabasanganga nga abatulugunya;
abalabe baabwe ne bagamba nti, ‘Tetulina musango gwe tuzza,
kubanga baajeemera Mukama Katonda, obuddukiro bwabwe obwa nnama ddala,
ye Mukama, essuubi lya bakitaabwe.’
17 (A)“Isirayiri kisibo kya ndiga ezisaasaanye,
empologoma kye zigobye.
Eyasooka okumulya
yali kabaka wa Bwasuli;
eyasembayo okumenya amagumba ge
yali Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni.”
18 (B)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti,
“Ndibonereza kabaka w’e Babulooni n’ensi ye
nga bwe nabonereza kabaka w’e Bwasuli.
19 (C)Naye ndikomyawo Isirayiri mu kisibo kye
era aliriira ku Kalumeeri ne Basani;
alikuttira
ku busozi bwa Efulayimu, ne mu Gireyaadi.
20 (D)Mu nnaku ezo, era mu biseera ebyo,” bw’ayogera Mukama Katonda, “omusango ku Isirayiri gulinoonyezebwa, naye tegulibaawo, era n’ebibi bya Yuda birinoonyezebwa, naye tewaliba na kimu, kubanga ndisonyiwa abo bendeseewo.
Yesu asaba ku lusozi olwa Zeyituuni
39 (A)Awo Yesu n’afuluma mu kibuga awamu n’abayigirizwa be n’akwata ekkubo erigenda ku lusozi olwa Zeyituuni nga bwe yali empisa ye. 40 (B)Bwe yatuuka eyo n’agamba abayigirizwa be nti, “Musabe Katonda, muleme kuwangulwa kukemebwa.” 41 (C)Ye n’abavaako akabanga ng’awakasukwa ejjinja, n’afukamira n’asaba nti, 42 (D)“Kitange, obanga kwe kusiima kwo ekikompe kino kinzigyeko. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula ky’oyagala kye kiba kikolebwa.” 43 (E)Awo malayika eyava mu ggulu n’ajja n’amugumya. 44 Yali mu kunyolwa kunene nnyo okw’omwoyo, ne yeeyongera okusaba ennyo n’atuuyana n’entuuyo ezamuvaamu ne ziba ng’amatondo g’omusaayi, era ne gatonnya wansi.
45 Bwe yayimuka ng’amaze okusaba n’addayo eri abayigirizwa be, naye n’abasanga nga beebase, olw’ennaku eyali ebakutte. 46 (F)N’abagamba nti, “Lwaki mwebase? Muzuukuke, musabe, muleme kuwangulwa kukemebwa.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.